Robert Kayanja
Robert Kayanja ye mutandisi era omusumba omukulu ow'ekkanisa ya Miracle Centre Cathedral, emu ku kanisa ennene mu Kampala. Era ye mutandisi era akulira omukutu gwa ttivvi oguweereza eby'ekikulisitaayo oguyitibwa Channel 44 Television (Miracle Ltd).
Obuweereza n'eby'eddiini
[kyusa | edit source]Robert Kayanja yatandika ekkanisa ya Miracle Centre n'ebitoogo bye yakozesa okuzimba ng'ali wamu ne banne abamuyambako mu buweereza. Olwaleero y'emu ku Kanisa ezisinga obunene mu kitundu ng'etuuza abantu abasoba mu 10,000. Era y'akulira ettendekero lya Miracle Bible College, Pulojekiti erabirira abaana eya Never Again Children's project kwossa amaka agalabirira Bamulekwa aga Kapeeka orphanage. Ye dayirekita wa Miracle TV era omwogezi ow'olulango ku mukutu gwa Daystar Television Network.[1] Ekkanisa ye era esobodde okutandikawo amakanisa amalala agasoba mu 1,000 okwetoloola eggwanga nga galina akakwate ku Kanisa eno.[2]
Kayanja akubiriza abagoberezi be okukola bagaggawale basobole okutuukiriza ebirooto byabwe.[3][4]
Ye ssentebe w'ekitongole kya AfriAid.[5]
Kayanja era ye nannyini kwolesebwa kw'ennaku 77 ez'obuwanguzi ezimanyiddwa nga 77 DOGS.
Engule z'awangudde
[kyusa | edit source]Kayanja yawangula engule ya Worldsavers Man of the Year Award mu 2014.[6]
Kayanja era yawangula engule ya VIGA Merit Award. Zino z'engule ezitegekebwa abayimbi b'ennyimba z'eddiini nga mwe basiimira abantu abalina bye bakoze mu kisaawe ky'ennyimba eziryowa emyoyo.[7]
Okudduukirira abali mu buzibu
[kyusa | edit source]Pulezidenti Yoweri Museveni yasiima Omusumba Robert Kayanja ne General Salim Saleh olw'okukulemberamu omulimu gw'okukungaanya obuyambi bw'emmere eri abantu b'e South Sudan.
"Nebaza abagoberezi ne General Saleh olw'okubeera n'ekirowoozo ekirungi eky'okuyamba baganda baffe ne banyina ffe abali e South Sudan nga betaaga obuyambi," Museveni bwe yagamba. Yayongerako nti ekikolwa kye baakola kyali kituukana n'enjigiriza ya bayibuli ekubiriza abantu okwagala baliranwa baabwe nga nabo bwe beeyagala. Yakaatiriza nti kye baakola kyali kirungi nnyo okuyimirira ne baganda baffe ab'e South Sudan.[8]
Omuwi wa Pulezidenti ow'amagezi ku nsonga z'ekijjaasi Gen. Salim Saleh ng'ali wamu n'abagagga b'omu Kampala wansi w'ekibiina kya Afri-Aid, baasonda obukadde 300 okugulira ab'e South Sudan emmere oluvanyuma lw'okutaagulwa olutalo.[9] Saleh yannyonnyola nti nga tebannaba kutandika kusondera bantu b'e South Sudan, yasooka kutuukirirwa omukazi munnabizinensi w'omu Kampala Esther Mpumuza n'amuwa amagezi nti waaliwo obwetaavu obw'okusabira n'okusondera abantu b'e South Sudan abaali bagoyeddwa olutalo.
Nga Ssentebe wa Afri-Aid, Kayanja yagamba nti, "Kino kye kiseera Abafirika okuwaayo kyonna kye balina okusobola okuyamba abantu baffe abawangaalira mu bulamu obubi e South Sudan. Nga Ssentebe wa Afri - Aid, nina okufuba okulaba nga tukungaanya obuwumbi 2 okugulira abantu b'e South Sudan emmere."[10]
Okwemulugunya n'obukuubagano
[kyusa | edit source]Nga 31 Ogwekuminebiri 2005, Kayanja yalagula nti omu ku baali besimbyewo ku bwa Pulezidenti yali ajja kufa ng'okulonda tekunnaba.[11] Ababaka ba Palamenti baafuna okutya naye kino tekyatuukirira. [12]
Mu 2006, baamukolokota nnyo olw'okwegaggawaza n'azimba goloofa kwokomya amaaso e Gaba okuliraana Kampala ku lubalama lw'enjanja Nalubaale. Kayanja yayanukula abaali bamukolokota n'abasaba okufa ku bibakwatako, n'agamba nti Goloofa ye kyali kirabo kya bufumbo eri mukyala we.[13]
Mu 2009, ensasagge yagwawo, Kayanja bwe baamulumiriza nti yenyigira mu kulya abavubuka abato mu Kanisa ye ebisiyaga.[14] Abasumba abalala baayambako abavubuka bano okuwaaba emisango gyabwe mu b'obuyinza, wabula bano ate oluvanyuma emisango baagiggyayo. Abawagizi ba Kayanja baalumiriza abaali banenya omuntu waabwe nti baali baagala kuttattana linya lye wakati nga yetegekera Omusumba omumerica Benny Hinn eyali agenda okumukyalirako ku Kanisa ye.[15] Poliisi oluvanyuma yejjeereza Kayanja ku misango gy'okulya ebisiyaga.[16] N'abaali bamuvunaana nabo bagyibwako emisango gy'okuwaayiriza n'okuttattana erinnya lye.[17] Wabula mu October 2012, kkooti ya Buganda Road yasingisa abantu mukaaga omusango gwokwekobaana battattane erinnya lya Kayanja era ne baweebwa ebibonerezo omuli okusasula akakadde kamu aka ssente n'okukola Bulungibwansi okumala essaawa 100. Ku bano kwaliko n'omusumba Martin Ssempa.[18]
Okumwetondera
[kyusa | edit source]Nga 2 Ogwekuminebiri 2016, Robert Musasizi amanyiddwa ennyo nga Mukisa, ng'ono ye yali alumiriza Kayanja okumulya ebisiyaga mu 2009, yagenda ku Kanisa ya Miracle Centre ng'ali ne Maama we.[19] Mu kiseera ekyo baali mu nnaku 77 ez'ekitiibwa n'obuwanguzi, nga zino zaategekebwanga okusaba n'okukowoola mwoyo mutuukirivu. Musasizi mu lujjudde lw'abantu yetonda era n'ategeeza nga bwe yakozesebwa abasumba abamu ne bannamatteeka alumirize Kayanja, ekintu ekitaali kituufu.[20] Musasizi yemenya mu mutima era ne yetondera Kayanja ne mukyala we Jessica Kayanja. Ku nkomerero y'okwetonda, Kayanja yasonyiwa Musasizi era n'amuwa omukisa wamu ne famire ye, era n'amulangirirako obugagga.[21]
Obulamu bwe ne Famire
[kyusa | edit source]Kayanja abeera Kampala ne mukazi we Jessica, omutabani Robert Kayanja Jr. ne bawala baabwe abalongo Kirstein ne Kristiana. Kristiana yawona kookolo w'obwongo mu 2004.[22] Omusumba Kayanja ye muto w'eyali Ssaabalabirizi we York, John Ssentamu ne David Makumbi Omusumba mu kanisa emu mu Uganda.[23]
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2011-07-26. Retrieved 2022-09-17.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://charismamag.com/charisma-archive/reign-of-terror-reversed-in-uganda/
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Financial_Times
- ↑ https://www.newvision.co.ug/mobile/Detail.aspx?NewsID=629888&CatID=396
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/662767-uganda-launches-food-aid-initiative-to-south-sudan.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20150415020515/http://worldsavers.ug/?page_id=1075
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-20. Retrieved 2022-09-17.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-01-20. Retrieved 2022-09-17.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20141215014414/http://www.newvision.co.ug/news/662767-uganda-launches-food-aid-initiative-to-south-sudan.html
- ↑ http://www.newvision.co.ug/news/662767-uganda-launches-food-aid-initiative-to-south-sudan.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/D/8/13/473914
- ↑ https://www.newvision.co.ug/D/8/13/474775
- ↑ https://www.newvision.co.ug/D/8/13/520330
- ↑ https://www.google.com/hostednews/afp/article/ALeqM5jCMfJ7SYna0Yw2mNd-zL9Px6HIuQ
- ↑ https://www.google.com/hostednews/afp/article/ALeqM5jCMfJ7SYna0Yw2mNd-zL9Px6HIuQ
- ↑ https://www.newvision.co.ug/D/9/772/695817
- ↑ https://allafrica.com/stories/201101260048.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/635932-pastor-kayanja-sodomy-accusers-convicted.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2017-01-10. Retrieved 2022-09-17.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://bigeye.ug/pastor-robert-kayanjas-homosexuality-case-accuser-reveals-whole-truth/
- ↑ https://www.youtube.com/watch?v=lLPZVcdPLvg
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Financial_Times
- ↑ https://www.newvision.co.ug/D/8/12/440111