Rose Akol
Rose Akol Okullu, amanyikiddwa nga Rose Akol (yazaalibwa nga 27 Ogwekkuminogumu 1964), Munnayuganda mubalirizi w'abitabo era munnabyabufuzi. Yalondebwa nga Minisita w'ensonga z'omunda mu Ggwanga nga 16 Ogwekkuminogumu 2015.[1] Yafuna offiisi eno oluvanyuma lw'okukakasibwa Paalamenti ya Uganda. Era ye mubaka omukyala omulonde akiikirira Disitulikiti y'e Bukedea.[2]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | edit source]Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Bukedea, era yasomera ku Ngora High School.[3] Alina Diguli eya Masters in Business Administration ne Diguli mu by'ensimbi n'obubaliriza bye yafuna mu 2004 nga yagigya ku Makerere University Business School.[4]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Ytandiika emirimu gye mu 1989 ng'omubazi w'ebitabo mu Uganda Export Promotions Council, nga yaweereza mu ofiisi eyo okutuusa mu 1990. Okuva mu 1990 okutuusa mu 1993, yaweereza nga omubazi w'ebitabo mu kitongole kya Karamoja Development Agency. okuva mu 1994 okutuusa mu 2000, Yali mubalirizi w'ebitabo mu kitongole kya Uganda Airlines Corporation. Okuva mu 2003 okutuusa u 2006, yaweereza ng'akulira ababalirizi b'ebitabo ku ddwaliro lya Joint Clinical Research Centre. Era yali aweereza ng'omubazi w'ekitongole kya East African Airlines. Mu 2006, yayingira mu by'obufuzi era yawangula ekifo ky'omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Bukedea. Yaddamu n'alondebwa mu 2011.
Ebimukwatako eby'omunda
[kyusa | edit source]Rose Akol mufumbo. Mukyala wa nzikiriza y'eKikatoliki. Mmemba mu kibiina ky'eby'obufuzi ekya National Resistance Movement.
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20151117162842/http://www.newvision.co.ug/news/675772-akol-appointed-internal-affairs-minister.html
- ↑ http://allafrica.com/stories/201511162873.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20160923182315/http://theinvestigatornews.com/2015/11/museveni-replaces-fallen-gen-aronda-nyakairima-with-little-known-mp-rose-akol-as-aging-kirunda-kivejinja-bounces-back/
- ↑ https://web.archive.org/web/20160304060333/http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?p=f&n=t&details=t&j=523&const=Woman+Representative&dist_id=84&distname=Bukedea
Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
[kyusa | edit source]- Webusayii ya Paalamenti ya Uganda Archived 15 Ogwokusatu 2015 at the Wayback Machine