Richard Byarugaba
Richard Patrick Byarugaba munnayuganda omukungu wa bizinensi, mukozi mu bbanka, era omutandisi wa bizinensi . Ono ye yali managing director era akulira emirimu mu kitongole ky'e Kittavvu Ky'abakozi , ekitongole ekigaba akasiimo k’abakozi abatali ba gavumenti mu Uganda. Yaweereza mu kifo ekyo okuva mu Gw'ekkumunoogumu 2017 okutuuka mu Gwekkuminoogumu 2022. [1] [2] [3] . Era yawandiikibwa mu 2012 ng’omu ku bantu ssekinnoomu abasinga abagagga mu Uganda. [4]
Obuto bwe n'okusome kwe
[kyusa | edit source]Byarugaba yazaalibwa mu 1961 mu Kitundu ky'oBugwanjuba bwa Uganda. Yasomera mu Ssettendekero wa Makerere, ettendekero lya gavumenti erisinga obukulu mu Uganda, era n’atikkirwa diguli mu bibalo n’ebyenfuna. Mubalirizi w’abitabo alina ebisaanyizo mu kibiina kya Association of Chartered Certified Accountants mu Bungereza (UK). Alina ne dipulooma mu by’okuddukanya emirimu okuva mu Henley Management College, nga nayo eri mu Bungereza. [5]
Obumanyirivu bwe mu kukola
[kyusa | edit source]Byarugaba abadde mu bifo eby'enjawulo okumala emyaka, ng'ebisinga biri mu kisaawe kya bbanka ekya Uganda. [6] Yatandika ng’omukungu mu bbanka mu Standard Chartered Uganda (Stanchart), mu 1983. Bwe bwatuukira mu 1992, yali alinnye eddaala era nga ali ku dayirekita omukulu ow’ebyensimbi mu kkampuni eyo. Mu 1994, yakyusibwa n’atwalibwa ku kitebe kya Stanchart ekikulu mu nsi yonna e London, nga ye akulira eby’ensimbi mu kitundu, avunaanyizibwa ku Africa. [7] Yakomawo e Uganda mu 1997, era ne yeegatta ku Nile Bank Limited, bbanka y’obwannannyini eya retail. Yafuuka Dayirekita Omukulu owa bbanka eyo mu 2003. Mu 2007, Barclays, ekitongole ekigatta bizinensi ezenjawulo nga zikola emirimu gyegimu eky’ebyensimbi ekya Bungereza, kyagula emigabo gyonna egya Nile Bank Limited ku bukadde bwa ddoola za Amerika 27 (UGX:52 billion). Bannannyini bbanka eno abapya baagatta bbanka eno n’emigabo gyabwe egya bbanka egyaliwo mu ggwanga ne bakola bbanka ya Barclays (Uganda) eriwo kati . Byarugaba yadda mu bbanka ya Baclays (Uganda) ng’akulira emirimu. [7]
Mu 2008, Global Trust Bank (Uganda) bweyali etandikiddwawo, ba nnannyini abapya baalonda Byarugaba nga Dayirekita Omukulu owa Bbanka eyo ayali yaakatandikibwawo.[8] Yali mu kifo ekyo okutuusa mu 2010 bwe yavaayo okugenda mu Kitongole Ky'ekittavvu Ky'abakozi(Uganda). nafuuka Direkita Omukulu era Omukulu mu Kuddukanya Emirimu.[9]
Byarugaba era akoleddeko ne mu Hospice Africa, nga kino Kibiina Ekikola ku Kugaba Obujanjabi mu Uganda, era ne mu Uganda Institute of Banking and Financial Services. Bwe yalekulira okuva mu Global Trust Bank, yeeyafuuka omuwanika W'ekibiina Ekigatta Abakozi ba Bbanka mu Uganda.[10]
Laba na bino
[kyusa | edit source]- Olukalala lw'abantu abasinga obugagga mu Uganda
- Olukalala lwa bbanka mu Uganda
- Geraldine Ssali Busuulwa
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/amongi-refuses-to-renew-byarugaba-contract-at-nssf-4308318
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/The_Observer_(Uganda)
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2014-11-08. Retrieved 2024-09-12.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.newvision.co.ug/news/628191-the-deepest-pockets.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20141102234933/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/726547
- ↑ http://www.newvision.co.ug/news/661248-byarugaba-bounces-back-as-nssf-boss.html
- ↑ 7.0 7.1 https://en.wikipedia.org/wiki/Bloomberg_L.P.
- ↑ https://web.archive.org/web/20141108201940/http://www.newvision.co.ug/D/8/220/663245
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2014-11-08. Retrieved 2024-09-14.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.monitor.co.ug/Business/-/688322/1029884/-/3977ap/-/index.html