Peter Odeke
Odeke Peter Paul (yazaalibwa 21 Ogwekkuminogumu 1970) Munnayuganda,muzannyi wa filimu, era muzannyi w'emizannyo gya fiyeta, muweereza w'oku ladiyo era mukozi w'amaloboozi g'omubulango. Si mupya mu kisaawe ky'okuzannya olw'esonga nti yali yatandiika okuzannya emizannyo gy'okusiteegi ng'akyali mu Pulayimale ne Sekendule; Wabula okuzannya kwe okwasooka ku National Theatre kwaliwo mu myaka gya 1990 mu “SPECTRUM”, ekibiina kibiibya n'okuzannya emizannyo nga badda mu bigere by'ekibiina ekyalina likodi embi ekya Namasagali College.
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | edit source]Peter yazaalibwa mu Kampala, Uganda naye nga
'asibuka mu ggwana ly'abateeso , era nga w'akuna mu baana mukaaga nga famire ye ebeera mu Uganda. Peter yetabama mu nteeketeeka z'essomero ez'enjawulo ku Kitante Primary School era yalimunyiikivu mu by'emisinde n'okuzannya emizannyo. Kino yeyongerayo nakyo mu myaka gyeyamala mu siniya ku St. Mary’s College Kisubi, nga yamanyika nnyo olw'amazina ge og'okumenyeka (Breakdancing). Ng'ali ku Kigezi High School, Peter yazannya mu kazannyo k'akatemba ng'omusomi w'amawulire. Teyamanya nti yali w'akufuuka mwatiikirivu nnyo mu ku soma amawulire (Prime-Time News Anchor).
Oluvanyuma lw'okumaliriza emisomo gye egya BA (Political Science), Peter yasaba okukola ne TV eyasooka mu Uganda ey'obwannanyini, Sanyu TV, era nga yakkirirzibwa era ng'akola ng'omusasi w'amawulire.
Yasigaza omulimu gwe ogw'okusoma amawulire ng'omulimu gwe ogw'ebbali oluvannyuma lw'okwegatta ku South African Alliance Air ng'alabirira saako n'okubudabuda abasaabaze b'okunnyonyi, nga yalinnya n'afuuka akwasagaya eby'ensimbi mu myaka 3. SA Alliance Air’s operations yagyibwawo mu 2000.
Emirimu gye yakola
[kyusa | edit source]Ku Sitegi
[kyusa | edit source]Okulabibwa kwa Peter okwasooka mu National Theatre kwaliwo mu myaka gya 1990 n'ekibiina ky'abazinyi n'okuzannya emizannyo ekya “SPECTRUM”. Yazannya nga Teezi mu muzannyo gw'ekibiina ogwakwatayo nga gwatuumibwa “Unleashed Fury,” nga tannadayo ku misomo gye egya Yunivasite.
Telefayina
[kyusa | edit source]Peter yakola omizannyo gwe ogwasooka ku TV mu 2002 ogwayagalwa ennyo ogwa “Centre 4,” nga gwalina obutundu kkuminabusatu (13) nga yazannya ng'atambulirako omuzannyo Moses Wema– omukugu mu labalatore obw'ebyewuunyo ey'egombwa buli omu.
Emizannyo gy'okuladiyo
[kyusa | edit source]Azannye ne mu mizannyo gya ladiiyo ebiri egy'oku BBC African radio nga: Kitu Kidogo (ogwa Kenneth Atwiine) & Damn Seconds (ogwa Pamela Otali).
Mu kisaawe kya Filimu
[kyusa | edit source]Mu 2004, Peter yazannya omulundi ogwasooka mu filimu ya Raoul Peck's HBO eyatuumibwa, Sometimes in April, nga yazannya ne Idris Elba.
Okudda mu Kampala, Peter yakwatagana ne Denis Obua mu muzannyo gw'ebyafaayo ogwa Dan Gordon ku BBC: The John Akii-Bua Story; An African Tragedy (2008). Mu 2010, Peter yegatta ku Dayilekita wa Uganda omumanyifu Matt Bish okumuyambako mu kifo kye yali azannya mu Filimu eyawangula awaadi “S.R.B” (2010) Julius Dracu.
Pulojekiti ya Peter esembyeyo ya Walt Disney Pictures, Queen of Katwe, nga yazannya n'omukyala omuwanguzi w'a Awaadi eya Academy Award Lupita Nyong’o ne David Oyelowo. Peter yazannya nga “Mr. Barumba”, ssentebe w'ekitongole kya Chess Federation mu Uganda. Filimu eno yafulumizibwa mu Gwomwenda 2016.[1][2]
Ebimukwatako
[kyusa | edit source]Odeke alina abalenzi basatu: Nkosi, Kwame ne Diallo. Abadde mufumbo eri Christine Elong okuva nga 30 Ogwekkuminogumu 2007.
Peter kati akolera mu Protocol unit Paalamenti ya Uganda.
Emizannyo gyazannye
[kyusa | edit source]Filimu
[kyusa | edit source]Omwaka | Omutwe | Ekifo ky'eyazannya | Dayilekita | Ebyokumanya |
---|---|---|---|---|
2005 | Sometimes in April | Militia Man #2 | Raoul Peck | Kazannya ka TV |
2007 | Ezra | Snake Savimbi | Newton I. Aduaka | Feature film |
2007 | Shake Hands with the Devil | Ghanaian Lieutenant | Roger Spottiswoode | Feature film |
2008 | The John Akii Bua Story: An African Tragedy | Denis Obua | Daniel Gordon | Documentary |
2010 | State Research Bureau | Julius Dracu | Matt Bish | Feature film |
2016 | Queen of Katwe | Enoch Barumba | Mira Nair | Feature |
2022 | Kafa Coh | Tereke Stephens | Gilbert K. Lukalia | Feature |
Emirimu gy'okuladiyo
[kyusa | edit source]Omwaka | Omutwe | Role | Notes |
---|---|---|---|
2012 | Kitu Kidogo | ||
2012 | Damn Seconds |
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
[kyusa | edit source]- Peter Odeke at IMDb
- https://www.youtube.com/watch?hl=en-GB&gl=UG&v=icjvQ78G8vY
- http://www.ugandavideos.com/index.php?option=com_videoflow&task=play&id=4717
- https://www.youtube.com/watch?v=LY2s6ihFrvk
- http://www.bbc.co.uk/worldservice/mobile/programmes/2010/08/100708_kitu_kidogo.shtml
- https://web.archive.org/web/20221212132607/https://www.observer.ug/component/content/article?id=15506:otali-wins-bbc-playwrights-award
- http://allafrica.com/stories/200202240088.html
- https://web.archive.org/web/20161013144311/http://www.ugandadish.org/bcc/cast.shtml