Polotozoowa

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Charles Muwanga

Polotozoowa (Protozoa) bulamu obusirikitu obusinga okuba obuzibuwavu. Polotozoowa buziiznaobulina obuzimbe obw’enjawulo era polotozoowa ziyinza okuba nga bwe bulamu obusookerwako obwa ebiramu ebizimbibwa obutaffaali obunji(multicellular organisms).

Kino kitegeeza nti zirina obuzimbe obusobola okulabibwa ne mu bitonde eby’omutendera ogwa waggulu, obutali wantu walala wonna mu nsi ey’obulamu obusirikitu. Wamo ojja kusanga obulamu obusirikitu obusinga nga

b) Ameeba(amoebas)

c) Obwenkira (flagellates) nga sipongi (sponges). Buno bulina obuzimbe obulinga akakira

d) Obwoyaya (cilia). Buno buba bwoya obutini obumpi.Eky’okulabirako ye palamesiyamu (Paramecium). Bulina obwoya obutini ku mubiri gwabwo gwonna. Obwoya buno bukuba amazzi ne busobozesa akaramu kano okutambula mu mazzi.

e) Sepironza (sporozoans). Sepironza (sporozoans) ziba polotozoowa ennyunyunsi (parasitic protests). Obulwadde bwa Malaria bureetebwa polotozowa ennyunyunsi eyiri mu kikula kya sepironza. Polotozowa eno okufaanana n’obulamu obunyunyusi (parasites) bwonna tesobola kubeerawo ku lwayo wabula erumba ekiramu ekirala era n’ekikolako obuvune oluvannyuma lw’ekiseera.