Rose Lilly Akello

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Rose Lilly Akello (yazalibwa nga 23 Ogwekkuminebiri 1971) Munnayuganda, munnabyabufuzi. Ye mubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Karenga mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkuminemu.[1][2] Mu Paalamenti y'omwenda n'ekkumi, yaweereza ng'omubaka omukyla akiikirira Disitulikiti y'e Kaabong.[3] Rose yasalawo okukiikirira Disitulikiti y'e Karenga kubanga Karenga yali eyawuddwa okuva ku Kaabong nga 1 Ogwomusanvu 2019.[4] Yafuuka omubaka omukyala owa Disitulikiti y'e Kaabong oluvanyuma lw'okuwangula akalulu ak'ojjuza ekifo mu 2017 nga yali avuganya ne Ms Christine Tubo Nakwang.[4][5] Ali mu kibiina ekiri mu buyinza ekya, NRM.[1][6]

Emisomo gye[kyusa | edit source]

Mu 1986, yakola ebibuuzo bye eby'akamalirizo ebya Primary Leaving Examinations ku ssomero lya Kotido Mixed Primary School. Satifikeeti ye eya Uganda Certificate of Education yagifunira ku Kangole Girls S.S. mu 1990. Oluvanyuma yegatta ku Moroto High School era namaliriza n'ebigezo bya Uganda Advanced Certificate of Education mu 1993. Yafuna Dipuloma mu Hotel Management Studies mu 1996 okuva ku National College of Business Studies, Nakawa. Mu 2004, yafuna Dipulooma endala eya diploma in Social Work and Social Administration okuva ku ttendekero lya Nsamizi Institute of Social Development. Mu 2013, yafuna Diguli ya Bachelor of Democracy and Development Studies okuva mu Yunivasite ya Uganda Martyrs University. Rose yaweebwa ekifo mu China oKusoma essomo elikwata ku byobufuzi erya Political Science and Administration era yamaliriza mu 2014 ne Satifikeeti.[1]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Wakati wa 1993 ne 1994, yakola nga omusomesa ku ssomero lya Komukuny Girls Primary School. okuva mu 2000 - 2010, yaweereza nga mmemba ku kakiiko ka Kaabong District Service Commission. Okuva mu 1995 - 2002, yakolerako ku offiisi z'ekitongole kya Pulezidenti ekya Karamoja Development Agency, ng'akwasaganya ebintu by'omu sitoowa. Era yaweerezaako nga memba ku kakiiko ka Kotido District Tender Board wakati wa 2002 ne 2005. Okuva mu 2003 okutuusa kati, aweereza nga Dayilekita w'ekibiina kya Mowoin Women's Group, Disitulikiti y'e Kaabong. Mu 2007, yaweebwa omulimu ng'omuyambi ku nsonga za pulogulamu u Oxfam GB, Kotido Field Office.

Emirimu gye egy'ebyobufuzi[kyusa | edit source]

Okuva mu 2011 okutuusa kati, Rose aweerezza ng'omubaka mu Paalamenti akiikirira, Disitulikiti y'e Kaabong, ne Disitulikiti y'e Karenga.[7]

Ebimukwatako eby'omunda[kyusa | edit source]

Mukyala mufumbo. Ebintu ebinyumira Rose mulimu okukunga abantu, okubuulirira, okusoma, okuzannya omuzannyo gw'okubaka, okuwuliriza ennyimba eziryowa omwoyo, okukuuma obutonde bw'ensi n'okutabaganya abantu.[1]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=507 Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content
  2. https://observer.ug/news/headlines/54648-nrm-s-rose-lilly-akello-wins-kaabong-by-election
  3. https://chimpreports.com/mp-akello-lilly-switches-constituencies/
  4. 4.0 4.1 ahttps://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/kaabong-district-woman-mp-crosses-to-newly-created-karenga-district-1838512https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/kaabong-district-woman-mp-crosses-to-newly-created-karenga-district-1838512
  5. https://www.independent.co.ug/tag/akello/
  6. https://ugandaradionetwork.net/a/file.php?fileId=152599
  7. https://www.pmldaily.com/tag/rose-lilly-akello