Jump to content

Safia Juuko Nalule

Bisangiddwa ku Wikipedia

Safia Juuko Nalule (yazaalibwa Omwezi ogwokusatu 1966 [1] ) munnayuganda omulwanirizi w'eddembe ly'abaliko obulemu, munnabyabufuzi era omubaka wa palamenti era eyaweerezaako nga omukyala omulonde akikiikirira abantu abaliko obulemu, mu ttundutundu lyomumassekkati ga Uganda mu palamenti ya Uganda ey'ekkumi. [2] Mu Mwezi ogwokuna 2021, yalondebwa okuba Ssentebe w’akakiiko ka Uganda akalwanirira obwenkanya (Equal Opportunities Commission-EOC). [3] Mu byobufuzi , yeegattira mu kibiina kya National Resistance Movement [4] nga wansi tikiti yaakyo kweyavuganyiza mu kulonda kwa bonna okwa 2016 . [2]

Obuvo bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Okusinziira ku mukutu ogw'omutimbagano ogw'akakiiko akalwanirira obwenkanya , Nalule yazaalibwa Mawokota mu disitulikiti y’e Mpigi eri omugenzi Mwami Lule Moses ne Mukyala Nanyonga Jane Lule [5]

Nalule yafuna ddiguli esooka okuva mu yunivasite y’e Makerere mu 1990 era olwamala awo n’afuna satifikeeti mu kutendeka enzirukanya ya bbizinensi okuva mu mu kitongole kyensi yonna ekivunaanyizibwa ku bakozi / Ekitongole ekigatta abakozesa abakozi mu 1991. Mu 1996, yafuna satifikeeti bbiri – Satifikeeti mu bukulembeze bw’abakyala okuva mu ttendekero lya ESAMI (Eastern and Southern African Management Institute) ne satifikeeti mu by’obukulembeze n’enkozesa y'ensimbi entonotono okuva mu Mobility International USA (MIUSA). Ekyo yakigobereza dipulooma mu mateeka okuva mu ttendekero lya Law Development Center mu 2006 n’oluvannyuma n’afuna Ddiguli eyokubiri mu ddembe ly’obuntu okuva mu yunivasite y’e Makerere mu 2016. [1]

Nalule yali mubaka wa Palamenti okuva 2006, nga yatuula mu paalamenti ya Uganda ey'omunaana n'eyomwenda . Mu mwaka 2020, yalondebwa ku bwa kaminsona ku kakiiko ka Paalamenti. [6] [7]

Ekyo nga tekinnabaawo , wakati wa 2005 ne 2006, yaweerezaako nga Kaminsona n'akakiiko akeekennenya Ssemateeka wansi wa minisitule y'obwenkanya n'ensonga za Ssemateeka . N'era yaliko Kansala n'ekitongole ekyali kitwala Kampala ebiseera ebyo ki (Kampala City Council) wakati wa 1997 ne 2006. Okuva mu 1996 okutuuka mu 2005, yakola nga omukulembeze owokuntikko ow'ekitongole kya Disabled Women Network and Resource Organisation in Uganda (DWNRO).

Aweereza nga mmemba ku lukiiko olufuzi olw'ekitongole ekigatta ebibiina by'abaliko obulemu ekya Uganda (NUDIPU) okuva mu 2015 n’okutuusa leero, ne mu kibiina ky'abakyala ekya Uganda Women’s Network (UWONET) wakati wa 1990 ne 1997.

Mu 2017,yeeyali ssentebe w’akakiiko akavunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu. [8] Ng’omubaka omukyala mu paalamenti ya Uganda ey’ekkumi, yali mmemba w’ekibiina ekigatta ababaka ba Paalamenti abakyala ekya Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA) [9] nga kw’otadde n’okuba omumyuka wa ssentebe ku kakiiko akalonda abantu ab'okuwa emirimu. Yateekebwa ku lukalala nga mmemba w’akakiiko akavunaanyizibwa ku nsonga z'amawanga ag'obuvanjuba bwa Afirika . [1]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Nalule Juuko Safia". Parliament of Uganda. Retrieved 17 April 2020.
  2. Electoral Commission (13 April 2016). "General Parliamentary Elections 2016 Gazette List" (PDF). Electoral Commission of Uganda. Retrieved 17 April 2020.
  3. "Sylvia Ntambi dropped as Museveni names Safia Nalule as new EOC Boss". Daily Express News (in British English). 2021-04-16. Retrieved 2022-02-25.
  4. National Resistance Movement (1 January 2017). "NRM Parliamentary Caucus". National Resistance Movement. Archived from the original on 4 October 2015. Retrieved 17 April 2020.
  5. "MESSAGE FROM THE CHAIRPERSON | EOC -UGANDA". THE EQUAL OPPORTUNITIES COMMISSION - EOC (in American English). Archived from the original on 19 March 2022. Retrieved 2022-02-25.
  6. "Parliamentary Commission". Parliament of the Republic of Uganda. 27 February 2018. Retrieved 17 April 2020.
  7. "The Human Rights Committee of Parliament meets the Equal Opportunities Commission (EOC) over recommendations made in the 18th Report of the Uganda Human Rights Commission (UHRC)". Equal Opportunities Commission. 10 May 2017. Archived from the original on 28 February 2021. Retrieved 17 April 2020.
  8. "The Human Rights Committee of Parliament meets the Equal Opportunities Commission (EOC) over recommendations made in the 18th Report of the Uganda Human Rights Commission (UHRC)". Equal Opportunities Commission. 10 May 2017. Archived from the original on 28 February 2021. Retrieved 17 April 2020.
  9. "Members of UWOPA of 10th Parliament". Uganda Women Parliament Association. Archived from the original on 18 April 2021. Retrieved 17 April 2020.
  1. 1 2 3 "Nalule Juuko Safia". Parliament of Uganda. Retrieved 17 April 2020. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content
  2. 1 2 Electoral Commission (13 April 2016). "General Parliamentary Elections 2016 Gazette List" (PDF). Electoral Commission of Uganda. Retrieved 17 April 2020.
  3. "Sylvia Ntambi dropped as Museveni names Safia Nalule as new EOC Boss". Daily Express News (in British English). 2021-04-16. Retrieved 2022-02-25.
  4. National Resistance Movement (1 January 2017). "NRM Parliamentary Caucus". National Resistance Movement. Archived from the original on 4 October 2015. Retrieved 17 April 2020.
  5. "MESSAGE FROM THE CHAIRPERSON | EOC -UGANDA". THE EQUAL OPPORTUNITIES COMMISSION - EOC (in American English). Archived from the original on 19 March 2022. Retrieved 2022-02-25.
  6. "Parliamentary Commission". Parliament of the Republic of Uganda. 27 February 2018. Retrieved 17 April 2020.
  7. "Parliament Gets Two New Backbench Commissioners". Uganda Radio Network. Retrieved 17 April 2020.
  8. "The Human Rights Committee of Parliament meets the Equal Opportunities Commission (EOC) over recommendations made in the 18th Report of the Uganda Human Rights Commission (UHRC)". Equal Opportunities Commission. 10 May 2017. Archived from the original on 28 February 2021. Retrieved 17 April 2020.
  9. "Members of UWOPA of 10th Parliament". Uganda Women Parliament Association. Archived from the original on 18 April 2021. Retrieved 17 April 2020.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]