Sabino Ocan Odoki
Sabino Ocan Odoki yazaalibwa nga 8 Ogwomunaana nga, musuumbu w'Eddiini y'Obukatulikiti, akola nga Omusumba mu Ssaza ly'Obukatuliki mu Arua, mu Uganda. Yatekebwa mu kifo kino nga Omusuumba w'Essaza lya Arua nga 18 Ogwekumineenbiri mu 2010.[1][2]
Ebimukwatako n'obuyigirizze bwe
[kyusa | edit source]Yazaalibwa ku kyalo Layibi, mu Disitulikiti y'e Gulu, mu bitundu bya Acholi, mu Bukiika ddyo bwa Uganda nga 8 Ogwomunaana 1957.[1][3]
Yasomerako ku Holy Rosary Primary School, mu Gulu. Oluvannyuma baamuwa ekifo ku seminaaliyo ento eya Aboke mu Aboke, mu Disitulikiti ya Kole okumala emyaka ebiri. Yayongerako n'eseminaaliyo enoto eya Lacor mu Gulu okumala emyaka emirala ebiri, gyeyamaliriza mu 1975.[4]
Mu 1976, yaweebwa ekifo mu seminaaliyo enkulu eya Katigondo, ensangi zino esinganibwa mu Disitulikiti y'e Kalungu, okusoma kunsibuko y'amagezi, n'eby'obuliwo, nga eno yamalayo emyaka esatu. Mu 1980, Yagenda ku Seminaaliyo Enkulu e Ggaba, mu Kampala, gyeyasomera ebikwatagana ku Katonda n'enzikiriza y'eddiini, okumala emyaka esatu.[4]
Yaweebwa ekifo kutendekero lya Catholic University of Eastern Africa, mu Nairobi e Kenya, gyeyatikirwa ne Diguli ey'okubiri mu By'okumannya ebikwatagana ku Katonda n'enzikiriza ne Diguli ey'Okusatu mu kumannya Katonda n'okumutegeera wamu n'enzikirizamu 1987 ne 1992.[4]
Nga Omubuulizi
[kyusa | edit source]Yakakasibwa okubeera omubuulizi nga 10 Ogwekumi, 1983 ku Lutiko y'Abakatuliki e Gulu, mu Gulu. Yawereza nga omubuulizi ku Ssaza ekulu ery'e Gulu okutuuka nga 22 Ogwomusanvu mu 2006.[1][3]
Nga Omusuumba
[kyusa | edit source]Paapa Benedict XVI yamuwa eky'okubeera nga ayamba omusuumba w'essaza ekulu ery'enzikiriza y'Obukatuliki e Gulu nga 22 Ogwomusanvu mu 2006, n'atikirwa Ssaabasuumba John Baptist Odama ow'e Gulu okubeera omusuumba nga 21 Ogwekumi 2006, ng'ayambibwako Calidinaali Emmanuel Wamala, ne Calidinaali omubuulizi owa Sant’Ugo ne Apostolic Nuncio mu Uganda , mu kaseera ako Ssaabasuumba Christophe Pierre.[1]
Paapa Benedict XVI yamulonda nga omusuumba okubeera ng'akuuma Essaza lya Arua, nga 19 Ogwomunaana, 2009 n'amukakasa nga Omusuumba w'Essaza lya Arua. Yatekebwa ku ky'okubeera Omusuumba w'Essaza lya Arua nga 18 Ogwokubiri, 2010 ku Lutiko ya Ediofe mu, Arua.[1][3]
Laba nebino
[kyusa | edit source]Ekimeeza ekiraga abazze bamudira mu bigere
[kyusa | edit source]Template:S-start Template:Succession box Template:S-end
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 http://www.catholic-hierarchy.org/bishop/bodoki.html
- ↑ http://www.nwcatholic.org/news/local/ugandan-bishops-summer-visits-foster-relationships-bring-support-of-local-catholics.html
- ↑ 3.0 3.1 3.2 "Archive copy". Archived from the original on 2020-06-10. Retrieved 2024-09-10.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 4.0 4.1 4.2 "Archive copy". Archived from the original on 2020-02-21. Retrieved 2024-09-10.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
Ewalala w'oyinza okubigya
[kyusa | edit source]- Abasuumba okutiisatiisa okwawulamu essaza, Nga 18 Ogwomwenda 2013.