Jump to content

Ray G

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Reagan Muhairwe yazaalibwa nga 12 Ogwomukaaga mu 1992), nga basinga kumumannya nga Ray G Rhiganz, Munayuganda omuyimbi ng'era awandiika n'ennyimba.[1] Asinga kukuba nnyimba zikwata ku byansikirano nga ziri mu Runyankore. Ytandika okuyimba mu 2009 bweyali akyali kusomero okutuusa mu 2014 bweyayitamu n'amannyikwa olw'oluyimba lwe "Amarari".[2][3] Ray abaddeko ku siteegi enene n'abayimbi b'omutendera gw'ensi yonna nga Eddy Kenzo, Meddy ne Jose Chameleone ku bikujuko bya Johnnie Walker Highball tour mu Mbarara,[4] Ali omu ku bava mu bugwanjuba bwa Uganda nga Allan Toniks, Sister Charity, Juliana Kanyomozi.[5] Akozeeko ennyimba n'abayimbi abanene nga Bebe Cool, Voltage music, Spice Diana, Serena Bata, Levixone, Truth 256.

Yasomera ku Ishaka Adventist College,[6][7] nga gyeyatuulira siniya ey'okuna n'ey'omukaaga gyeyamaliriza mu 2012 nga tanaba kuyitamu kutandika kuyimba.[8] Teyeegata ku yunivasite olw'abazadde bbe okubeera nga baali tebasobola kusasula bisale bya yunivasite olw'okuba yalina abooluganda bbe nga banji abaalina okugenda kusomero. Yafuna okumannyikwa mu buvanjuba bwa Afrika oluvannyuma lw'oluyimba lweyayimba ne Spice Diana lwebayita ''Omusheshe''.[9]

Bweyali ajaguza okubeera nga yali awezezza emyaka 10 mu kisaawe ky'okuyimba, yamenya likodi y'okubeera nga yategeka ekivulu mu bugwanjuba bwa Uganda okwali namunji w'omuntu era nekikwatayo nga 14 Ogwomwenda mu 2019 mu kibuga ky'e Mbarara.[9] TKino kyasikiriza kampuni ezimannyikiddwa era nga z'amaanyi nga omukutu gwa leediyo ya 91.3 Capital FM, Africell Uganda, 91.2 Crooze Fm ne NBS Television.

Mu 2021, Ray G yawangula awaadi y'okubeera eyali asinga okuzannya mu mwaka ''best years act'' ng'ava mu bugwanjuba bwa Uganda awaadi empya eya New Janzi Awards,[10] aawaadi gyebasinziirako okuwa banayuganda abayimbi mu by'okutondawo ebipya mu kisaawe kinoeky'okuyimba.[11]

Oluvannyuma lw'okubalukawo kw'ekirwadde kya COVID-19, yalabikako ku maloboozi agawerako agaali bakubiriza abantu ku kawuka kano akaali ak'obulabe. Kino kyakolebwa nga bayita munyimba omwali; Bebe Cool, Catherine Kusasira, lwebaalita ''Corana Distance''.[12]

Mu 2021, yalumirizibwa era n'atwalibwa ne mu kooti olw'okutataganya endagaano y'okubeera nga yali alina okuyimba mu kivulu, ng'eno Ray ne maneja we Clifford baafuna obukadde bubiiri obwa ssente za Uganda okubeerako gyebayimbira ku mbaga mu disitulikiti y'e Ibanda wabula oluvannyuma nebagaana okuzisasula.[13]

Mu Gwekumi nga 2022, yategeka ekivulu kye ekyaali kisookera ddala ku woteeri ya Imperial Royale mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu.[14]

Obufumbo bwe

[kyusa | edit source]

Ray G ne Liz baatandika okwagalana mu 2016 Liz bweyali akolera mu Dubai. Mukaseera ako, yatandika okuteeka ssente mu zimu kunnyimba zze, yeeyali apangisa n'ennyumba gyebaali basulamu, nga yagula n'ebimu kubintu by'omunnyumba oluvannyuma lwa Ray G okukakasa maama we nti yali agenda kuwasa Liz. Yatandika okusindika ssente okugula poloti y'ettaka, enimiro y'ebitooke n'ente.[15]

Mu 2019, Ray G yagamba Liz nti oluvannyuma lw'ekivulu yali agenda kumuwasa wadde nga yali yakavaamu embuto bbiri.

Engeri Annabell gyeyali mukwano gwa Liz yabakyalira nga ebiseera ebimu mu makaga gaabwe, nga kaali mu kaseera ako Ray g ne Annabell bwebaatandika okubeera bonna mu kyama era n'afuna n'olubuto, nga kino kyawaliriza Ray G omuwanjula era n'amuwasa kuba yali agaanye okujamu olubuto.

Liz kyamukuba wala, ng'aswadde era n'afuna n'akazoole ekyamuletera okutandika okunywa ennyo omwenge. Oluvannyuma yaddayo e Dubai; wabula nga yagamba obutasonnyiwa Ray G nebwebuliba ddi.[16]

Mu 2021, yakuba omukoze w'oku ttivi Annabelle Twinomugisha mu butongole.[17] Nga banateera okutuuka kunkomerero y'omwaka, bombi baasiba ekitutwa nga kwaliko mikwano gyabwe gyebaali baludde nagyo n'omuyimbi w'ennyimba z'eddiini Levixone eyakola nga besiti maani, ng'omukolo guno gwakulemberwa ssaabalabirizi Sheldon Mwesigwa.[3] Ye ne mukyala we baafiirwa omwana wabwe ow'okubiri gwebaali baakazaala n'omuwala Kim.[18] Akaseera akaalaba eyaliko mukazi wa Ray G Namara nga musanyufu nti Ray agya kusigala ng'asasulira obudde bwe bweyamala ne ssente, naye ng'ono abaagala muziki baamuvumirira nnyo olw'ebyo byeyayogera.[19][20]

Awaadi

[kyusa | edit source]
  • Best Western Act - Weeshe, Hipipo Music Awards.[21]
  • Eyali asinga okuwandiika ennyimba mu mwaka- Omusheshe, Hipipo Music Awards 2020.[22]
  • Eyali asinga okwolesa mu bitundu by'omubugwanjuba bwa Uganda - Janzi Music Awards.[23]

Ennyimba zze

[kyusa | edit source]

[24]

  1. Nobanza
  2. Yoya ft Levixone
  3. All I can give
  4. Rukundo ft Serena Bata - 2021
  5. Make a Way - 2021
  6. Yele ft Geosteady - 2019
  7. Omusheshe - 2019
  8. Eizooba - 2020
  9. Winner ft Mc Kacheche - 2020
  10. Weeshe - 2019
  11. Owangye Omwigarire - 2016
  12. Nuunu - 2017
  13. Mureebe - 2014
  14. Enshazi - 2012
  15. Nokigambahoki - 2015
  16. Ninkukunda - 2018
  17. Nkaronda Lovely Nancy - 2018
  18. Tibyempaka - 2018
  19. Ringaaniza - 2020
  20. Humuura - 2020
  21. Naaba Nkwine - 2017
  22. Amarari - 2012
  23. Tayari - 2018
  24. Weena - 2019
  25. Ebindikwenda- 2013
  26. Weekend - 2013
  27. Hiihi my Love - 2018
  28. Runkondo Nenyiga - 2014
  29. Yaabare
  30. Amarari - 2012

Ebijuliriziddwa

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2022-01-06. Retrieved 2022-12-11.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://informationug.com/ray-g/
  3. 3.0 3.1 https://www.campustimesug.com/ray-g-biography-and-love-life/
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2022-08-14. Retrieved 2023-07-09.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-11. Retrieved 2022-12-11.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://www.campustimesug.com/ray-g-biography-and-love-life/
  7. https://blizz.co.ug/artist/35/rayg
  8. https://www.matookerepublic.com/2018/07/11/interview-i-was-too-broke-to-join-university-but-now-i-can-afford-harvard-rayg/
  9. 9.0 9.1 https://bigeye.ug/mcm-meet-ray-g-western-ugandas-biggest-music-icon/
  10. https://www.musicinafrica.net/magazine/janzi-awards-2021-uganda-all-winners
  11. https://www.sqoop.co.ug/202112/news/events/full-list-of-winners-at-janzi-awards.html
  12. "Archive copy". Archived from the original on 2022-01-07. Retrieved 2022-12-11.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  13. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-11. Retrieved 2022-12-11.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  14. https://nilepost.co.ug/2022/10/25/ray-g-ready-to-test-waters-with-first-kampala-concert-on-saturday/
  15. https://www.routineblast.com/exclusive-source-of-nasty-beef-between-ray-g-ex-lover-liz-akunda-namara-unearthed-audio/
  16. https://www.routineblast.com/i-will-not-rest-until-you-pay-for-my-wasted-years-and-money-ex-lover-warns-ray-g-after-losing-baby-girl/
  17. https://www.newvision.co.ug/articledetails/1523188
  18. https://www.campustimesug.com/ray-g-biography-and-love-life/
  19. https://www.newvision.co.ug/articledetails/123293
  20. https://www.watchdoguganda.com/entertainment/20211221/127109/singer-ray-gs-daughter-passes-on-excited-ex-lover-claims-responsibility-for-her-death.html
  21. https://observer.ug/lifestyle/65091-hipipo-awards-leave-kenzo-tickled-women-scowling
  22. https://hma.hipipo.com/2020/05/29/hipipomusicawards-wethebest-lock-down-edition-2020-winners/
  23. https://mbu.ug/2021/12/13/janzi-awards-2021-full-list-of-winners/
  24. http://www.kampalafm.com//artist?id=531&a=ray-g