Jump to content

SIKAAVE

Bisangiddwa ku Wikipedia
Vitamin C Foods
Scorbutic tongue due to vitamin c deficiency

SIKAAVE (SCURVY) Bubo bwe bulwadde obukwata omuntu olw’obutaba na Vitamiini C. Omuntu bwatajanjabwa, obutafaali bwe obumyufu (Red blood cells) bukendeera, afuna obulwadde bw’ebibuno oba okutandika okuva omusaayi mu lususu lwe. Obulwadde buno bukwata nnyo abantu abaliko obulemu ku bwongo, abatalya bulungi, balujuuju (abanywa ennyo omwenge), abakadde abataliiko alabirira. Kitwala omwezi gumu mulamba nga omuntu talina Vitamiini C okulaba obubonero bw’obulwadde buno. Ekiraga nti Omuntu abulina Okuwulira/okufuna obulumi mu kibuno obuyinza okulemesa omuntu okulya oba okunywa. Oluvannyuma lw’omwezi ppaka ku myezi esatu omuntu afuna obuzibu mu kussa wamu n’okufuna obulumi mu magumba. Olususu okukakanyala Okulwala ebibubono wamu n’okunafuwa amannyo. Okufuna amabwa agatawona. Okukala emimwa n’amaaso. Oziyiza otya obulwadde buno obutakukwata? Osobola okuziyiza obulwadde buno singa olya emmere erimu ekiriisa kya Vitamiini C, okugeza nga:  Amapeera (guava), Enkenene(black berries), Emboga(cabbage), Emicungwa(orange), Enniimu(Lemon) etc. Ebiva mu nsolo ebimu okugeza nga ekibumba (liver), enkizi, obwongo, ekitundu ky’omutwe ekiyitibwa ‘adrenal’ n’ebirala; nabyo bisobola okukozesebwa mu kujanjaba obulwadde bwa sikaave(Scurvy).