Rosebell Kagumire

Bisangiddwa ku Wikipedia

Rosebell Kagumire munamawulire omunnayuganda awandiika ku bikwatagana ku bakyala, awandiika ku mikutu ng'era yawangula ne awaadi, alina omwoyo gwa Afrika ku bikwataga n'abakyala, atuusa obubaka eri abantu ab'enjawulo wamu n'okwogerera eby'obufuzi. Yaatereka wamu n'okusunsula ebikwatagana ku bakyala mu Afrika, akatuuti akaliko ebiwandiiko ebiraga abakyala abafirka byebayitamu. Memba w'akakiikko ka bulaaya akawi k'amagezi kunsonga z'abakyala ez'ebweru, ali mu kitongole ekikola okunoonyereza, okwebuuza n'okumanyisa ebikwata ku bakyala munsi yonna.

Ebyafaayo bye n'eby'okusama[kyusa | edit source]

Rosebell Kagumire yagenda ku Bwerayangi Girls Secondary School gyeyamalira siniya, gyeyava n'agenjda ku yunivasite e Makerere n'asoma eby'amawulire mu 2005. Yafuna satifikeeti mu by'okulembera n'amateeka ageekyaasa kya 21 okuva mu somero lya Harvard Kennedy School ne satifikeeti mu kugonjoola obutabanguko okuva mutendekero lya Fletcher School of Law and Diplomacy, Tufts University. Rosebell alina diguli ey'okubiri mu by'amawulire, eby'eddembe n'obutabanguko okuva mu kibiina ky'amawanga amagate ng'obuyinza yabukwasa yunivasite ekwasaganya eby'emirembe mu Costa Rica.[1][2]

By'azze akola[kyusa | edit source]

Rosebell Kagumire yakolako nga omusasi mu mpapula za Daily Monitor, ku Uganda Radio Network ne NTV Uganda wabula ng'ali ku NTV Uganda, yali akwata bifannayi bya vidiyo, okusaka amawulire n'okugafulumya. Rosebell yakola kinene mu bw'okulwanirira eddembe ng'ayita mutendekero lya Institute for War and Peace Reporting (IWPR).[3][4] Kagumire yaliko omuwandiisi mu mawulire ga The Independent News magazine. Yali musunsuzi mu buvanjuba bwa Afrika ku CH16.org, n'okula ne Inter Press Services. Mu 2010 bamuwa ogw'obyamawulire mu Women’s International Peace Centre (WIPC). Kagumire yakolako nga omukwanaganya wa Africans Act for Africa (AA4A) oluvannyuma n'agenda okukola kutendekero ly'eby'amateeka n'eby'obukuumi nga eyeebuzibwako ku by'amawulire. Yunivasite ya Addis Ababa okulakulanya eby'empuliziganya n'eby'amawulire kulwa Tana High Level Forum on Security mu Afika nga byali mu Ethiopia. Rosebell Kagumire yali maneja ku mikutu mukwatira wala oluvannyuma nga y'atuusa obubaka eri abantu mu kitongole kya International Organization for Migration (IOM). Mu 2013 ne 2016, yakola mu kibiina ky'amawanga agatakulakulana ekya Least Developed Countries Independent Expert Group mutendekero erivunaanyizibwa ku by'obutonde bw'ensi n'okulakulanya munsi yonna. Yali w'eby'empuliziganya ku lwa bakyala munsi mu Women's Link Worldwide. Rosebell Kagumire mukungaana n'okusunsula ebikwatagana ku bakyala mu Afrika, omukutu ogulaga embeera abakyala abafirika zebayitamu .[5] Akola nga omukwanaganya mu Global Reporting Centre, omukungaana era omunwadiisi ng'emirimu gye girabikira ku mikutu gy'amawulire nga The Guardian, Al Jazeera ne Quartz.[6] Rosebell Kagumire ayambako okundiikira aba Global Voices.[7] Memba w'akakiiko k'omu bulaaya ak'omwenkano nkano, okunoonyereza, okulwanirira ensonga eziruma abantu, n'okwebuuzibwaako mungeri y'okumannyisa ensonga z'abakyala munsi yonna.[8]

Ebimuwereddwa[kyusa | edit source]

Rosebell Kagumire yasimibwa ne Anna Guèye 2018 award kulw'okulwanirira ensonga ezeekuusa ku bya demokulasiya n'omwenkano nkano n'aba Africtivistes, ekibiina omwegatirwa abafika abalwanirizi b'eddembe African activists. The World Economic Forum yalondebwa nga omu kubakulembezze abato abatasusa myaka 40 mu 2013 olwakawefube gweyateeka mu kulwanirira obw'enkanya mu kulwanirira abantu.[9] Mu 2012 yalondebwa Foreign Policy Magazine ku bakyala “100 abookugoberera ku mukutu gwa Twitter”. Bye yawandiika ku mikutu byawangula ekirabo kya Waxal – Blogging Africa Awards, ekirabo ekyasooka okuweebwa munamawulire omufirika nga etegekebwa etendekero lya Panos Institute of West Africa mu 2009.[10]  Kagumire okuwandiika ku by'eddembe n'eby'obukuumi kyalondebwa mu ku mukolo ogw'okusiima banamawulire abakola egy'okunoonyereza mu 2008 esomero ly'eby'amawulire mu yunivasite y'e Makerere.[11]

.0Laba na bino[kyusa | edit source]

References[kyusa | edit source]

  1. https://globalvoices.org/author/rosebell-kagumire/
  2. https://www.weforum.org/people/rosebell-kagumire/
  3. https://iwpr.net/global-voices/us-imposes-sanctions-lra-leader
  4. https://iwpr.net/global-voices/small-breakthrough-kony-hunt
  5. https://www.theelephant.info/op-eds/2021/08/20/the-rising-fourth-wave-feminist-activism-on-digital-platforms-across-africa/
  6. https://www.aljazeera.com/author/rosebell_kagumire_180828133930867
  7. https://globalvoices.org/author/rosebell-kagumire/
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2022-02-24. Retrieved 2022-04-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. https://www.theguardian.com/profile/rosebell-kagumire
  10. https://www.who.int/workforcealliance/forum/2011/journalist5/en/
  11. https://interview-her.com/speaker/rosebell-kagumire/