Sabrina Kitaka
Sabrina Bakeera Kitaka oba Sabrina Kitaka, munayuganda omusawo w'abaana, omukugu mu ndwadde z'abaana ezisiigibwa era munabyanjigiriza akola nga omusomesa omukulu mu kitongole ekya Pediatrics at Makerere University School of Medicine.
Obuvo n'okusoma
[kyusa | edit source]Kitaka yazaalibwa Nsambya, mu kibuga Kampala, mu maka ga Teddy Bakeera, omusawo eyawummula n'omugenzi Paul Samuel Ssemuli Bakeera eyali yinginiya w'omu Kilembe Mines.
Yasomera ku Namugunga Primary School e Kelembe. Oluvannyuma yatwalibwa ku Mount Saint Mary's College Namagunga, mu disitulikiti y'e Mukono, gye yamaliriza emisomo gye egya O-Level ne A-Level.
Yaweebwa ekifo ku Makerere University mu 1990, gyeyatikirwa mu 1995 ne diguli esooka mu by'edaggala n'okulongoosa. Yafuna okugezesebwa mu ddwaliro lya Saint Francis Nsambya. Mu 2002 yafuna diguli ey'okubiri mu Pediatrics and Child Health, era okuva e Makerere. Oluvannyuma yagenda mu maaso n'okufuna Fellowship in Pediatric Infectious Diseases Institute e Mulago, Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda.
Mu Gwokusatu 2018, yali anoonya diguli ey'okusatu eya Doctor of Philosophy mu diguli eya Children's HIV/AIDS, ku School of Biomedical Sciences mu University of Antwerp mu Belgium, omulimu gwe yamaliriza mu 2020.
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Kitaka mukugu mu kulwanyisa endwadde ezisiigibwa mu baana n'abavubuka, ng'ayagala nnyo okukwata endwadde za HIV/AIDS mu bavubuka. Asomesa ku MBChB ne MMed mu by'obujjanjabi bw'abaana n'abavubuka e Makerere University School of Medicine.
Kitaka abadde awandiika nnyo mu mpapula z'amawulire era alina emiko egisukka mu 30 egifulumizibwa mu mannya ge. Alabibwa nnyo mu munkungaana z'abasawo mu Uganda n'ebweru w'eggwanga. Era awa emboozi ez'okwagazisa abavubuka okubeera ab'omugaso.
Yaweereza ng'omuwi w'amagezi eri ekitongole ky'ebyobulamu eky'ensi yonna ng'akola ebiragiro by'ebyobujjanjabi ku lubyamira mu baana abalina akawuka ka HIV/AIDS. Y'omu ku b'omu Uganda National Academy of Sciences.
Amaka
[kyusa | edit source]Kitaka yafumbirwa Engineer Andrew Kitaka, eyali omukozi mu Kampala Capital City Authority era mu kiseera kino bakugu abebuuzibwako era bombi balina abaana bataano.
Ebirala bye balowoozaako
[kyusa | edit source]Kitaka ayigiriza ku Ssande School mu All Saints Church, Mutundwe, ekifo mw'asabira. Y'akulira enteekateeka y'okutendekebwa kw'ebyobulamu bw'abavubuka mu Makerere University College of Health Sciences era omutandisi w'ekibiina kya Youth Health Society mu Uganda. Kitaka era mmemba mu kibiina ekya African Pediatric Society of Infectious Diseases (AFSPID).
Laba era
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]