Peace Proscovia

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Peace Proscovia Drajole Agondua yazaalibwa nga 1, mu Ogwekuminoogumu mu 1989), ng'asinga kumannyikwa nga Peace Proscovia ng'era baamukazaako erya "Warid Tower" oba omunaala gw'omukutu gw'essimu ya Warid,[1] munayuganda eyeenyigira mu muzannyo gw'okubaka okw'ensiimbi mu kiraabu ya Surrey Storm ng'esaawa eno ye kapiteeni wa ttiimu y'eggwanga ey'okubaka eya She Cranes.

Yatandika okwenyigira mu kuzannyo gw'okubaka okw'ensiimbi liigi y'okubaka eyababinywera mu tiimu ya Loughborough Lightning, ng'azannyiddeko ne ttiimu ya liigi y'eggwanga lya Austrialia emannyikiddwa nga Sunshine Coast Lightning.[2][3] Kumutendera gw'ensi yonna, y'aliko kapiteeni wa ttiimu ya Uganda eyawangula empaka z'omwaka ga 2013 eza Netball Singapore Nations Cup,[4] n'eza 2017 ez'okubaka ezaali ku lukalo lwa Afrika eza 'African Netball Championship'.[5]

Ebimukwatako n'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Yazaalibwa nga 1 Ogwekuminoogumu mU 1989 mu Arua, mu bitundu bya West Nile, mu bitundu bya bukiika ddyo bwa Uganda , mu famire eyalimu abaana omusanvu. Yasomera ku Awindiri Primary School mu Arua gyeyava okugenda ku Mvara Secondary School nga nalyo kisingaanibwa mu Arua, ng'eno gyeyatuulira siniya ey'okuna n'ey'omukaaga. Yaweebwa ekifo ku yunivasite y'e Nkumba, gyeyafunira gyebafunira dipulooma mu by'enkulakulana y'ebitundu n'ebyenfuna , gyeyatikirwa mu 2010. Mu mwaka gwegumu, yaweebwa ekifo ku Uganda Christian University (UCU) e Mukono, gyeyafunira diguli mu by'okudukanya bizineensi. mu 2013. Mu 2014, yafuna basale enzijuvu okugenda okusoma diguli ey'okubiri mu by'okudukanya bizineensi ku UCU.[6] Mu 2017, yeeyongerayo ne diguli ey'okubiri mu bya sayaansi ku yunivasite ya Loughborough, ng'esira yasinga kuliteeka mu by'akubeera kituunzi.[7]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Mu 2015, yagezaako okuzannyira ttiimu z'ebulaaya mu Bungereza, nga yafsobola okuna endagaano eyamuweebwa okugezesebwa ne Loughborough Lightning mu biseera ly'obutiti wamu n''eby'omusana nga gwememula mu 2015. Mu mwaka gwegumu, yazannya mu kikopo ky'ensi yonna ekyasooka ng'ali ne ttiimu ya Uganda mu mpaka ezaaliwo mu 2015 ez'ekikopo ky'ensi yonna eky'okubaka. Mu 2016 Ogwolubereberye, yaweebwa endagaano enzijuvu mu sizoni ya 2016 ne 2017.[8] Oluvannyuma lw'okuzannyira Loughborough Lightning mu 2015 ne 2016, Proscovia yaddamu okuweebwa endagaano ya myaka ebiri oluvannyuma lw'okuba nga yafuna enkyuka kyuka mu byali bimulemesa okufuna ebipapula bya viza.[9] Ku bimu ku byali mundagaano ye empya, y'agenda okusoma diguli ey'okubiri mu bya sayaansi ku yunivasite ya Loughborough musomero eriyigiriza ebya bizineensi n'eby'embalirira, ng'esira yasinga kuliteeka ku byakubeera kituunzi.[7]

Proscovia yagenda mu Australia okuzannyira ttiimu ya Sunshine Coast Lightning mu sizoni ya 2019, ekintu kiraabu eno kyeyagamba nti kyaali ky'amaanyi nnyo.[10] Yakwatagana ne bazannyi banne okwali Stephanie Wood ne Cara Koenen kulugoba lw'okulumba ng'era bamwongera endagaano okuyita mu sizoni ya 2020.[11] Yeeyakulembera ttiimu ya Uganda eyagenda mu kikopo ky'ensi yonna ekya 2019. Mu 2019 mu Ogwomwenda, yayitibwa okugenda okwegata ku ttiimu ya Uganda nga kapiteeni mu mpaka z'ekikopo kyA 2019 ey'okulukalo lwa semazinga wa Afrika kyebaali bayita.[12] Ng'ebula wiiki satu okutuuka ku mpaka zino, yeerangirira okubeera nga yali tagenda kwetaba mu mpaka zino olw'okuba yali afunye obuvune mu viivi bweyali afunye ng'azannyira ttiimu ye mu liigi y'eggwanga lya Australian.

Yaddayo e Bungereza okuzannyira Surrey Storm mu liigi y'ababinywera u sizoni ya 2022. [13]

Emirimu gye mubufunze[kyusa | edit source]

Yalondebwa ku ky'okubeera munabyamizannyo eyali asinga mu ggwanga lye mu 2014, yeetabye mu mizannyo egy'enjawulo. Wabula nga yasinga kwagala kubaka; yali omu ku baagenda okwetaba mu kikopo ky'ensi yonna ekyali mu Sydney ekya Austrialia mu 2015. Yali omu ku bazannyi abaali ku ttiimu ya basketball eya Gazelles eyeetaba mu mpaka z'abakazi eza AfroBasket Women mu 2015 mu Cameroon.[14] Yaweebwa engule y'okubeera munabyamizannyo eyali asinga mu Uganda mu 2014.[15]

Ebirala by'ateekako esira[kyusa | edit source]

Nga tanaba kutandika kuzannya kubaka kwa nsiimbi, yali azannyira ttiimu y'okubaka eya National Insurance Corporation (NIC), gyeyali akolera nga kituunzi.[1][8]Azannya ne basketball, wadde ng'agamba simulungi nnyo mu muzannyo guno nga bwekiri mu kubaka. Y'omu ku bali ku ttiimu y'abakazi eya basketball ey'ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'emirimu mu kibuga kya Kampala eya Kampala Capital City Authority, ng'ali ne ku ttiimu y'eggwanga ey'abakazi ey'omuzannyo gwa basketball.[1]

Engule[kyusa | edit source]

  • Mu 2009, mu kikopo ky'ensi yonna ekyali e Tanzania yawangula oudaali gwa zaabu.
  • Mu 2013, mu mpaka ez'etabibwamu amawanga g'okulukalo lwa Afrika, yawangula omudaali gw'ekikomo.
  • Mu 2013, mu mpaka z'amawanga omukaaga ezaali mu Singapore, nawangula omudaali gwa zaabu.
  • Mu 2014, mu mpaka z'okusunsula abaali bagenda okwetaba mu kikopo ky'ensi yonna ng'eno yawangulirayo omudaali gwa zaabu.

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 http://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/Proscovia-relishes-life-in-the-UK/689842-2681678-imhkwpz/index.html
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2022-05-17. Retrieved 2022-12-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2022-05-17. Retrieved 2022-12-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2022-05-17. Retrieved 2022-12-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2022-05-17. Retrieved 2022-12-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1336985/ucu-reinstates-peace-proscovias-scholarship
  7. 7.0 7.1 https://en.wikipedia.org/wiki/Loughborough_University
  8. 8.0 8.1 http://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/Proscovia-relishes-life-in-the-UK/689842-2681678-imhkwpz/index.html
  9. https://en.wikipedia.org/wiki/Loughborough_Lightning_(netball)
  10. https://sunshinecoastlightning.com.au/ugandan-shooter-latest-peace-in-lightning-puzzle/
  11. https://supernetball.com.au/news/five-lightning-players-ink-new-deals
  12. {{cite web}}: Empty citation (help)https://kawowo.com/2019/09/16/she-cranes-regroup-for-training-ahead-of-africa-netball-championship/
  13. https://www.monitor.co.ug/Sports/Soccer/She-Cranes-Peace-Proscovia-African-Netball-Championships/690266-5295750-122x1x4z/index.html
  14. http://www.monitor.co.ug/Sports/OtherSport/Netballer-Peace-crowned-Uspa-sports-person-of-2014/-/690284/2705516/-/mmx7q7/-/index.html
  15. http://www.monitor.co.ug/Sports/OtherSport/Netballer-Peace-crowned-Uspa-sports-person-of-2014/-/690284/2705516/-/mmx7q7/-/index.html

Ewalala w'oyinza okubiggya[kyusa | edit source]