Jump to content

Peruth Chemutai

Bisangiddwa ku Wikipedia
peruth Chemutai

 

Peruth Chemutai nga yazaalibwa mu mwezi ogw'omusanvu ng'enaku z'omwezi 10 mu mwaka gwa, 1999 Munayuganda adduka emisinde gy'okudduka n'obuuka obuuma nga bw'ogwa mu mazzi. Yawangula omudaali gwa zaabu mmu mita 3000 egy'okuduka nga bw'obuuka obuuma n'ogwa mu mazzi mu mpaka za 2020 egya Summer Olympics mu kibuga ky'e Tokyo, n'afuuka munayuganda eyasooka nga mukazi okuwangula omudaali gw'emizannyi gya Olympic.[1][2]

Chemutai y'alina likodi ya Uganda eya mita 3000  ey'okuduka emisinde nga bw'obuuka obuuma n'ogwa mu mazzi n'eya kiromita 5 ey'oku luguudo

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Ono asibuka mu disitulikiti y'e Bukwo era yatandika okudduka mu mwaka mu 2013 oluvannyuma lw'okwenyigira mu mpaka z'okudisitulikiti ez'emisinde ezaali ziyitibwa 'District Athletics Championships' mu Bukwo ng'omuwagizi wa bulijjo.[3] Mu mizannyo gy'omwaka gwa 2015 egy'abavubuka egy'amawanga agali mu luse olumu ne Bungereza ezaali mu Apia, yawangula omudaali ogwa feeza mu mita 1500 ne mita 3000.[3][4]

Mu mwaka gwa 2016, ku myaka 17 egy'obukulu Chemutai yeetaba mu mbiro ez'abakyala ez'okuduka ng'obuuka obuuma n'ogwa mu mazzi mu kigero ekya mu mita 3000 era nakwata ekifo kya musanvu empaka ezaatuumibwa 2016 eza IAAF World ez'abali wansi w'ensi w'emyaka 20 zaali mu kibuga kya Bydgoszcz, mu ggwanga lya Poland.

Mu mpaka z'omwaka gwa 2016 eza Summer Olympics mu kibuga kya Rio de Janeiro, esaawa ye gyeyamalirako zaali 9:31.03 mu misinde egyo era teyayitamu kugenda kuluzannya lw'akamalirizo.[5][6]

Yavuganya mu mpaka za junior women's race mu mwaka gwa 2017 eza IAAF World Cross Country Championships mu kibuga kya Kampala, naamalira mu kifo kyamusanvu.

Mu mpaka z'abatasusa myaka 20 ezaali wo mu mwaka gwa 2018 eza World U20 Championships ezaaliwo mu masekati g'omwezi ogw'omusanvu, yafuna omudaali gwa feeza mu mita 3000  egy'okuduka emisinde gy'okubuuka obuuma nga bw'olinya mu mazzi. Oluvannyuma lwa wiiki, mu mpaka za Monaco Diamond League, yateekawo likodi y'eggwanga ng'adukidde obudde 9:07.94.

Mu mwaka gwa 2019, yavuganya mu mpaka za senior women's race ezaali mu mwaka gwa 2019 eza IAAF World Cross Country Championships ezaali mu kibuga Aarhus, mu ggwanga lya Denmark. Yakwata kifo kyakutaano.[7]

Mu mpaka za Olympics ezaali mu kibuga ky'e Tokyo mu mwaka gwa 2020, Chemutai yeetaba mu mita 3000  egy'okuduka emisinde ng'obuuka obuuma n'ogwa mu mazzi. Yawangula abaali basuubirwa okusitukitra mu misinde gino okwali Beatrice Chepkoech ne Hyvin Kiyeng Jepkemoi okumalira mu budde bwa 9:01.45, ng'eno nyali likodi ya ggwanga lyonna, n'awangula omudaali gwa zaabu .[2][8] Chemutai yafuuka omunayuganda omukazi eyasooka okuwangula omudaali gwa Olympic mu muzannyo gwonna .[1]

Empaka z'ensi yonna zeyetabyemu

[kyusa | edit source]
2015 Commonwealth Youth Games Apia, Samoa 2nd 1500 m 4:18.22
2nd 3000 m 9:20.20
2016 World U20 Championships Bydgoszcz, Poland 7th 3000 m s'chase 9:49.29
Olympic Games Rio de Janeiro, Brazil 17th (h) 3000 m s'chase 9:31.03 Template:AthAbbr
2017 World Cross Country Championships Kampala, Uganda 7th XC 5.858 km U20 19:29
World Championships London, United Kingdom 20th (h) 3000 m s'chase 9:43.04
2018 World U20 Championships Tampere, Finland 2nd 3000 m s'chase 9:18.87
African Championships Asaba, Nigeria 5th 3000 m s'chase 9:45.42
2019 World Cross Country Championships Aarhus, Denmark 5th XC 10.24 km 36:49
World Championships Doha, Qatar 5th 3000 m s'chase 9:11.08
2021 Olympic Games Tokyo, Japan 1st 3000 m s'chase 9:01.45 Template:AthAbbr
2022 World Championships Eugene, OR, United States 11th 3000 m s'chase 9:21.93
Commonwealth Games Birmingham, United Kingdom 3rd 3000 m s'chase 9:23.24
  1. 1.0 1.1 {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.bbc.co.uk/sport/africa/58085378
  2. 2.0 2.1 {{cite web}}: Empty citation (help)https://worldathletics.org/competitions/olympic-games/news/tokyo-olympic-games-women-steeplechase-report
  3. 3.0 3.1 {{cite news}}: Empty citation (help)http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1448190/2017-iaaf-stars-peruth-chemutai
  4. {{cite news}}: Empty citation (help)https://ugandaradionetwork.com/story/chemutai-chemusto-win-medals-at-5th-commonwealth-youth-games-in-samoa
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20160831122742/https://www.rio2016.com/en/athlete/peruth-chemutai
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20160905015523/https://www.rio2016.com/en/athletics-standings-at-womens-3000m-steeplechase
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)https://media.aws.iaaf.org/competitiondocuments/pdf/6265/AT-XSE-W-f----.RS6.pdf?v=21598225
  8. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.reuters.com/lifestyle/sports/athletics-chemutai-finishes-fast-win-steeplechase-uganda-2021-08-04/