Proscovia Margaret Njuki

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Proscovia Margaret Njuki Munnayuganda omunonooza w'ebyamasanyalaze era omukozi wa Gavumenti. Okuva nga 24 Ogwekkuminoogumu 2016, aweereza nga ssentebe wa board of directors aba Uganda Electricity Generation Company Limited (UEGCL).[1] Yadira Stephen Isabalija mu bigere, eyalondebwa nga ssabawandiisi mu Uganda Ministry of Energy and Mineral Development.[2]

Ebimukwaatako n'emisomo[kyusa | edit source]

Yazaalibwa nga 25 Ogwokuttaano 1951 eri Reverend ne Mrs. Benoni Kaggwa-Lwanga. Yasomera emisomo gye egya O-Level mu Gayaza High School era n'emisomo gya A-Level. Yasomera ku Yunivasitte ya Nairobi, n'atikibwa ne diguli ya Bachelor ya Sayansi mu nonooza z'amasanyalaze mu 1974, omukyaala Omunnayuganda eyasooka okutikibwa nga omunonooza.[2]

Emirimu[kyusa | edit source]

Okugoberera amatikira ge okuva mu Nairobi, yakomawo e Uganda era n'atandika okukola nga omunonooza w'ebyempuliziganya ku eyali TV ye gwanga, [./Uganda_Broadcasting_Corporationhttps://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Television Uganda Television] (UTV). Nayambuka mu rank era mu 1994, yalondebwa nga omukulu wa UTV engineering services. Mu 1995, yalondebwa nga Commissioner wa UTV.[2] Nga tanafuna bwa ssentebe bwa UEGCL, yaweereza nga mmemba w'ekitongole ekyo, ekyalina sentebe wakyo Dr. Stephen Isabalija.[3][4]

Obuvunaanyizibwa obulala[kyusa | edit source]

Ye yatandikawo era mmemba w'ekibiina ky'abakyaala Abanonooza, ba Technicians n'Abasayansa mu Uganda, okuva 1989. Mmemba wa Institution of Professional Engineers mu Uganda era yaweereza ku executive council okuva mu 1990 okutuusa 1993.[2]

Obulamu[kyusa | edit source]

Mu 1977, yafumbirwa Samwiri H.K. Njuki; balina abaana abawala babbiri n'omulenzi omu.[2]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipediya[kyusa | edit source]