Phiona Nyamutoro
Phiona Nyamutoro Munnayuganda, munnabyabufuzi era mubazi w'amateeka akiikirira abavubuka mu Paalamenti ya Uganda, ye muvubuka omukyala mu Paalamenti ya Uganda. Mmemba mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement (NRM) ng'era ye kaadi ey'amutuusa mu Paalamenti.[1][2][3][4][5][6] Ye Minisita omubeezi ow'eby'obugagga eby'omuttaka mu Minisitule y'ebyamasanyalaze n'okwongera omutindo ku by'obugagga eby'omuttaka, nga yalondebwa mu kifo kino nga 22 Ogwokusatu 2024.
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | kolera mu edit source]Nyamutoro alina Diguli eya first class degree in Arts (Luganda, Sociology) ne Diguli ey'okubiri mu kuweereza Gavumenti (public administration) okuva ku Yunivaste y'e Makerere.[7] Yasomera ku Najjera progressives mu misomo gye egya Pulayimale, Misanvu SS in Kibinge Bukomansimbi mu O'levo ne Maleku Secondary school mu A'levo.[7]

Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Nyamutoro yali amyuka pulezidenti w'abayizi ku Yunivasite y'e Makerere 2015 -2016.
Yali mmemba ku kakiiko k'Eggwanga ak'abavubuka abakiikirira Disitulikiti y'e Nebbi. Nyamutoro ye muvubuka asoose okwegatta ku Paalamenti ng'ava mu Disitulikiti y'e Nebbi.
Nyamutoro alwanirira okukomya embuto mu baana abatannetuuka n'ensonga ez'ekuusa ku kikula ky'abantu.[8]
Mu Paalamenti eye 11, mmemba ku kakiiko akakwasaganya eby'enjigiriza n'ebyemizannyo.[9]
Yalondebwa ku kifo kya Minisita omubeezi ow'ensonga z'ebyobugagga eby'omuttaka mu Minisitule y'ebyamasanyalaze n'enkulakula y'ebyobugagga ebyomuttaka mu kukyusakyusa mu Kabinenti ya Uganda okwaliwo okwakolebwa Pulezidenti Museveni[10]
Ebijuliziddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://campusbee.ug/news/former-makerere-vice-guild-president-elected-national-female-youth-mp/
- ↑ https://www.independent.co.ug/nyamutoro-is-national-youth-mp-first-from-west-nile/
- ↑ https://www.rxradio.ug/post/youth-mp-phiona-nyamutoro-i-would-be-a-dancer-if-i-wasn-t-a-politician
- ↑ https://www.pmldaily.com/news/2021/01/nrms-nyamutoro-trounces-rivals-to-win-national-woman-youth-mp-race.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/89863
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/nrm-scoops-five-youth-positions-3277822
- 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2022-04-05. Retrieved 2024-04-29.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://chimpreports.com/srhs-experts-explore-measures-to-end-teenage-pregnancies-early-marriages/
- ↑ https://parliamentwatch.ug/committees/committee-on-education-and-sports/
- ↑ https://twitter.com/PNyamutoro/status/1770944309459570715?t=ut7N5ct77SPKTW2sYyjwEA&s=19