Proscovia Nabbanja
Proscovia Nabbanja Munnayuganda omukugu mu byafaayo by'ensi era kalabaalaba w'emirimu, nga y'akulira kampuni y'amafuta eya Uganda National Oil Company, okuva nga 1 Ogwekkumi 2019.[1] Okuva nga 15 Ogwomunaana 2019 okutuusa nga 1 Ogwekkumi 2019, Yali CEO wa Kkampuni. Yaddamu bigere by'omutandiisi Josephine Wapakabulo, eyalekulira oluvanyuma lw'emyaka esatu ng'ali ku mulimu.[2]
Emabegako, wakati w'Ogwekkuminogumu 2016 n'oGwomunaana 2019, ye yali akulira emirimu (chief operating officer) mu kampuni ya Uganda National Oil Company.[3] Nga tebinnabaawo, ye yali omukugu mu byafaayo by'ensi mu kuvumbula amafuta n'okugasengejja ku Petroleum Exploration and Production Department (PEPD), mu Minisitule ya Uganda ey'amasanyalaze n'enkulakulana y'ebyobugagga eby'omuttaka eya Uganda Ministry of Energy and Mineral Development,nga ye mukyala eyasooka okufuna ekifo ekyo.[4]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | edit source]Yasomera ku Ssettendekero wa Makerere, Yunivasite ya Gavumenti esinga obunene n'obukulu mu Uganda nga yatikkirwa Diguli mu saayansimn'ebyafaayo by'ensi eya Bachelor of Science in geology and chemistry. Oluvanyuma yafuna Diguli ey'okubiri mu byobugagga eby'omuttaka ebisimibwamu amafuta eya Master of Science mu Petroleum Geoscience, okuva ku Imperial College of Science, Technology and Medicine, mu kibuga London,ekya Bungereza. Era alina Diguli ey'okubiri eya Master of Business Administration eyamuweebwa aba Imperial College Business School, gya yafuna mu 2017. Satifikeeti ye eya International Petroleum, Oil and Gas Management yamuweebwa Ettendekero lya Institute for Petroleum Management Inc., mu Austin, Texas, United States.
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Nabbanja yaweebwa omulimu aba PEPD mu 2000, mu bwangu ddala nga yakava ku Yunivasite y'e Makerere, nga kyamufuula omukyala eyasooka okubeera omukozi eyo. Okumala emyaka, yalinyisibwa era mu Gwokutaano 2013, yali kuddala ly'omukugu mu by'obugagga eby'omuttaka. Mu busobozi obwo, akola nga kalabaalaba wa Tiimu y'abakugu ab'ekkenenya ebiteeso by'abakugu okuva mu Kkampuni z'amafuta, n'ensonga ezekuusa ku nzizi a'amafuta. Ebiwandiiko tiimu ye by'ekungaanya, byeyambisibwa mu kugereranya amafuta kigero ki ekisangibwa wansi mu ttaka.[4][5] Okumala ebbanga ly'amyezi kkuminamwenda, okuva mu Gwokuna 2015 okutuusa mu Gwekkuminogumu 2016, Nabbanja yali aweereza nga Principal Geologist ku PEPD, ekifo kye yalekulira okwegatta ku UNOC.
Mu Gwekkumi 2019, Boodi y'aba Dayilekita ba UNOC yakakasa Proscovia Nabbanja nga CEO wa Kampuni atuuliridde.[6]
Ebimukwatako eby'omunda
[kyusa | edit source]Proscovia Nabbanja mufumbo era maama w'abaana basatu.
Obuvunanyizibwa obulala
[kyusa | edit source]Proscovia Nabanjja yalondebwa Minisita w'ebyobulamu mu 2020 nga mmemba ku Kakiiko k'aba Dayilekita aba Malaria Free Uganda, ekitongole ky'obwannanyi ekikolaganira wamu ne Gavumenti ya Uganda wansi wa Minisitule y'ebyobulamu nga kyaweebwa obuvuanyizibwa okuyambako mu kulwanysa obulwadde bw'omusujja ekya National Malaria Control Division (NMCD) mu kugyawo emisanvu mu kugenderera okuggusa enteekateekaa z'eggwanga nga bayita mu kukungaanya obuyambi, n'ebyembalirira eri abalia emigabo mu kampuni.
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
[kyusa | edit source]- Profile of Proscovia Nabbanja
- Website of Uganda National Oil Company Limited
- Website of the Uganda Ministry of Energy and Minerals
- ↑ https://www.softpower.ug/proscovia-nabbanja-confirmed-as-chief-executive-of-the-national-oil-company/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/UNOC-appoints-Nabbanja-as-acting-CEO/688334-5233030-5xlj72z/index.html
- ↑ https://www.softpower.ug/proscovia-nabbanja-named-acting-chief-executive-of-national-oil-company/
- ↑ 4.0 4.1 "Archive copy". Archived from the original on 2017-11-09. Retrieved 2024-04-30.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://ugandaradionetwork.com/story/female-geologist-i-thought-i-would-become-a-borehole-driller
- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/Nabbanja-named-UNOC-new-boss/688334-5293886-jw8ta2/index.html