Peninah Kabenge
Peninah Aligawesa Kabenge (yazaalibwa 30 Ogwekkuminogumu, 1964) munayuganda omulwanirizi w'eby'emizannyo. Y'akulira ebyemizannyo n'okwewumuzaamu mu Makerere University, omukyala eyasooka okumyuuka Pulezidenti w'ekibiina ekya International University Sports Federation, era okuva mu 2021 aweereza ekisanja eky'okutaano nga Pulezidenti wa Association of Uganda University Sports.
Obulamu bwe obwasooka
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa 30 Ogwekumunogumu, 1964 mu disitulikiti y'e Luwero, Uganda, Kabenge y'omu kubaana ekkuminoomu. Bazadde be bombi baali basomesa, era abatendereza olw'obusobozi bwabwe obw'okusomesa.[1] Yagenda mu Bugema Adventist College ku mutendera gwe ogwa O Level, era oluvannyuma yagenda mu Namasagali College ku daala erya waggulu. Yafuna diguli esooka n'ey'okubiri okuva mu Makerere University.
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Emizannyo
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 1988, Kabenge yafuna omulimu gwe ogwasooka mu Makerere University era mu 1990 nyakolako ng'omuyambi w'omusomesa ow'eby'emizannyo. Mu 1992-2002, bwe yali akola ng'omusomesa mu kitongole ky'eby'enjigiriza bya ssaayansi n'eby'obuyiiya, oyoluvannyuma yakuzibwa n'aweebwa ekifo ky'omusomesa w'eby'emizannyo mu Makerere University. Wakati wa 2001 ne 2007, Kabenge yafuuka omusomesa w'eby'emizannyo mu yunivasite era mu kiseera kino y'akullira eby'emizannyo n'eby'okwesanyusaamu.
Mu Ogwekkuminogumu 2019, Kabenge yalondebwa ng'omumyuka w'omukulembeze w'ekibiina kya International University Sports Federation (FISU), nga yalondebwa ku kisanja kya myaaka ena okuva mu 2019-2023. Mu mwaka ogwa 2021 yali aweereza ekisanja kye eky'okutaano ng'omukulembeze w'ekibiina ekya Uganda University Sports Association (AUUS), ekifo ky'abadde nakyo okuva mu mwaka gwa 2004.[2]
Alina n'eduuka eritunda ebintu eby'emizannyo n'engoye.
Obulimi
[kyusa | kolera mu edit source]Kabenge alina ettaka mu disitulikiti y'e Luwero omuli emicungwa n'emiyembe by'alima. Alinako n'embuzi.
Awaadi
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2012 yaweebwa ekirabo kya IOC Women and Sport Award for Africa mu 5th World Conference of Women and Sport. Mu 2020 yaweebwa ekirabo eky'oluberera okuva ekitongole ekya Federation of Uganda Basketball Associaations in Uganda ng'asiimibwa olw'omulimu omunene gw'akola mu Basketball.
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Kabenga yayawukana ne bba, alina abaana babiri.
Ebyawandiikibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Career
[kyusa | kolera mu edit source]Mu mwaka gwa 1988, Kabenge yafuna omulimu gwe ogwasooka mu yunivasite y’e Makerere era mu mwaka gwa 1990 n’akola ng’omuyambi w’omusomesa w’ebyemizannyo. Mu mwaka gwa 1992okutuuka mu mwaka gwa 2002, bwe yali ng’akola ng’omusomesa mu kitongole ky’ebyenjigiriza ebya Sayansi n’Ebyemikono oluvannyuma yakuzibwa n’atuuka ku ddaala ly’omusomesa w’ebyemizannyo mu yunivasite y’e Makerere. Wakati w'omwaka gwa 2001 n'omwaka gwa 2007, Kabenge yafuuka omusomesa wa Sports Psychology ku yunivasite era mu kiseera kino y’akulira ebyemizannyo n’okwesanyusaamu. [1]
Mu mwezi gw'ekkumin'ogumu mumwaka gw'a 2019, Kabenge yalondebwa ng’omumyuka wa pulezidenti omukyala asoose mu kibiina ekigatta emizannyo mu yunivasite mu nsi yonna ekya International Yunivaasite Sports Federation (FISU), eyalondebwa okumala emyaka ena okuva mu mwaka gwa 2019 mpaka mu mwaka gwa 2023. [2] [3] [4]
Alina n’edduuka eritunda ebintu ebikozesebwa mu mizannyo n’engoye. [1]
Okulima
[kyusa | kolera mu edit source]Kabenge alina ettaka mu ggombolola y’e Luwero omuli emicungwa n’emiyembe gyombi. Faamu eno era erunda n'embuzi. [1]
- 1 2 3 Joshua, Walakira (7 October 2019). "WHAT MAKES MAKERERE'S PENINAH KABENGE TICK – mulengeranews.com". Archived from the original on 29 September 2023. Retrieved 1 October 2025.
- ↑ "FISU Vice President Penninah Kabenge believes more women in leadership is the way forward". www.fisu.net. 6 January 2021.
- ↑ Cite error: Invalid
<ref>tag; no text was provided for refs namednewslibre - ↑ "AUUS home to define Kabenge new term". Africa Press - Uganda. 13 May 2021. Retrieved 18 March 2022.