Raphael Magyezi

Bisangiddwa ku Wikipedia

Raphael Magyezi yazaalibwa ng'ennaku z'omwezi 27 omwezi ogw'omusanvu mu mwaka gwa 1960. Ye mubaka mu paalamenti akiikirira Igara West okuva mu mwaka gwa 2011era yalondebwa ku lukiiko olukulembera Uganda n'aweebwa obwa minisita wa gavumenti ez'ebitundu mu mwaka gwa 2020 nga obukulu buno bwamuweebwa pulezidenti[1].[2]

okusoma kwe[kyusa | edit source]

Yafuna dipulooma mu katigondo seminary mu mwaka gwa 1983. N'afuna BSc mu ohilosophy okuva mu Urban University ey'eRome mu 1984 Era n'afuna diguli endala okuva mu Nakawa for business studies mu 1990. yafuna diguli mu by'okubalirira okuva mu makerere University mu mu 1992. Yafuna ebbaluwa mu Human Resource Management mu 1996. Mu 1998 Magyezi yafuna diguli ey'okubiri mu Economic and management nu 1998. Mu 2004 yafuna yagenda yagenda e Norway gye yawangulira dipulooma mu local management studies okuva mu Kristians and college e Norway.[3]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Yakolako ng'omubalirizi omukulu ku lukiiko lwa disitulikiti y'eMukono okuva mu 1991 okutuuka mu 1998, n'akola ng'omubalirizi omukulu ku lukiiko lwa Local Gorvernment okuva mu 1997 okutuuka mu 1998 era n'akolako nga ssaabawandiisi w'ekibiina kya Local Governments Associaton okuva mu 1998 okutuuka mu 2010. Mu mwaka gwe gumu, yeesogga Paalamenti era n'alondebwa nga Mininsita wa Local Governmentmu mwaka gwa 2020.[4]

Emirimu gy'akoze mu Paalamenti.[kyusa | edit source]

Yasinga kumanyika nyo ng'omutandisi wa Private members Bill akakola ku kutereeza mu ssemateeka akakola eteeka eryagyawo ekkomo ku myaka gya pulezidenti mu mwaka gwa 2917.[5][6]

Akakiiko akaabaga etteeka eryagyawo ekkomo ku myaka aka 2017[kyusa | edit source]

Eteeka eryagyawo ekkomo ku myaka gya pulezidenti lyaleetebwa lAkakiiko Rapheal Magyezi owa Igara West: akawayiro aka 102(b) ak'eteeka lino kaayisibwa kkooti ya ssemateeka .Oluvanyuma lw'okuyisa eteeka lino pulezidenti yamulonda okubeera Minisita wa local government mu mwaka gwa 2019 era nga kino yakikola olw'okumusiima[7]

Ebyava mu konoonyereza byalaga nti ebitundu 85 ku buli kikumi eby'abntu baawagira akawaayiro kano ak'okugyawo ekkomo ku myaka gy'obukulembeze,wabula ebitundu 15 ku buli kikumi bokka be baawakanya etteeka lino nga bawagirwa akabinja akateekebwawo okuwuliriza endowooza z'abatono. Bwe katyo nno kaakola okwebuuza bannansi abaawerera emitwalo etaano nga okuva constituencies 100. nga ku bano abantu 27,503 baali basajja so ng'ate emitwalo 22,926 be beebuuzibwako. mu bukiika ddyo ebitundu 95 ku buli kikumi be baalabika okuba nga bawakanya akawayiro kano,mu mambuka ebitundu 86 ku buli kikumi be baakawakanya so ng'ate mu kiika kkono ebitundu 76 ku buli kikumi be baakawakanya olwo no mu massekkati ne biwera ebitundu 66 ku buli kikumi eby'abantu abaali batayagalira ddala kuwuliza kawaayiro ako akaggya ekkomo ku myaka gy'omukulembeze nga kayisibwa.[8]

Akalulu ka 2021[kyusa | edit source]

Magyezi yakawangammula bwe yategeeza aba Radio Network nga bwe yali tagenda kuddamu kwesimbawo ku bubaka bwa paalamenti.Yateggeza nti oluvannyuma lw'okuweerereza emyaka ekkumi yali asazeewo awummule mu by'obufuzi naye nga yali waakudda gye buggya mu maaso. Kyokka nga Magyezi teyawa nsonga ya ssimba lwaki yali asazeewo okugira ng'awummula eby'obufuzi.[9]

  1. https://kampalapost.com/content/my-ministerial-appointment-merit-raphael-magyezi
  2. https://www.newvision.co.ug/news/1517657/2021-polls-prof-kabwegyere-mp-gaffa-fight-minister-magyezi
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-29. Retrieved 2021-09-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-29. Retrieved 2021-09-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://parliamentwatch.ug/mp-magyezi-tables-age-limit-bill-for-first-reading/
  6. https://www.pmldaily.com/news/politics/2020/08/minister-magyezi-opts-out-of-race-for-igara-west-mp-seat.html
  7. https://www.newvision.co.ug/news/1513957/magyezi-hero-welcome-kamukama-sworn
  8. https://nilepost.co.ug/2017/12/09/new-survey-85-in-igara-west-magyezi-oppose-age-limit-amendment/
  9. https://www.independent.co.ug/i-am-taking-a-rest-from-elective-politics-magyezi/