Jump to content

Queen of Katwe

Bisangiddwa ku Wikipedia
queen of katwe logo

 

Queen of Katwe firimu y'ebyemizannyo n'ekatemba eyogera ku by'afaayo eya America ey'omwaka gwa 2026[1] eyakwasaganyizibwa Mira Nair era n'ewaandikibwa William Wheeler.[2] Eyazanyibwa David Oyelowo, Lupita Nyong'o, ne Madina Nalwanga, firimu elaga obulamu bwa Phiona Mutesi, omuwala abeera e Katwe, katanga ka Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu. Ayiga okusoma omuzannyo gwa chess era n'afuuka [./Woman_Candidate_Masterhttps://en.wikipedia.org/wiki/Woman_Candidate_Master Woman Candidate Master] oluvanyuma lw'obuwanguzi bwe mu World Chess Olympiads.[3]

Eyajibwa okuva mu kiwandiiko kya ESPN magazine era nemu katabo ka Tim Crothers, firimu yafulumizibwa Walt Disney Pictures ne ESPN Films. Queen of Katwe yalagibwa mu 2016 Toronto International Film Festival.[4] Firimu yafulumizibwa katono mu United States mu Gwomwenda 23, 2016, nga tenafulumizibwa ddala mu butongole mu Gwomunaana 30.[5]

Omulamwa

[kyusa | edit source]

Okubeera e Katwe, akatanga mu Kampala, Uganda, kulimu okulwaana n'okufua okwa Phiona (Madina Nalwanga) ow'emyaaka ekkumi, maama we Nakku Harriet (Lupita Nyong'o) n'abato aba famire ye. Ye ne munyinaze omuto bayambako maama waabwe okutunda kasooli mu katale. Era ayambako mu kulabirira mwanyinaze we omuto. Obulamu bwe bukyuuka lumu nga asisinkanye Robert Katende (David Oyelowo) ku pulogulaamu ya baminsane. Katende atendeka okuzannya emipiira era ayigiriza abaana n'okuzannya omuzannyo gwa chess mu ka center kawansi. Mukwagala okumanya, Phiona asembera n'ayiga okuzannya omuzannyo. Omuzannyo gumukwata omubabiro era afuuka omuzannyi asinga mu kibiina wansi w'okulungamizibwa Katende.

Omusomesa we, oluvanyuma lw'okulemesebwa ebitongole by'omuzannyo gwa chess ebyawansi, amutwaala ne ttiimu yonna mu mpaka za tournament ez'amasoro mu gwanga mu somero elyaamaanyi mu gwanga. Ekibiina ky'esanga mu bweerariikirivu wakati w'abazannyi abalala ababeetoolodde. Naye, ekitone kyabwe kiwangula olunaku era Phiona yajja mu kifo ekisooka.

Firimu yeyngelayo okuwaata n'okumanya ebiwanvu n'ebiko eby'obuwanguzi mu mpaka ne tournament za Phiona ne bazannyi banne. Okufubba kw'obulamu mu Katwe kubaawo bulijjo era Phiona asuubira nti omuzannyo gwa chess gujja kumuwa ne famire ye engeri y'okuduka okuva mu Katwe.

Phiona akulembera ttiimu ya Uganda mu mpaka za Chess Olympiad mu Russia, n'obuvumu nti ajja kusobola okufuuka Grandmaster, afune sente ezeetaagisa okuyimusa famire okuva mu bwaavu. Naye, empaka zilabika okuba enkambwe, era awangulwa Munnacanada amuvuganya.

Phiona adda e Katwe, nga munnakuwavu era nga abuusabuusa obusobozi bwe. Naye, n'obuyambi bwa Coach Katende n'abantu ba Katwe, adayo okuzannya omuzannyo gwa chess, era n'awangula natuuka ku busobozi bw'okugulira famire ye enyumba.

Abazannyi

[kyusa | edit source]

  Maurice Kirya ne Ntare Mwine balina obifo by'okuwanirira nga Theo[6] ne Tendo, mu mutendera ogwo. Gladys Oyenbot ne Rehema Nanfuka bazanyira mu bifo eby'awansi nga omutunzi mu duuka n'omusawo, mu mutendera ogwo.

Abazannyi Abalala

Okufulumya

[kyusa | edit source]

Enkulaakulana

[kyusa | edit source]

Tim Crothers yawandiika The Queen of Katwe: A Story of Life, Chess, and One Extraordinary Girl's Dream of Becoming a Grandmaster, eyayogera ku bulamu bwa Phiona Mutesi. Kafulumizibwa ESPN mu 2012, yali optioned mu mwaaka gwe gumu ne Walt Disney Pictures.[7] Tendo Nagenda, senior creative executive wa Walt Disney Studios', yakulaakulanaya puloojekitti okufulumizibwa. Asibuka mu Ugandan.[8] N'okukirizibwa okuva ewa Pulezidenti wa Situdiyo Sean Bailey,[9] Nagenda yagenda okukyaalila Mira Nair mu makaage ag'omu Ugandan okumuwandiisa okuba dayirekita wa firimu ekoleddwa ku Mutesi. Nair yasiima olugero, nagamaba, "mbadde neetooloddwa engero zino ez'abantu ba wansi naye sikolangayo lugero lwonna mu Uganda okuva mu 1991. Njagala nyo engero ku bantu abakola ekintu okuva mwekyo ekifanaana nga ekitalinaamu makulu."[10]

Mira Nair yasisinkana ne Mutesi, maama we Harriet, era n'ekibiina kya chess ekidukanyizibwa coach Robert Katende. Yayita screenwriter William Wheeler okujja mu Kampala okukola interviews n'abantu abanakulira nga omusingi gwa screenplay.[11] Nair yakwaata ka firimu akampi aka high-concept era n'akalaga mu Disney, okwongeza ensonga za situdiyo ku firimu okufulumizibwa mu Afirika.[11]

Wheeler yakiriza nti firimu ejya kujja mu nono za firimu za ku "underdog" engero z'emizannyo, nawandiika nti:

"twaali tugezaako ... okugaziya ekiteeso ku ki 'firimu ya Disney' kyeyinza okuba. Disney yali njeruffu nnyo mukwagala okwogera olugero oluzaamu essuubi ku muntu ava mu kifo ekiteefananyizibwa ku balabi abebweeru ... kino kyaali kyakujja mu bintu ebimu bye bakola obulungi ennyo – eky'okwogera ku ngero ez'emizannyo ejya sports underdog stories era n'okufuna engeri elugero bwelukwaatagana n'ekika kya firimu."[12]

Nair yanyonyola Queen of Katwe nga "firimu ya Disney mu ngeri nyingi.... erina obulungi n'okutulugunyizibwa oludda n'oludda."[9] Mu Gusooka 2015, sentebbe wa situdiyo ya Disney Alan F. Horn yawa olukisa okufulumya firimu eno ku bukadde bwa US$15 .[9]

Okulonda abazanyi

[kyusa | edit source]

Mu Gusooka 2015, David Oyelowo ne Lupita Nyong'o balondebwa okuzannya nga Robert Katende ne Harriet Mutesi, mu mutendera ogwo. Be baasooka okulondebwa Nair. Nyong'o yagamba nti yasalawo okuzannya mu kifo ekyo nga yakasoma empapula kumi mu script, nagamba "Gwe mulundi ogwasooka bweyawulira okuzuukusibwa ne script era n'okusomoozebwa."[13][14] Oyelowo yakiririzaawo ekifo, nga alaba firimu nga "subversive work", okusinziira ku bula ly'obugazi mu contemporary American cinema.[15][16] Nair yagamba nti kyaali kizibu nnyo okunoonya omuzanyi anazanya nga Phiona. Okunoonya omuzanyi oyo kyaatwala ebbanga okuva mu Gwomusanvu okutuusa mu Gwekkuminoogumu 2024 era ttiimu ya production yagezesa kumpi abawala 700.[11] Dayirekita avunaanyizibwa mu kulonda abazannyi yasanga Madina Nalwanga mu kibiina kyamazina mussomabuvobwawamu . Munnayuganda omuzinnyi w'amazina ow'emyaaka 15 yalondebwa okuzannya nga Phiona.[2][17]

Okukwaata firimu

[kyusa | edit source]

Principal photography yatandika mu Gwokuna mu 2015.[18][19] Firimu yakwaatibwa mu katanga ka Katwe mu Kampala, Uganda era ne Johannesburg, South Africa. Bannayuganda abasukka mu 100 baapangisibwa enga ba extras mu bitundu by'oku street; kinaana tebalina bukuggu mu kukozesa camera.[20] Nair yateekawo ekifo eky'okukolerama ekya boot camp okuyamaba abaana okw'etegekera ebitundu byaabwe.[21] Bannayuganda abakugu abasinga bazanya nga ba extras, omwaali Gladys Oyenbot eyazanya nga stand-in double wa Lupita.[22]

Nair ne cinematographer Sean Bobbitt bakwaatira mu banga emizaanyo Mutesi jyeyazannya. Katende, eyaliwo mu kukwaata kunno, ye yateekateeka emizannyo, atte Nair ne Bobbitt bakola ku buli kyebakwaata. Ebitundu bya chess byali bizibuzibu kubanga call sheet yalimu emitambula jya chess ejyaddala. Nair n'omusunsuzi Barry Brown basalamu ebitundu bino okuteekawo katemba.[20] Production eyagwa mu Gwomukaaga 2015 oluvanyuma lw'ennaku 54 ez'okukwaatilamu firimu.[23]

Omuziki

[kyusa | edit source]

  Musical score ya Queen of Katwe yateekebwateekebwa Alex Heffes.[24] Heffes yayongerako nti "y'efaananyizibwaako omuzannyo gwa Roots, yadde gukoleddwa mu Afirika [...] Waliyo track za Uganda ez'obuvunaanyizibwa eziri mu Uganda era firimu eteeke nnyo esira mu ku kozesa enyimba nga zoogera ku firimu."[25]

Alicia Keys yawandiika n'afulumya oluyimba "Back to Life" olwa firimu; lw'afulumizibwa RCA Records mu Gwomwenda 9, 2016.[26] Oluyimba olutongole olwa soundtrack album lwafulumizibwa Walt Disney Records nga 23 Ogwomwenda , ne deluxe edition eyafulumizibwa ku lunaku lwenyini.[27][28]

Okufulumizibwa

[kyusa | edit source]

Queen of Katwe yafulumizibwa eri ensi yonna ku 2016 Toronto International Film Festival nga 10 Ogwomwenda.[29] Disney yategekka premiere eyekikungu ku El Capitan Theatre mu Hollywood mu Gwomwenda nga 20,[30] n'okulagibwa okulala ku Urban World Festival nga 22 Ogwomwenda.[31] premiere z'omu Afirika z'ategekebwa mu Kampala nga 1 Ogw'ekkumi[32] ne Johannesburg mu Gwomwenda nga 5.[33] Firimu yalina European debut ku 2016 BFI London Film Festival mu Gwekkumi nga 9.[34] Okulagibwa okulala kwaali ku Morelia International Film Festival mu Mexico mu Gwwekkumi nga 22.[35] Nga 12 Ogwekkuminogumu, gwaalagibwa ku Taipei Golden Horse Film Festival era ne ku Brisbane Asia Pacific Film Festival nga 24th.[36][37]

Walt Disney Studios Home Entertainment yafulumya firimu enno ku Blu-ray ne ku DVD nga 31 Ogusooka, 2017, ne digital release nga 10 Ogusooka.[38]

Reception

[kyusa | edit source]

Box office

[kyusa | edit source]

Queen of Katwe eyagulwaawo mu Gwomwenda nga 23 mu kufulumizibwa okutoonotoono mu United States, n'omugatte oguteeberezebwa ogwa Friday total ogwa $82,000 omugeranyo $1,577 buli screen okuyita mu theatre ennondemu 52. Nga weekend etandika,yafuna $304,933 omugenaranyo $5,864 buli screen.[39] Yagulibwaawo mu kufulumizibwa okugazi mu Gwomunaana nga 30 okutuuka ku 1,242 screens, era neetuuka ku mugatte gwona wamu ogw'obukadde $2.5  mu wiiki esooka.[40]

Ebyaayogerwa nga firimu efulumiziddwa

[kyusa | edit source]

Queen of Katwe yayogerwaako bulungi okuva mu bantu, ne ebitundu bya David Oyelowo ne Lupita Nyong'o ne bifuna okuzizibwa n'okutenderezebwa okwenjawulo.[41][42] Review aggregation website Rotten Tomatoes epimira firimu ku 94% okusinziira ku kulabibwa kwaayo okwa 191 reviews era n'omugeranyo ogwa 7.40/10. Consensus ya website egamba nti: "Queen of Katwe firimu yakuwilra bulungi eya uncommon smarts n'okwaagala, era okuzanya okulungi okwa Lupita Nyong'o ne David Oyelowo kuyambako okuyimusa firimu okuyita ku bijoogerwaako ebyenjawulo ebirungi n'ebibi."[43] Ku Metacritic, firimu erina norrmalized rating eya 73 ku 100 okusinziira ku reviews okuva mu 40 critics, ekilaga "reviews enungi".[44] Audiences ezibaliddwa CinemaScore zaawa firimu omugeranyo ogwa grade "A+" ku scale ya A+ to F.[39]

Accolades

[kyusa | edit source]
List of awards and nominations
Award Date of ceremony Category Recipient(s) Result Ref(s)
African-American Film Critics Association Ogwokubbiri 8, 2017 Firimu 10 Esinga Queen of Katwe Template:Draw [45]
Africa Movie Academy Award Ogwomusanvu 15, 2017 Africa Movie Academy Award for Most Promising Actor Madina Nalwanga Template:Won [46]
Africa Movie Academy Award for Best Actor in a Leading Role David Oyelowo Template:Nom
Africa Movie Academy Award for Best Actress in a Leading Role Lupita Nyong'o Template:Nom
Africa Movie Academy Award for Best Director Mira Nair Template:Nom
Africa Movie Academy Award for Best Film Queen of Katwe Template:Nom
Africa Movie Academy Award for Best Production Design Queen of Katwe Template:Nom
Africa Movie Academy Award for Best Costume Design Queen of Katwe Template:Won
Africa Movie Academy Award for Best Visual Effects Queen of Katwe Template:Nom
Alliance of Women Film Journalists Ogwekkuminoogumu 21, 2016 Dayirekita omukyaala asinga Mira Nair Template:Nom [47][48]
Best Breakthrough Performance Madina Nalwanga Template:Nom
Black Reel Awards Ogwokubbiri 16, 2017 Outstanding Actress Madina Nalwanga Template:Nom [49]
Outstanding Supporting Actress Lupita Nyong'o Template:Nom
Outstanding Original Song "Back to Life"Alicia Keys, Illangelo and Billy Walsh Template:Nom
Critics Choice Awards Ogwekkuminoogumu 11, 2016 Best Young Performer Madina Nalwanga Template:Nom [50]
Evening Standard British Film Awards Ogwekkuminoogumu 8, 2016 Omuzannyi wa firimu Omusajja asinga David Oyelowo (also for A United Kingdom) Template:Nom [51]
Golden Tomato Awards Ogusooka 12, 2017 Firimu ya 2016 ey'abaana/Famire esinga Queen of Katwe Template:Draw [52]
London Film Critics' Circle Ogusooka 22, 2017 Omuzannyi wa firimu omu British/Irish ow'omwaaka David Oyelowo (era owa United Kingdom) Template:Nom [53]
NAACP Image Awards Ogwokubbiri 11, 2017 Outstanding Actress Madina Nalwanga Template:Nom [54]
Outstanding Supporting Actress Lupita Nyong'o Template:Nom
Outstanding Supporting Actor David Oyelowo Template:Nom
Dayirekita wa firimu asinga Mira Nair Template:Nom
National Film Awards UK Ogwokussattu 29, 2017 Omuzannyi wa Firimu asinga Lupita Nyong'o Template:Nom [55]
Firimu esinga mu nsi zonna Queen of Katwe Template:Nom
Toronto International Film Festival Ogwomwenda 18, 2016 Engule ey'abantu esinga Mira Nair Template:Draw [56]
Women Film Critics Circle Ogwekkuminoogumu 19, 2016 Firimu ek'oleddwa omukyaala esinga Queen of Katwe Template:Nom [57]
Omuzannyi w'afirimu omuto asinga Madina Nalwanga Template:Nom
Ebifaananyi by'abakyaala ebisinga Queen of Katwe Template:Nom
Firimu ya Famire esinga Queen of Katwe Template:Won

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. Carissimo, Justin (May 10, 2016). "Lupita Nyong'o and David Oyelowo star in the new trailer for Queen of Katwe". The Independent. Retrieved August 29, 2016.
  2. 2.0 2.1 McNary, Dave (January 9, 2015).
  3. Robinson, Joanna (August 16, 2015).
  4. https://deadline.com/2016/07/toronto-to-open-with-the-magnificent-seven-as-fest-unveils-galas-and-special-presentations-1201792733
  5. Siegel, Tatiana (April 8, 2016). "Disney's David Oyelowo Drama, 'Queen of Katwe,' Gets Release Date". The Hollywood Reporter. Retrieved April 27, 2015.
  6. Gitau, Elly (May 11, 2015). "Uganda: Maurice Kirya to Star Alongside Lupita Nyong'o in Queen of Katwe". The Star. Retrieved August 16, 2015.
  7. Levs, Josh (December 10, 2012). "From slum life to Disney film: Ugandan teen chess star 'the ultimate underdog'". CNN.
  8. senior creative executive
  9. 9.0 9.1 9.2 https://en.wikipedia.org/wiki/Sean_Bailey
  10. https://en.wikipedia.org/wiki/Mira_Nair
  11. 11.0 11.1 11.2 https://en.wikipedia.org/wiki/High-concept
  12. McKittrick, Christopher (September 30, 2016). "Queen of Katwe: Expanding What a Disney Film Can Be". Creative Screenwriting. Retrieved September 30, 2016.
  13. Template:Cite magazine
  14. Pallotta, Frank (September 12, 2016). "David Oyelowo and Lupita Nyong'o talk Oscars diversity and 'Queen of Katwe'". CNN. Retrieved September 13, 2016.
  15. Whipp, Glenn (September 10, 2016). "With 'A United Kingdom' and 'Queen of Katwe,' David Oyelowo continues his mission of inclusion". Los Angeles Times. Retrieved September 13, 2016.
  16. Schneller, Johanna (September 9, 2016). "Disney could be looking at Oscar buzz for 'transcendent' film Queen of Katwe". The Globe and Mail. Retrieved September 13, 2016.
  17. Template:Cite magazine
  18. Sefa-Boakye, Jennifer (March 31, 2015). "Lupita Nyong'o Is Filming Disney's 'Queen Of Katwe' Chess Biopic In Uganda With David Oyelowo". OkayAfrica. Archived from the original on June 6, 2017. Retrieved August 16, 2015.
  19. Gerard, Jermey (July 30, 2015). "Lupita Nyong'o Sets New York Stage Debut In Public Theater's 'Eclipsed'". Deadline Hollywood. Retrieved August 16, 2015.
  20. 20.0 20.1 http://www.livemint.com/Leisure/8ZwVudx9lZ4adTSdQBvEeK/From-Kampala-with-love.html Cite error: Invalid <ref> tag; name "filmqok" defined multiple times with different content
  21. Gantt, Deidre (September 7, 2016). "Meet Tendo Nagenda: Disney Exec and Mastermind behind 'Queen of Katwe'". Face2FaceAfrica. Retrieved September 17, 2016.
  22. http://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/Oyenbot-played-Lupita-s-double/689842-3944772-cvo57hz/index.html
  23. {{cite news}}: Empty citation (help)
  24. http://filmmusicreporter.com/2016/01/18/alex-heffes-to-score-mira-nairs-queen-of-katwe/
  25. Schweiger, Daniel (May 24, 2016). "Interview with Alex Heffes". Film Music Magazine. Archived from the original on September 27, 2016. Retrieved September 27, 2016.
  26. Template:Cite magazine
  27. https://itunes.apple.com/gb/album/queen-katwe-original-motion/id1149459943
  28. Desta, Yohana (July 26, 2016). "TIFF 2016: Magnificent Seven, Loving, and More Announced for Festival Lineupl". Vanity Fair. Retrieved July 26, 2016.
  29. Desta, Yohana (July 26, 2016). "TIFF 2016: Magnificent Seven, Loving, and More Announced for Festival Lineupl". Vanity Fair. Retrieved July 26, 2016.
  30. Czachor, Emily Mae (September 21, 2016). "Cast and Crew Celebrate 'Queen of Katwe' as "a Love Letter to Uganda" at Disney Film's Premiere". The Hollywood Reporter. Retrieved September 25, 2016.
  31. Template:Cite magazine
  32. https://web.archive.org/web/20161010125114/http://www.theinsider.ug/queen-of-katwe-ugandan-premiere-set-for-october-1/#.V_rFFugrLDc
  33. http://www.thenewage.co.za/queen-of-katwe-premiers-in-joburg/
  34. Barraclough, Leo (July 13, 2016). "Lupita Nyong'o's 'Queen of Katwe' to Make European Debut at London Film Festival". Variety. Retrieved July 13, 2016.
  35. http://moreliafilmfest.com/en/peliculas/queen-of-katwe/
  36. http://www.goldenhorse.org.tw/film/programme/films/detail/1472?search_year=2016&ghff_id=242
  37. http://www.goldenhorse.org.tw/film/programme/films/detail/1472?search_year=2016&ghff_id=242
  38. Queen of Katwe's Official Website, November 18, 2016
  39. 39.0 39.1 D'Alessandro, Anthony (September 25, 2016). "'Magnificent Seven's $35M Opening A Career Best For Antoine Fuqua; 'Storks' At $21.8M – Sunday AM B.O. Final Update". Deadline Hollywood. Retrieved September 25, 2016. Cite error: Invalid <ref> tag; name "QOKcinema" defined multiple times with different content
  40. https://deadline.com/2016/09/miss-peregrine-tim-burton-deepwater-horizon-masterminds-weekend-box-office-1201828893
  41. Template:Cite magazine
  42. Template:Cite magazine
  43. https://www.rottentomatoes.com/m/queen_of_katwe_2016
  44. https://www.metacritic.com/movie/queen-of-katwe
  45. Nordyke, Kimberly (December 12, 2016). "'Moonlight' Named Best Picture by the African American Film Critics Association". The Hollywood Reporter. Retrieved December 12, 2016.
  46. Chima, Chidi (May 14, 2017). "AMAA 2017: Akin Omotoso's Vaya grabs ten nominations, Queen of Katwe, '76 get eight". The Cable Lifestyle. Retrieved May 14, 2017.
  47. Merin, Jennifer (December 16, 2016). "2016 AWFJ EDA Award Nominees". Alliance of Women Film Journalists. Retrieved December 17, 2016.
  48. McCue, Michelle (December 16, 2016). "'Arrival', 'La La Land', 'Hell or High Water' Among The Nominees for the 2016 AWFJ EDA Awards". WeAreMovieGeeks.com. Retrieved December 17, 2016.
  49. Davis, Clayton (December 14, 2016). "Black Reel Award Nominees – 'Moonlight' Leads with 13 Nominations". AwardsCircuit.com. Archived from the original on December 17, 2016. Retrieved December 15, 2016.
  50. Moore, William (November 17, 2016). "Evening Standard British Film Awards – The Longlist". London Evening Standard. Retrieved November 29, 2016.
  51. Moore, William (November 17, 2016). "Evening Standard British Film Awards – The Longlist". London Evening Standard. Retrieved November 29, 2016.
  52. https://editorial.rottentomatoes.com/rt-hub/golden-tomato-awards-best-of-2016/
  53. Nordyke, Kimberly (December 20, 2016). "'Moonlight' and 'Love and Friendship' Lead London Film Critics'". The Hollywood Reporter. Retrieved December 20, 2016.
  54. Hipes, Patrick (December 13, 2016). "NAACP Image Awards: Nate Parker & Donald Glover Lead Film & TV Noms; Beyonce Tops Field". Deadline Hollywood. Retrieved December 13, 2016.
  55. http://www.nationalfilmawards.org/ewan-mcgregor-catherine-zeta-jones-michael-fassbender-shana-swash-daniel-radcliffe-lead-national-film-awards-uk-2017/
  56. https://www.ew.com/article/2016/09/18/2016-TIFF-Peoples-Choice-winner
  57. http://blog.womenandhollywood.com/women-film-critics-circle-nominations-hidden-figures-13th-more-a62fcaa87784#.idr3puzg1

Ebijulizziddwa wa bweru wa wikipediya

[kyusa | edit source]

Template:Mira Nair