Rebecca Amuge Otengo

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Rebecca Amuge Otengo Munnayuganda munnabyabufuzi. Mu 2017, yalondebwa nga Ambasada wa Uganda mu Ethiopia[1][2] ne Djibouti ng'abeera mu Addis Ababa. Ekifo kino ky'amufuula omukiise wa Uganda omutongole mu kakiiko akataba amawanga ga Africa aka African Union (AU), Intergovernmental Authority on Development (IGAD) wamu ne UNECA[1][3] Ye yali Minisita omubeezi ow'ensonga z'Obukiikakkono bwa Uganda mu Kabinenti ya Uganda. Yalondebwa mu kifo ekyo nga 27 Ogwokutaano 2011.[4][5] Rebecca Amuge ye yali Mmemba mu Paalamenti, omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Alebtonge.[6]

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Rebecca Amuge yazaalibwa nga 26 Ogwokuna 1966 mu Tunduttundu ly'e Lango mu Bukiikakkono bwa Uganda. Yasomera ku St. Katherine Girls' Secondary School mu misomo gye egya O-Levo, ng'atannaba kwegatta ku Dr. Obote College mu Lira, okumaliriza A-Levo. Mu 1990 yafuna Dipuloma mu Business Studies okuva ku ssomero elimanyikiddwa mu kusomesa eby'ensimbi erya Makerere University Business School. Mu 2008, Yafuna Diguli mu kukwasaganya abakozi eya Bachelor of Arts in Human Resource Management okuva ku Yunivasite y'e Makerere, Yunivasite ya Gavumenti esinga obukulu n'obukadde mu Uganda. Mu mwaka gwe gumu yafuna Satifikeeti mu kukwasaganya amateeka eya Certificate in Administrative Law okuva ku Law Development Centre. Mu 2010 Makerere Yunivasite yamutikkira Diguli eyokubiri eya Master of Science in Human Resources Management.[6]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Amuge Otengo yatandiika emirimu gye mu 1991 nga Personnel Manager/Trainer mu Sun-Set Group, nga yaweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1993. Era oluvanyuma yaweereza nga personnel instructor mu Pulojekiti y'eKkanisa ya Uganda mu Jinja, okuva mu 1993 okutuusa mu 1995. Wakati wa 1996 ne 2001 yali mukubiriza wa Pulojekiti y'eKkanisa ya Uganda, mu Busumba bw'e Lango. Okuva mu 2002 Okutuusa mu 2006, yaweereza nga Omumyuka wa Ssentebe wa Gavumenti ya wakati eya Lango Disitulikiti. Mu 2006, yalondebwa ku kifo ky'omubaka akiikirira abakyala mu Disitulikiti y'e Lira, nga yaweereza okuva mu 2006 okutuusa mu 2011. Mu 2011 yesimbawo ku kifo ky'omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Alebtong mu Paalamenti era n'alondebwa. Mu Gwokutaano 2011, yalondebwa nga Minisita omubeezi owa Disitulikiti y'Obukiikakkono bwa Uganda;[7] Yadda mu bigere bya David Wakinona, eyali alondeddwa ku kifo kya Minisita omubeezi ow'ebyobusuubuzi n'ebintu eby'edda.

Ebirala ebikulu[kyusa | edit source]

Rebecca Amuge Otengo mukyala mufumbo era maama. Ava mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement.

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 "Archive copy". Archived from the original on 2019-05-25. Retrieved 2024-04-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2019-05-25. Retrieved 2024-04-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2019-05-25. Retrieved 2024-04-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision
  5. https://www.facebook.com/note.php?note_id=10150208384704078&comments
  6. 6.0 6.1 http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?p=f&n=t&details=t&j=384&const=Woman+Representative&dist_id=112&distname=Alebtong
  7. https://www.facebook.com/notes/the-new-vision/comprehensive-list-of-new-cabinet-appointments-dropped-ministers/10150208384704078