Rachael Kungu

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Rachael Ray Kungu, akozesa erinya lya DJ Rachael ku siteegi yazaalibwa nga 1978 nga munayuganda akuba muziki mu bifo ebisannyukirwamu, omusuubuzi ate akwata n'ennyimba, ng'emirimu gye gimazze emyaka 25. Yeeyatandikawo situdiyo y'obwa nannyini ekwata ennyimba gyebayita ''Femme Electronic and proprietor of Scraych Rekords''.[1]

Mu Gwomukaaga mu 2017, Akatabo ka Vice Magazine kayita Rachael Kungu, okubeera omukazi akyasinze okukuba muziki mu bifo ebisanyukirwa mu buvanjuba bwa Afrika ".[2]

Ebumukwatako n'obulamu bwe[kyusa | edit source]

Rachael Kungu yazaalibwa mu Uganda mu 1978, n'akulira mu mulirwano lwa Muyenga, iensagi zino gyebayita munisipaali y'e Makindye, wakati mu kibuga kya Uganda ekya Kampala.[1] u myaka gya 1990, Hotel International Muyenga yali emannyikiddwa ku ku bubaga bwayo obwali ng'obwemisana nga bwali businga kuberamu bavubuka. Rachael yali omu kubavubuka abaali basinga okubeera mu kungaana zino ez'agata ng'abavubuka abadigize. Yafuuka omu ku kibiina kya Muyenga Youth Club.

Rachael bweyalina emyaka 13 egy'obukulu, yalaba vidiyo eyitibwa Deidra Muriel Roper (DJ Spinderella), eyali okusunsunzi w'emiziki omumerika n'eyakuba ng'ennyimba z'okufubutuka ebigambo (rapper) ekyamukwata omubairo. Omuyimbi ono omumerika yalika kyeyakyusa ku bavubuka bano abato. Mu kifo ekisanyukirwamu, Rachael yayajulwa mu bantu abamannya okwetoloola ensi yonna okwali Salt-n-Pepa, Roxanne Shante, MC Lyte, Run-DMC wamu ne Kid N Play. Yatandika okugeegeenya engeri abantu bano abamannyi okwetoloola ensi yonna gyebaali bakolamu ebintu byabwe wamu n'okuyimba, nga kuno kweyateeka n'okuteeka mu bwongo engeri gyebaali bafututuka ebigambo nga bayimba ekyamufunyisa ekifo ky'okubeera omusunsuzi wa muziki mu kabuga.[1]

Engeri gyeyali akyali omuvubuka omuto, kojja we yamuwerekera ngako okugenda mu kifo ekisanyukirwamu kyebaali bayita Club Pulsations, ng'eno eyali omusunsuzi wa muziki DJ Wasswa Junior yeeyamuyigiriza engeri y'okukyusaamu emiziki wamu n'okugitabula. Era anokolayo DJ Alex Ndawula olw'okumusomesa n'okumuyigiriza obukodyo obumu.Abaamuyigiriza abalala kuliko omugenze DJ Berry.[1]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

DJ Rachael yatandika emirimu gye ng'omusunsuzi w'emiziki mu 1995, nga bweyali asobola okuyimirira ku bigere bye yekka, bannyini bifo bisanyukirwamu baatandika okwagala okumuwa emirimu okukolera mu bifo byabwe nga amabaala. Yalekulira Club Pulsations n'agenda okwegata ku Club Silk, ng'eno yakolerayo okumala emyaka munaana ng'omusunsuzi w'emiziki omutonge era omukugu.[3] Ng'ali eyo, yalina akaseera k'okukwasaganya endagaano ku bubaga obwaliko ngako abantu abangi, wamu n'obwa nnanyini.[1]

Yayongera okumannyikwa ekyamuvirako okufuna endagaano y'okukolera ku Club Sombreros mu Jinja ekyauleetera okuyitibwa aba Club Florida mu 2000 ne Club Carnival, nga zombi zisinganibwa mu Nairobi ne Stone Club mu Mwanza.[1] Pulogulaamu ya ''Saturday Night Mix'' ey'okumukutu gwa leediyo ya Ugandan radio yalaga obulungi bwa DJ Rachael mu muziki wa Uganda ow'okumikutu.[4] Yasanyusa abadigize abaali u bikujuko bya Nyege Nyege Festival mu 2017.[5]

Mu 2015, omukutu gwa leediyo ya BBC Radio 1Xtra gwalonda DJ Rachael ng'omu kubasinga okusunsula muziki ku semazinga wa Afrika era omuyimbi, nebamuyita okuwayaamu ku bikwatagana ne muziki wa Uganda.[6] Nga yeeyongedde okumannyikwa, DJ Rachael ayitiddwa okwetaba mu mirimu egy'enjawulo mu mawanga g'ebweru okwali n'emu bikujuko bya 2016 ebya WOMEX World Music Expo mu Spain, mu kugulawo ekifo kya Impact Hub, eky'abayimbi mu Florence, Yitale mu 2017 ne mu bukujuko bya DAPHNE series ebya Marea Stamper, mu Chicago, Illinois, Amerika mu Gwolubereberye mu 2017.[2][7]

Kungu yavaayo n'atandika okwenyigira mu kukola n'okufulumya ennyimba, ng'atendeka wamu n'okuyigiriza abalala okwongera ku bukugu bwabwe. Okuva mu 2016, abadde ategeka emisomo egya buli mwezi omubadde mwetabibwamu abakazi 25. Ekibiina kye, Femme Electronic, kyatongoza mubutongole mu 2016 okuyambako abakazi abasunsuzi ba muziki n'abafulumya miziki nga bakozesa ebyuma bukali magezi.[8] Mu mwaka ogwo, yategeka omusomo n'aba Goethe-Institut ne Santuri East Africa.

Mu 2017, Dazed yakiriza DJ Rachael bweyagamba nti y'omu ku bayimbi abataano abasinga mu buvanjuba bwa Afrika beweetaaga okumannya nga DJ Mag yawandiika ku mirimu gye okukyusa ekifaananyi kya muziki w'ebyuma bikali magezi.[9][10] Mu 2018, OkayAfrica yamuteeka kulukalala ng'omu kubayimbi abasinga 10 mu Kenya ne Uganda, ng'aba Electronic Beats bakyasanguza kungeri DJ Rachael gyeyali akyusa abantu n'ebitundu gyebabeera ng'ayita mu muziki.[11][12]

Ebirala by'atekako essira[kyusa | edit source]

Rachael Kungu mulwanirizi wa ddembe lw'abakazi, n'eddembe ly'abali b'ebisiyaga.[13][14]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 1.5 https://www.monitor.co.ug/Magazines/Life/DJ-Rachael--Queen-of-the-turntables/689856-3064882-poi0qb/index.html
  2. 2.0 2.1 https://www.vice.com/en_us/article/7xz39x/dj-rachael-uganda-dance-music-women
  3. http://thisisuganda.org/meet-dj-rachael-east-africas-first-female-dj/
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2019-06-01. Retrieved 2022-11-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. http://www.independent.co.uk/arts-entertainment/music/reviews/nyege-nyege-festival-review-moxie-ea-wave-irresistible-urge-to-dance-a7967086.html
  6. https://www.bbc.com/news/av/world-africa-30832361/global-beats-dj-rachael-uganda
  7. http://www.womex.com/virtual/santuri_east_africa/dj_rachael
  8. https://www.musicinafrica.net/magazine/goethe-institut-nairobi-host-female-dj-workshop
  9. https://www.dazeddigital.com/music/article/37325/1/5-east-african-musicians-you-need-to-know
  10. https://djmag.com/news/black-madonna-and-ugandas-dj-rachael-are-equalizing-dance-music
  11. https://www.okayafrica.com/kenya-house-music-uganda-musicians/
  12. https://www.electronicbeats.net/the-feed/these-female-djs-changing-ugandan-society-through-music-heres-how/
  13. "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-18. Retrieved 2022-11-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  14. https://www.kimt.com/content/national/488968561.html

Ewalala w'oyinza okubigya[kyusa | edit source]