Rachel Mayanja

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Rachel N. Mayanja looya omunayuganda era ayaniriza abagenyi okuva mu mawanga gw'ebweru wamu n'okubawa viza oba empapula ezibakiriza okugenda munsi endala. Esaawa eno, akola omuwi w'amagezi ow'enjawuloi owa Saabawandiisi w'ekibiina ky'amawanga amagate ku by'ensonga z'ekikula ky'abantu n'enkulakulana y'abakyala. Yatekebwa mu kifo kino eyali Saabawandiisi w'ekibiina ky'amawanga amagate mu 2004. Omulimu guni guli gudaala lyakubeera omumyuka w'a sabawandiisi.[1]

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu masekati g'ebitundu bya Uganda.

Okusoma kwe[kyusa | edit source]

Rachel Mayanja yafuna Diguli mu By'amateeka, okuva ku Yunivasite ye Makerere.[2] Yafuna ne Dipulooma mu by'okwenyigira mu mateeka okuva kutendekero eriyigiriza amateeka nga lisinganibwa mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda, ate ekisinga okubeera ekinene mu ggwanga lyonna. Diguli ye ey'okubiri mu mateeka yagifuna okuva ku Yunivasite ya Harvard mu Cambridge mu Massachusetts, mu ggwanga lya Amerika.[3]

Obumannyirivu bw'alina mu kukola emirimu[kyusa | edit source]

Mayanja yeegata ku kibiina ky'amawanga amagate, oluvannyuma lw'olukungaana olwali lusooka ku bakyala, nga lwali lutegekeddwa mu kibuga Mexico City, okuva nga 19 Ogwomukaaga mu 1975, okutuuka nga 2 Ogwomusanvu mu 1975.[4]Yasooka kolera mu kitongole ekivunaanyzizibwa ku mwenkano nkano gw'abakyala mu kibiina ky'amawanga amagate ekivunaanyizibwa ku by'ensonga z'abantu wamu n'ebibakwatako. Nga omumyuka ow'enjawulo owa Saabawandiisi w'ekibiina ky'amawanga amagate ku by'ensonga z'abantu wamu n'ebubakwatako, yali munyikivu mu by'enkulakulana by'ebyo ebyali birina okugobererwa, ng'era yeetaaba mu kungaana ku mitendeka egitaali gya gavumenti, wamu n'egya gavumenti kunsonga ezeekuusa ku kikula ky'abantu, famire, abalina obulemu kumibir, abavubuka wamu n'abakuze mu myaka.

Okuva mu 1989 okutuuka mu 1990, Mayanja yawereza ku kakiiko akakuumi k'eddembe mu ggwanga lya Namibia kibiina ky'amawanga amagate, ng'eno gyeyali akolera ne poliisi y'abantu babulijjo nga bakalabalaba b'okulonda okwali kutwala eggwanga mu meefuga. Okuva mu 1992 okutuuka mu 1994, yawereza mu kibiina ky'amwanga amagate ekyalina ekigendererwa mu Iraq ne Kuwait, ng'no yalina obuvunaanyizibwa obw'okuyambako abadukanya eby'emirimu okutukiriza ebigendererwa byayo. Wakati wa 1995 ne 1999, Mayanja yaliko mu bifo ebyawagulu eby'enjawulo mu ofiisi y'avunaanyizibwa ku byensonga z'abakozi, omwali okubeera nga y'avunaanyizibwa ku by'emisaala wamu n'okubeera ng'olina eddembe eri okukola ky'oyagala, wamu n'emisango ssaako n'ensonga ezeekuusa ku by'empisa. Mu 1999, yawerezaako nga omuwandiisi wa Saabawandiisi w'ekibiina ky'amawanga amagate ku kakiiko ke ak'okubula eby'etaago by'anatu. n'okubidukanya.

Mu 2000, yeeyimirirwa ab'ekibiina ky'amawanga magate ku lw'ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'emere n'eby'obulimi, nga eyali akulira eby'ensonga z'abakozi. Yakola kinene nnyo ku by'okudaabulula ensonga z'abakozi mu kitongole kino. Guno gwegwali omulimu gwe ogwali gusembayo nga tanaba kufuna kifo ky'alimu kati.

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Mayanja abeera mu kibuga New York mu saza lya New York, mu ggwanga lya Amerika. Ye maama w'abaana basatu.

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]