Ruth Nankabirwa

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Ruth Nankabirwa Ssentamu munabyabufuzi omunayuganda awereza nga Minisita ow'eby'amasanyalaze wamu n'okulakulanya eby'obugagga by'omuttaka mu Kabineeti ya Uganda, okuva nga 8 Ogwomukaaga mu 2021.[1] Wadde yagamba abawagizi bbe nti, ''singa ente zibeera zironze, muzireke zironde, njagala kufuna obululu 120 ku buli 100", wabula nga yafiirwa ekifo kino eky'okubeera Omukyala Omubaka wa Paalamenti akiikirira Disitulikiti ye Kiboga mu Gusooka mu 2021.[2]

Nga ekyo tekinabeerawo, okuva nga 1 Ogwokusatu mu 2015, okutuuka nga 3 Ogwokutaano mu 2021, yawerezaako nga kalabalaba wa gavumenti avunaanyizibwa ku mpisa mu kakiiko akakola amateeka, nga mutendera mu kabineeti ya Uganda.[3] nga adira Justine Lumumba Kasule mu bigere, nga ono yeeyali awereddwa ekifo ky'okubeera omuwandiisi omukulu ow'ekibiina ky'eby'obufuzi ekifuga ekya National Resistance Movement mu Uganda okuva nga 23 Ogwekumineebiri mu 2014.[4] Okwongereza ku ekyo, okuva nga 27 Ogwokutaano okutuuka nga 1 Ogwokutaano mu 2015, Nankabirwa yawereza nga Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku by'okuvuba mu Kabineeti ya Uganda ng'adira Fred Mukisa mu bigere eyali asuliddwa okuva mu kabineeti.[5] Okwongereza ku ekyo, yawereza nga Minisita Omubeezi ku by'enfuna by'abantu bamufuna mpola, okuva nga 16 Ogwokubiri mu 2009, okutuuka nga 27 Ogwokutaano mu 2011.[6]

Obulamu bwe n'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Ruth Nankabirwa yazaalibwa nga 28 Ogwekunoogumu mu 1965. Asibuka mu Disitulikiti y'e Kiboga mu Masekkati ga Uganda. Yasomera ku Bamusuuta Primary School gyeyatuulira P7. Yasomera ku Nabisunsa Girls' Secondary School, gyeyamalira S4 ne S6.[7] Alina Diguli mu mu buyigirize mu kusiiga ebifanannyi, ng'eno yagigya ku Yunivasite ye Makerere. Alina ne Diguli ey'okubiri mu buyigirize mu kusoma ku bikwatagana ku butabanguko nga nayo yagigya Makerere.[8]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Okuva mu 1994 okutuuka mu 1995, yawerezaako nga omukiise mu kakiiko akafunaanyizibwa ku by'asemateeka w'eggwanga. Mu 1996, Ruth Nankabirwa yalondebwa okuwereza nga omubaka wa Paalamenti Omukyala eyali akiikirira Disitulikiti ye Kiboga. Yali mu kifo kino okuva mu 1996, okutuuka mu 2001, Yawerezaako nga Minisita Omubeezi ow'ekitundu kya Luweero Triangle mu Ofiisi ya Saabaminisita. Wakati wa 2001 ne 2009, yawereza nga Minisita Omubeezi Ow'ebyokwerinda, ekifo kyeyalimu okutuusa bweyatekebwa ku ky'okubeera Minisita Omubeezi avunaanyizibwa kunsonga z'abantu baufuna mpola.[9][10] Mu kyuka kyuka ezaakolebwa mu Kabineeti nga 27 Ogwokutaano mu 201, yagenda mu Minisitule evunaanyizibwa ku By'obuvubi, nga ye Minisita Omubeezi,[5] ekifo kyeyalimu okutuuka weyafulibwa kalabalaba wa gavumenti avunaanyizibwa ku by'empisa mu kakiiko akakola amateeka.[11]

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]

  1. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/full-cabinet-list-jessica-alupo-new-vice-president-3430616
  2. https://observer.ug/news/headlines/68206-brutality-on-bobi-cost-us-in-buganda-defeated-ministers
  3. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2017-07-09. Retrieved 2023-10-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. http://ugandaradionetwork.com/a/story.php?s=69819
  5. 5.0 5.1 https://www.facebook.com/note.php?note_id=10150208384704078&comments
  6. http://www.redpepper.co.ug/nankabirwa-we-used-market-fund-to-implement-nrm-manifesto/
  7. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1420655/nabisunsa-girls-school-close
  8. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1267392/nankabirwa-enrolls-masters-course
  9. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1176035/36-updf-officers-graduate
  10. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1174460/updf-officers-graduate
  11. http://mobile.monitor.co.ug/News/NRM-seeks-expand-Cabinet-ministers-/2466686-3246752-format-xhtml-k92q0lz/index.html

Ewalala w'oyinza okubigya[kyusa | edit source]