Jump to content

Robina Gureme Rwakoojo

Bisangiddwa ku Wikipedia
Rwakoojo Robina Gureme.jpg

 

Robina Gureme Rwakoojo Munnayuganda,Munnamateeka, Abaga amateeka nga aweereza nga omubaka mu Paalamenti akiikirira Obuggwanjuba bw'Essaza lye Gomba mu Distulikiti y'e Gomba mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkuminemu.[1] Ava mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement (NRM).[2] Era yaweerezaako mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi.[3] Era yegatta ku lw'okaano lw'okuvuganya ku bwa Omumyuka wa Sipiika mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkuminemu.[4][5][6]

Ebimukwatako

[kyusa | edit source]

Robina Gureme Rwakoojo yazzalibwa nga 17 Ogwomusanvu 1964 okuva mu Famire y'Abakulisitaayo.[3] Ebigezo bye eby'akamalirirzo ebya Primary Leaving Examinations 1976 yabikolera ku Nakasero Primary School. Yegatta ku Nabumali High School ng'eno gye yakolera ebigezo bye ebya Uganda Certificate of Education mu 1980. Era okuva ku Kings College Budo mu 1984, gye yakolera ebigezo bye ebya Uganda Advanced Certificate of Education.[1]

Rwakoojo Gureme Rwakoojo yatikkirwa Diguli mu Mateeka okuva ku Yunivasite y'e Makerere mu 1990. Yamaliriza Dipilooma ye ey'enyongereza mu kutaputa amateeka okuva ku Law Development Centre mu 1990 ne Dipuloma ey'enyongereza mu kukwasaganya emirimu gya Gavumenti eya Public Administration and Management okuva Ttendekero lya Uganda Management Institute mu 2007.

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Robina Gureme Rwakoojo yali muyizi Ssabawaabi wa Gavumenti mu Dipaatimenti ya Adiminisituleeta Genelo wansi wa Minisitule y'ensonga za Ssemateeka okuva mu 1990 - 1992[6] era mu kitongole ky'ekimu, yafuuka Ssabawaabi wa Gavumenti okuva mu 1992 - 1995. Yauuka Ssabawolereza wa Gavumenti owa Dipaatimenti ya Administrator General wansi wa Minisitule y'ensonga za Ssemateeka okuva mu1995 - 1996. Era n'ekitongole ekiwabuzi ku by'amateeka ekya Directorate of Legal Advisory Services wansi wa Minisitule y'ensonga za Ssemateeka, yali ( muambi wa Ssabawolereza wa Gavumenti okuva mu 1996 - 1999 n'oluvanyuma n'afuuka Omuwolereza wa Gavumenti okuva mu 1999 - 2003).[1]

Yafuuka Ssabawolereza wa Gavumenti ow'ekitongole kya Directorate of Civil Litigation wansi wa Minisitule ya Ssemateeka okuva mu 2003 - 2007. Oluvanyuma yafuuka omukulembeze w'ekitongole kya Directorate of Civil Litigation wansi wa Minisitule ya Ssemateeka okuva mu 2007 - 2008. Rwakoojo yafuuka Dayilekita wa Civil Litigation owa Minisitule ya Ssemateeka okuva mu 2008 - 2013.[5] Yafuuka Kaminsona wa Line Ministries for Directorate of Civil Litigation wansi wa Minisitule ya Ssemateeka okuva mu 2010 - 2015. Mu 2016, Yawangula ekifo ky'omubaka mu Paalamenti akiikirira Essaza ly'Obuggwanjuba bwa Gomba mu Disitulikiti y'e Gomba mu Paalamenti ya Uganda ey'kkumi. Yaddamu n'alondebwa mu kifo ekyo mu 2021.

Atuula ku kakiiko akasunsulamu abanalondebwa, era ye Sentebe w'akakiiko k'amateka n'ensonga za Paalamenti mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkuminemu. Yaweerezaako na Omumyuka wa Ssentebe w'akakiiko ka Equal Opportunities Committee mu Paalament ey'ekkumi. Era yalondebwa okukulemberamu akakiiko akalondebwa ku kiragiro kya Sipiika Rebecca Kadaga okunoonyereza ku byali byogerwa ku kukabasanya abaana mu masomero, Yunivasite n'amatendekero aga waggulu.[7][8]

Ebirala by'eyakola

[kyusa | edit source]

Egimu ku mirimu gya Robina Gureme Rwakoojo mulimu Okuvujirira ttiimu z'emipiira, Okuwagira ebibiina by'abakyala ebitereka n'okuwola ssente (SACCOS), okumaliriza pulojekiti za nayikondo mu Mpanda, Kyegonza, Kanoni TC ku lw'abantu be ab'Essaza ly'Obuggwanjuba bwe Gomba. Era yetaba mu kunoonyereza ku kukabasanyizibwa kw'abaana mu masomero, Yunivasite n'amatendekero ag'awaggulu. Yetaba mu kuteesa ku bbago ly'okukyusa mu Ssemateeka era y'akkiriza.[9] Era yetabye mu misango egiwerako mu Kooti[10][11]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=100
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-03. Retrieved 2024-03-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. 3.0 3.1 "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2022-12-07. Retrieved 2024-03-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://theinsider.ug/index.php/2021/03/25/hon-robina-rwakoojo-joins-deputy-speaker-race-pledges-to-stand-for-unity-all-arms-of-govt/
  5. 5.0 5.1 https://nilepost.co.ug/2021/03/26/gomba-wests-robina-rwakoojo-officially-launches-bid-for-deputy-speakership-position/
  6. 6.0 6.1 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/battle-for-deputy-speaker-job-heats-up-as-minister-joins-race--3277906
  7. https://www.pmldaily.com/news/2019/03/verdict-new-report-pins-60-teachers-lecturers-on-sexually-abusing-students.html
  8. https://www.universityworldnews.com/post.php?story=20190319115230889
  9. http://parliamentwatch.ug/how-mps-voted-on-the-second-reading-of-the-constitution-amendment-bill/
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2021-09-21. Retrieved 2024-03-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. https://www.eala.org/index.php/media/view/eala-speaker-members-join-court-contest-over-election-to-regional-assembly

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]