Jump to content

Primah Kwagala

Bisangiddwa ku Wikipedia
Primah Kwagala, 2008

Primah Kwagala munnayuganda, munnamateeka omulwanirizi w'eddembe era y'akulira ekibiina ekiwolereza abakyala ekya Women’s Probono Initiative (WPI) mu Uganda.[1][2] Akwasaganyiza emisango egy'ekuusa ku kulemera abalwadde mu malwaliro nga tebasasudde bisale, okufuna obujjanjabi obw'amangu eri abakyala b'embuto nga tebannazaala era nga bazadde n'eddagala lyonna ery'etagisa, n'ebirala.[3][4] Ye Ssentebe w'abannamateeka abakyala mu kibiina kya Uganda Law Society.[5] Kwagala yaweebwa engule ya 2020 ey,okuteeseganya n'emirembe eyamukwasibwa H.E Albrecht Conze, Ambasada wa German mu Uganda, H.E Jules-Armand ANIAMBOSSOU nga ye Ambasada wa Bufaransa mu Uganda ne Henry Oryem Okello Minisita omubeezi ow'ensonga z'ebweru ku mukolo gw'okujaguza emyaka 57 egya Elysee Treaty .[6][7] Ku lunaku lw'abakyala mu mwaka gwa, 2022, yaweebwa elinnya okuva ku Embase ya Amerika mu Uganda ng'omukyala omuvumu era yaweebwa engule y'obulwanirizi bw'eddembe eya EU Human Right Defenders Award mu 2022.[5]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Kwagala yali mukwanaganya w'emirimu gy'okuteekawo enkyukakyuka mu misango egimu mu kkooti, maneja w'amateeka agagobererwa ku nkola z'amalwaliro, eddembe ly'abantu n'enkulakulana.[8] Mu 2014 ne 2018, Kwagala yasiimibwa ku bwannamateeka asinze okulwanirira eddembe ly'abantu n'ebyobulamu. Mu 2012, yali mulwanirizi w'addembe ku Ttendekero ly'essomo ku ddembe ly'abantu ku Yunivasite y'e Columbia. Wakati wa 2012-2014, yakulembera ekibiina kya CEHUR's ekyali kirwanirira enkyukakyuka mu mateeka n'ebyobufuzi ku by'obulamu mu Uganda mu Buvvanjuba bwa Afirika. Mu 2018, Kwagala yalondebwa okubeera eddoboozi epya mu Ttendekero lya Aspen mu 2018.[9]

Bye yafuna[kyusa | edit source]

Ng'ayita mu kibiina, Kwagala akomezaawo abakyala abawerako Bannayuganda abaali baakukusibwa okutwalibwa mu nsi z'abuwalabu ez'amu Middle East.[5] Era yayasanguza okukulusanyizibwa kw'abaana okwali kukolebwa Renee Bach, Omumerika eyali y'ava mu kibuga ky'e Virginia okujja okutandiikawo ekibiina ekiyamba abaana mu Jinja.[10][11][12]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. https://namati.org/network/member/PrimahKwagala/
  2. https://www.ctvnews.ca/world/u-s-missionary-with-no-medical-training-sued-over-deaths-of-ugandan-children-in-unlicensed-centre-1.4548704?cache=yes%3FclipId%3D89925%3FautoPlay%3Dtrue
  3. https://www.aspenideas.org/speakers/primah-kwagala
  4. http://ug.creativecommons.net/cc-uganda-staff/
  5. 5.0 5.1 5.2 https://www.eeas.europa.eu/delegations/uganda/three-shortlisted-2022-eu-human-rights-defenders-award_en
  6. https://www.newvision.co.ug/articledetails/1513921
  7. https://chimpreports.com/ugandan-lawyer-scoops-peace-and-reconciliation-award-at-elysee-treatys-57th-anniversary-celebrations/
  8. https://www.opensocietyfoundations.org/voices/uganda-s-leap-forward-right-health
  9. https://www.chr.up.ac.za/srra-alumni/primah-kwagala
  10. https://www.npr.org/sections/goatsandsoda/2019/08/09/749005287/american-with-no-medical-training-ran-center-for-malnourished-ugandan-kids-105-d
  11. https://www.ctvnews.ca/world/u-s-missionary-with-no-medical-training-sued-over-deaths-of-ugandan-children-in-unlicensed-centre-1.4548704
  12. https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/the-curious-case-of-renee-bach-facing-trial-over-child-deaths-in-busoga-1852044

Ebijuliziddwamu eby'ebweru[kyusa | edit source]