Jump to content

Princess Elizabeth of Tooro

Bisangiddwa ku Wikipedia
Princess Elizabeth of Toro

Princess Elizabeth of Tooro nga amanya ge ye Elizabeth Christobel Edith Bagaaya Akiiki, yazaalibwa nga 9 Ogwokubiri mu 1936 yeeyali Batebe, Omumbejja w'engoma okuva mu Bukama bw'e Tororo okutuuka mu Gwomwenda nga 12, mu 1995, bweyasikirwa ne Omubiitokati Ruth Nsemere Komuntale. Munamateeka Omunayuganda, munabyabufuzi, omukungu ate era omwolesi w'emisonol.

Yeeyali omukyala okuva mu Buvanjuba bwa Uganda okuweebwa ekifo mu English Bar. Ssenga w'omukama we Tooro, Rukidi IV. Yakolako nga Minisita w'ensonga z'ebweru w'eggwanga wansi wa Pulezidenti Idi Amin okuva mu Gwokubiri okutuuka mu Gwekuminoogumu mu 1974.

Obulamu bwe n'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Omubejja ono yazaalibwa mu 1936 nga kitaawe yeeyali Omukama w'e Tooro Rukidi III, eyali ow'ekuminoomu era n'afuga okuva wakati wa 1928, okutuuka mu 1965. Maama we yeeyali Naabagereka Kezia,[1]eyali muwala wa Nikodemo Kakoro, eyali omulu w'ekitundu. [2][<span title="This claim needs references to reliable sources. (August 2020)">citation needed</span>] Yali ayitibwa Omubiitokati oba omumbejja okuviira ddala mu kuzaalibwa kwe.

Oluvannyuma lw'okumaliriza okusoma kwe okutandikibwaako okuva mu gyebayita Kyebambe Girls' Secondary School ensangi zino, yasindikibwa ku Gayaza High School, esomero ly'abawala bokka erisinganibwa mu Buganda, nga kuno kwekwali Sherborne esomero ly'abawala bokka nga lisinganibwa Bungereza, ng'eno yeeyali omuyizi yekka eyali omudugavu.[1] " Nawulira nga eyali atereddwa mu kkooti okuwozesebwa, ng'era okulemererwa kwange okubeera omuwanguzi kwali kugya kwekuusa ku bantu bonna abadugavu," bweyawandiika oluvannyuma. Oluvannyuma lw'omwaka gumu, yakirizibwa okugenda ku Girton College erisinganibwa e Cambridge, ng'era yeeyali omukyala okuva ku semazinga wa Afrika okuweebwa ekifo ku Yunivasite y'e Cambridge mu byafaayo by'etendekero lino. Mu 1962, yatikirwa okuva ku Cambridge[1] ng'afunye Diguli mu By'amateeka. Oluvannyuma lw'emyaka esatu, mu 1965, omubejja yafuuka eyali omuwi w'amagezi era omu kubaali mu kifo ekyali kiyitibwa Gray's Inn,[2] n'afuuka omukyala eyasooka okuva mu Buvanjuba bwa Afirika okuyitibwa okugenda mu English Bar.[1]

Obulamu bw'omulubiri n'okubeera omwolesi w'emisono

[kyusa | edit source]

Mu kaseera taata we weyafiira, wamu ne mwanyina Patrick David Matthew Kaboyo Olimi bweyatekebwa muntebe nga Olimi III Omukama w'e Tooro, ng'era yafuna okuva mu 1965, okutuuka mu 1995. Ku mikolo gy'okumutuuza muntebbe nga Omukama, Elizabeth yafuna ekitiibwa ne ofiisi ya Batebe, oba omumbejja w'omulubiri, ekyamufuula omukyala ow'amaanyi mu by'obuwangwa mu Bukama bw'e Tooro wamu n'okubeera omuwi w'amagezi Omukama gweyali asinga okukiririzaamu.[1]

Kabaka wa Buganda Fredrick Muteesa II, omukulembezze mu Uganda omulala ow'eby'obuwangwa, yeeyali pulezidenti w'eggwanga, nga Milton Obote ye Saabaminisita. Nga n'omwaka tegunawera, oluvannyuma lw'okubeera nga Omukama Olimi III y'ali yakatuuzibwa ku by'okubeera omukulembezze w'e Tooro, Obote yaumba olubiri lwa Buganda, ekyawaliriza Edward Muteesa II okugenda mubuwangaguse, era Obote neyeerangirira nga pulezidenti wa Uganda. Oluvannyuma yawera buli bukulembezze obw'obuwangwa okuva mu Uganda, nga muno mwemwali obukama bw'e Tooro.[1] Elizabeth yalina okutya eri obulamu bwa mwanyina, wabula nga yasobola okuduka okuva mu ggwanga n'agenda mu kibuga London.

Elizabeth oluvannyuma yamaliriza okubangulwa ku byeyali yasoma nga kino kyali ku kifo ekimu ewasinganibwa ba looya,era n'afuuka looya Omunayuganda eyali asookera ddala.Yali musibe mu ggwanga lye, okutuuka Omubejja Margaret okuva mu bwakabaka bwa Bungereza bweyauyita okugenda okwolesa emisono ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwali ogwali ogw'okusonderako ssente z'okuyamba abali mu bwetavu.Omubejja yasobola okuganyurwamu era oluvannyuma n'afuuka omwolesi w'emisono ow'etutumu, ekyamuvirako okubeera nga atekebwa mu butabo obw'enjawulo. Jacqueline Kennedy Onassis yasisinkana Elizabeth ku kabaga akamu, era n'amumatiza okugenda mu kibuga kya New York City. Mu 1971, Obote yagibwa mu buyinza nga kino kyakolebwa eyali aduumira amagye General Amin, era Elizabeth n'akomawo e Uganda. Obukulembezze bwa Amin bwali businga ku bwo Obote okubeera obw'omutawaana, kuba ono yayitiriza nnyo okutta abantu wamu n'okubateeka mu makoemra. Mu 1974, Amin yawa Elizabeth eky'okubeera Minisita avunaanyizibwa kunsonga z'ebweru w'eggwanga.

Obuwangaguse n'okukomawo

[kyusa | edit source]

Mu gwokubiri mu 1975, Elizabeth yatoloka okugenda e Kenya, okluvannyuma Vienna, gyeyava okugenda e London. Emyaka enna nga gimazze okuyitawo, Elizabeth yakomawo e Uganda okuyamba nokulonda kw'eggwanga okwali kusookera ddala, nga kuno kwawangulwa Obote, eyasigala nga atta abalabe bbe. Elizabeth n'eyali omwagalwa we Omulangira Wilberforce Nyabong, eyali mutabani w'Omulangira Leo Sharp Ochaki, baduka mu ggwanga okugenda e London mu 1980, nebafumbiriganwa mu 1981.[3]Mu 1984, Elizabeth yazannya ekifo ky'okubeera nga Shaman mu firimu eyafulumizibwa kampuni ya in the Columbia Pictures eyali eyitibwa Sheena:Queen of the Jungle oba Naabagereka w'ekibira

Kunkomerero mu 1985, Obote yagibwa mubuyinza, nga mu kaseera akatono ak'obulumbezze bw'amagye, Yoweri Museveni yadda mu buyinza. Mu 1986, Elizabeth yaweebwa eky'okubeera omubaka wa Uganda mu ggwanga lya Amerika, omulimu gweyaliko okutuuka mu 1988. Oluvannyuma lw'omwaka, Nyabongo, eyali yinginiya mu by'entambula by'ennyonyi, yafiira mu kabenje k'ennyonyi bweyali alina emyaka 32.

Oluvannyuma lw'okufa kwa bbaawe, Elizabeth yasalwo okulekulira emirimu gy'okuwereza abantu, atandike okwenyigira mu mirimu gy'obwanakyewa nga ayamba abantu beetaaga buyamba, nga ogyeko okubeera nga y'alabirira omwana wa mwanyina amannyikiddwa nga Rukidi IV eyazaalibwa mu 1992 ng'era y'abadde mu buyinza bw'okubeera Omukama wa Tooro okuva mu 1995. Oluvannyuma lw'akaseera keyamala nga Omubaka wa Uganda mu ggwanga lye Girimaani wamu ne Vatican, Elizabeth yakiriza omulimu gw'okubeera kamisona wa wagulu owa Uganda mu ggwanga lya Nigeria .

Laba ne bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | edit source]

Ebitabo ebirala by'oyinza okutekako esira

[kyusa | edit source]
  • Hassen, Joyce. African Princess. New York: Hyperion, 2004
  • Elizabeth of Toro. Elizabeth of Toro: The Odyssey of an African Princess. New York: Simon and Schuster.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | edit source]