Rukiya Chekamondo

Bisangiddwa ku Wikipedia


 

Rukiya Kulany Chekamondo (yazaalibwa nga 7 Ogwomwenda 1965), elinnya lye olumu lisomebwa nga Rukia Kulany Chekamondo, Munnayuganda musomesa era Munnabyabufuzi. Ye yali Minisita omubeezi owa ebitundibwa okuva mu Gavumenti mu Minisitule y'ebyensimbi, okuva ku Gwomukaaga 2006 okutuusa mu Gwokutaano 2011.[1] Mu nkyukakyuka ez'akolebwa mu Kabinenti nga 27 Ogwokutaano 2011, yasuulibwa era n'asikizibwa Aston Kajara.[2] Era yaweerezaako ng'omubaka mu Paalamenti omulonde (MP), era ng'omubaka omukyala akikirira Disitulikiti y'e Kapchorwa, okuva mu 2006 okutuusa 2011. Mu kalulu k'abonna aka 2011, yawangulwa MP alimu kifo, Phyllis Chemutai, nga yaggya talina kibiina.[3]

Emisomo gye[kyusa | edit source]

Rukiya Kulany Chekamondo yafuna Satifikeeti ey'okumutendera gwa Grade III mu Busomesa, mu 1986, okuva mu Ttendekero ly'abasomesa(ITEK), emu ku matendekero agasalawo okwegatta n'efuuka Kyambogo University. Yagenda nafuna Dipuloma mu kusomesa Ssekendule, mu 1993, era nga n'ayo yagiggya ku ITEK. Diguli ye mu busomesa mu lulimi olungereza ne Literature w'olungereza , gyeyafuna mu 1999, okuva kuYunivasite ya Ugada esinga obukulu n'obunene Makerere Yunivasite mu 1922. Era alina Dipuloa ey'enyongereza mu ssomo lya Education Planning & Management (1999), saako ey'okubudabuda n'okulunggamya abantu (2001), nga zombi yazigya ku ITEK. Diguli ye ey'okubiri mu busomesa mu Lulimi olungereza ne Litulica yagifuna mu 2004 okuva ku Makerere University.[4]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Abadde musomesa okuva lw'eyafuna Satifikeeti ye eyasooka emukkirizisa okusomesa mu 1986. Wakati wa 1993 ne 1995, Yaweerezaako nga akuuma abaana mu bisulo by'abawala ku Bilal Islamic Institute, esomero elisangibwa mu Kampala, ekibuga akya Uganda ekikulu.[5] Yayingira eby'obufuzi mu 2006, nga yesimbawo ng'omubaka omukyala akiikikirira Disitulikiti y'e Kapchorwa ku tiketi y'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM). Yawangula era nga 1 Ogwomukaaga 2006, yalondebwa ku Minisita omubeezi avunanyiziwa by'obugagga bya Gavumenti ebitundibwa.[6] Mu Gwokusatu 2011, yafiirwa ekifo kye mu Paalamenti mu Gwokutaano 2011, yasuulibwa okuva ku Kabinenti mu biseera by'enkyukakyuka.

Ebimukwatako eby'omunda[kyusa | edit source]

Rukiya Chekamondo mufumbo. Ava mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement. Byasinga ekwagala mulimu Okusoma, okunoonyereza n'ensonga ezikwata ku kikula ky'abantu.

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]