Rose Mbowa
Rose Mbowa (18 Ogusooka 1943 – 11 Ogwokubiri 1999) yali Munnayuganda omuwandiisi, muzannyi wa filimu, omuyivuera omulwanirizi w'eddembe ly'abakyala. Yali pulofeesa owa filimu n'ebyakatemba mu ssetendekero wa Makerere University, Yunivasite esinga obunene n'obukulu mu Uganda.[1]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | edit source]Rose Mbowa yazaalibwa nga 18 Ogusooka 1943 mu kibuga ky'e Kabale, mu Buggwanjuba bwa Uganda, era Eva Nyinabantu Mbowa, omukyala w'awaka, ne Kasole Lwanda Mbowa, omukugu mu labalatole. Oluvanyuma lw'okusomera ku masomero g'omukyalo, yaweebwa ekifo mu Gayaza High School, essomero ery'ekisulo Kilomita 19(12 mi), okuva mu kibuga kya Uganda ekikulu, Kampala.[2][3] Oluvanyuma lw'emisomo gye ku ssomero ly'e Gayaza, yagenda mu maaso n'okusoma Litulikya w'olungereza ku Makerere University, Kampala. Mu kaseera k'eyamala eyo, yali memba w'abazannyi mu fiyeta eya Makerere Free Travelling Theatre.[4] Mu 1969 yaweebwa ekifo mu University of Leeds, nga yatikkirwa Diguli ey'okubiri mu kuzannya emizannyo ne katemba eya Master of Arts (MA) degree mu Drama & Theatre Arts.[5][3]
Emirimu gye egy'obukugu n'emizannyo gya fiyeta
[kyusa | edit source]Ng'omuzannyi era omuwandiisi 'emizannyo gya fiyeta, Mbowa yazannya ne Kkampuni ez'enjawulo mu Uganda. Yatuumibwa omuzannyi omukyala asinze ku National Theatre era n'afuna awaadi gyeyali asaana mu kuzannya mu 1973. Era yafuna awaadi y'omukozi wa filimu asinze okuva mu National Theatre Best Production award emirundi ebiri: emu yali y'amuzannyo gwe Nalumansi mu 1982 n'eya The Marriage of Anansewa ogw'awandiikibwa Efua Sutherland mu 1983.[6] Yazannya ng'omutwe omukulu okutambulira olugero mu muzannyo ogw'awandiikibwa Bertolt Brecht ogwa Mother Courage and Her Children, Mu kufulumya kwe okwasooka okukkirizibwa ng'omuzannyo gwe gw'ali mu lulimi olufirika.
Ng'omuwandiisi w'omuzannyo, omulimu gwa Mbowa ogwasinga obukulu gw'ali gwa Mother Uganda and her Children. Ogwafulumizibwa aba London's Africa Centre, gwasooka kuzannyibwa mu 1987 era okuva kw'olwo, guzzenga guzannyibwa mu mawanga g'ebulaaya ng'obwagazi gw'ago bwayoleka enkulakulana n'okuwa ekitibwa East African theatre.[7] Y'aguwandiika n'abayizi b'e Makerere mu nteekateeka ya Eckhard Breitinger, ow'amaanyi omuzannyo ogwa genderera okwongera amaanyi mu byobufuzi ng'essira gwa lissannyo ku bugagga obuli mu mawanga n'eby'obuwangwa eby'enjawulo, [...] gw'ali gukubiriza abantu okwenyumiririza mu buwangwa bwabwe naye era nga gulabula ku bikolwa eby'okuvumaganya n'okuvvoola obuwangwa bw'abalala.'[7] Omusomesa we yali Byron Kawadwa omuwandiisi w'emizannyo, eyattibwa amagye ga Idi Amin mu 1977.
Yali ky'akulabirako ky'amaanyi mu kisinde kya African Theatre for Development movement. Mu 1980, yakola n'ekibiina ky'abakyala b'omukyalo ekya rural Magere Women's Cooperative, era nga yakubiriza abakyala okukozeesa obuwangwa bwabwe okutunda ebirime by'abwe. Era yakola ko ngo pulodusa wa Radio Ugandaokumala omwaka.
Emirimu gy'eyakola mu kisaawe ky'ebyenjigiriza
[kyusa | edit source]Mbowa yatandiika ng'omusomesa mu dipatimenti y'okuyimba, okuzina n'okuzannya katemba mu Makerere University, nga tannafuuka Pulofeesa n'oluvanyuma akulira Dipatimenti oluvannyuma lw'eyali omukulembeze okusindikirirzibwa okuva mu Ggwanga. Yafulumya ebiwandiiko ebiwerako ebikwata ku mizannyo kya katemba mua Uganda era nayanjulaempapula ku Fiyeta ya Uganda mu lukuŋŋaana lw'abuli mwaka ku litulikya wa Africa ku University of Bayreuth wakati wa 1989 ne 1994.
Bye yaleka ng'omukululo
[kyusa | edit source]Mu 2005, Bakayimbira Dramactors bateekawo omuzannyo gwa, Kiwajja, mu kujaguza olw'ebyo Rose Mbowa bye yawaayo mu fiyeta ya Uganda.
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1131528/memory-prof-mbowa
- ↑ https://distancecalculator.globefeed.com/Uganda_Distance_Result.asp?fromplace=Post%20Office%20Building%2C%20Kampala%20Road%2C%20Kampala%2C%20Uganda&toplace=Gayaza%20High%20School%2C%20Gayaza%20-%20Zirobwe%20Road%2C%20Kabanyoro%2C%20Central%20Region%2C%20Uganda&dt1=ChIJXyfX9IC8fRcRorrkbY-nufI&dt2=ChIJZZwnT-uzfRcRoJO3NJ184EY
- ↑ 3.0 3.1 https://en.wikipedia.org/wiki/The_Guardian
- ↑ https://www.oxfordreference.com/view/10.1093/oi/authority.20110803100142969
- ↑ http://www.tandfonline.com/doi/abs/10.1080/13569780600671179
- ↑ https://books.google.com/books?id=F5h8O8TafTUC&pg=PR14
- ↑ 7.0 7.1 https://en.wikipedia.org/wiki/Special:BookSources/978-3-927510-28-9