Ricky Richard Anywar
Appearance
Rick Richard Anywar munnabyabufuzi munnayuganda era nga yali mwana mujaasi mu muyeekera w’eggye lya Lord’s Resistance Army (LRA) eryatandikibwawo Joseph Kony. Anywar yayingizibwa mu magye ku myaka 14 era n’aweereza mu magye g’abayeekera okumala emyaka ebiri nga tannatoloka ku myaka 16. Yafuuka mulekwa oluvannyuma lwa bazadde be okuttibwa ekitongole kya LRA.
Anywar yalondebwa ku kifo kya Agago County mu Palamenti ya Uganda ey'omulundi ogwa 11 ku Ticket of National Resistance Movement mu 2021.