Jump to content

Rosemary Kisembo

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

 

Rosemary Kisembo, Munayuganda software engineer, ng'aweereza nga Dayilekita ow'okuntikko ow'ekitongole kya Ndagamuntu ekya National Identification and Registration Authority of Uganda (NIRA) okuva nga 14 Ogwokutaano 2021. Yadda mu bigere bya Judy Obitre–Gama, munnamateeka nga endagaano ye yakoma mu 2020 era teyaddizibwa buggya.[1]

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Uganda era yasmera ku masomero g'abulijjo mu Pulayimale ne Ssekendule. Yakkirizibwa okwegatta ku Yunivasite y'e Makerere, Yunivasite ya Gavumenti esinga obukulu n'obugazi mu Uganda nga yatikkirwa Diguli eya Bachelor of Commerce (BCom). Oluvanyuma yafuna Diguli ey'okubiri mu by'empuliziganya eya Master of Information Systems (MIS), nga n'ayo yagiggya Makerere. Okwongereza kw'ebyo, era mukugu mu byuma bikalimagezi mu kiytibwa Microsoft SQR Server Certified Professional.

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Amangu ddala nga yakalondebwa, yali akulira eby'empuliziganya (Information and Communications Technology (ICT)) mu kitongole ekikwasaganya enguudo ekya Uganda National Roads Authority (UNRA), obuwereza bwe yakola wakati wa 2016 ne 2021. Ye yali Maneja Manager Software Engineering ku UNRA wakati wa 2011 ne 2016. Nga tannaba kwegatta ku UNRA, yawerezaako ku kitongole ekiwooza ky'omusolo ekya Uganda Revenue Authority (URA), okuva mu 1995 okutusa mu 2011, nga yali aweereza mu Corporate Services Department eya URA.

Yaweebwa omulimi ku NIRA, oluvanyuma lw'okusembebwa Pulezidenti wa Uganda, nti endagaano gye baalina ne Judy Obitre-Gama tezzibwa buggya. Rosemary Kisembo era yali awangudde okunyomebwa okwali kuva mu bakaozi ba Minisitule y'ensonga z'omunda ne ba Mmemba ku kakiiko akakwasaganya abakozi ba Gavumenti abaali bamulaba nga "atalina busoozi".[2]

Ebirala ebikulu[kyusa | edit source]

Okusinziira ku mateeka ga Uganda, Rosemary Kisembo, mu busobozi bwe nga Omukulu w'ekitongole kya NIRA, yafuuka mmemba ku kakiiko k'aba Dayilekita era nga omuwandiisi w'ako.[3]

Kisuubirizibwa nti wansi w'obukulembeze bwe, NIRA egya kusobola okuteekawo enkyukakyuka mu ndagamuntu, okuzifuula ez'okumukutu n'okwongeramu enjawulo mu ndabika y'azo. Ndagamuntu elongoseddwamu okuvamu mu NIRA esuubirwa okulagibwa eri abantu mu 2024.[4]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

  1. https://nilepost.co.ug/2021/05/14/rosemary-kisembo-assumes-office-as-new-executive-director-of-nira/
  2. https://chimpreports.com/rosemary-kisembo-takes-over-as-nira-ed/
  3. https://kampalapost.com/content/chief-justice-owiny-dollo-presides-over-swearing-new-nira-ed
  4. https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor