Rama Jacqueline Aol
Rama Jacqueline Aol (eyali Aol Jacqueline), era amanyikiddwa nga Aol Rama, (yazaalibwa nga 26 Ogusooka mu 1969) mukyaala Munnayuganda ow'ebyobufuzi era social worker. Ye mubaka omukyaala akiikirira Distulikitti y'e Nebbi mu Paalamenti ya Uganda ey'ekumi (2016 to 2021). Aol ali mu kibiina eky'obufuzi ekifuga ekya National Resistance Movement (NRM).[1]
Ebimukwatako n'emisomo
[kyusa | edit source]Aol mufumbo.[1] Wansi wano we wali ebikwaata ku misomo gye:[1]
Omwaka mwe baamutikira | Bye yasoma | Ekika | EttendekeroInstitution |
---|---|---|---|
1985 | UCE | Uganda Certificate Of Education | Sacred Heart Gulu |
2004 | Counselling and Guidance Certificate | Certificate | Nsamizi |
2006 | Dipulooma | Dipulooma | Nsamizi |
2007 | Addiction Studies Certificate | Certificate | Nkozi University |
2014 | UACE | Uganda Advanced Certificate of Education | Arua Hall (UNEB) |
2014 | Certificate in Monitoring and Evaluation | Certificate | Ndejje University |
2014 | Certificate in Oil and Gas Reporting | Certificate | Africa Centre for Media Excellence |
2014 | Certificate in Radio Production | Certificate | BBC World Service |
2014 | Certificate in Peace and Conflict Sensitive Reporting | Certificate | Internews Network |
2014 | Certificate in Farm Talk Production | Certificate | Farm Radio International |
2014 | Certificate in Online Journalism | Certificate | Learn BBC World Service Trust |
2014 | Certificate in Computer Applications | Certificate | Ndejje University |
2017 | Bachelor of Development Studies (On going) | Bachelor's degree | Ndejje University |
Emirimu nga taneegatta ku by'obufuzi
[kyusa | edit source]Mu 2005, yakola nga counselor ku Serenity Centre. Oluvanyuma mu mwaaka gwe nyini, yegatta ku Community Action Against Alcoholism and Drug Abuse nga dayirekita okutuusa kati.[1] Wakati wa 2006 ne 2013, yaweereza nga mmemba wa board ku ttendekero lya Arua Technical Institute, Ragem. Wakati wa 2010 ne 2014, Aol yakola nga ssentebe wa West Nile Consortium mu kujawo okitulugunya bantu. Okuva mu 2007 okutuusa 2015, yakola nga ow'ebyamawulire ku Arua Diocese Media Centre-Radio Pacis. Okuva mu 1991 okutuusa 2001, yaweereza nga Clerical Officer ku Gavumenti ya wansi eya Disitulikitti y'e Nebbi era n'akolayo nga Clerical Officer mu Dipaatimenti y'omulamuzi wakati wa 1986 ne 1991.[1]
Eby'obufuzi
[kyusa | edit source]Nga tanegatta ku Paalamentti ya Uganda nga Mmemba wa Paalamenti owa Disitulikitti y'e Nebbi mu mwaka gwa 2016, Aol yaweereza nga speaker wa Oluk Sub-County, Arua District okuva mu 2011 okutuusa 2014.[1]
Aol aweereza mu kifo ekirala mu Paalamentti ya Uganda mga mmemba w'akakiiko k'eobwenkanya ne by'obulimi aka Equal Opportunities and Agriculture.[1] Era aweereza wansi w'ekibiina kya full membership of professional bodies of the Uganda Journalists Union.[1]
Yalaga okukwatibwaako ku nsonga z'abawala abava mu somero amangu mu Nebbi olw'okufumbirwa nga bakyaali bato.[2]
Emirimu nga avudde mu Paalamenti
[kyusa | edit source]Mu 2019, yateekawo ekibiina kya West Nile Women Development Agency (WEWODA).[3]
Laba na bino
[kyusa | edit source]- Paalamenti ya Uganda
- Olukalala lwa ba mmemba ba Paalamenti ya Uganda ey'ekumi
- Disitulikitti y'e Nebbi
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 1.5 1.6 1.7 https://web.archive.org/web/20161108055742/https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=227 Cite error: Invalid
<ref>
tag; name ":1" defined multiple times with different content - ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/only-600-girls-to-sit-ple-in-nebbi-as-dropout-takes-toll-1852456
- ↑ https://www.westnilebiz.com/1164/Hon-Aol-Jacqueline-Launches-West-Nile-Women-Development-Agency-WEWODA-