Pius Adome

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Pius Adome mudusii wamisinde gy'akafubutuko omunayuganda eyeetaba mu mizannyo gy'amawanga agali mu lusa olumu ne Bungereza eza 2018. Adome yavuganya mu misinde gy'abasajja egya mita 100 ne mita 200. Omutendera gwa Adome gweyadukiramu ogwa mita 100 gwalimu abadusi musanvu okuli; Cejhae Greene ne Warren Fraser, Adome yamalira mu kifo kyakutaano ng'adukidde ekonda 10.70 n'amaliriza ng'ali mu maaso ga Kolinio Radrudru ne Tirioro Willie. Mu mutendera gwa mita 200 Adome gweyeetabamu, mwalimu abaddusi munaana nga Aaron Brown eyalina omudaali gwa feeza. Adome yaduka empaka zino n'akwata kifo kyakuna ng'addukidde esekonda 21.39.[1]

Nga 11 omwezi ogw'okutaano 2019, mu Kampala, Adome yatekawo likodi y'eggwanga mu misinde gya gya mita 100 weyadukira sekonda 10.43.

References[kyusa | edit source]