Sam Mangusho Cheptoris

Bisangiddwa ku Wikipedia



Sam Cheptoris munnayuganda era munnabyabufuzi. Minisita wa Uganda ow'amazzi n'obutonde bw'ensi, era nga yalondebwa mu kifo kino ng'ennaku z'omwezi 6 omwezi ogw'omukaaga omwaka 2016.[1]

Ebimukwatako n'obuyigirize bwe.[kyusa | edit source]

Sam Cheptoris yazaalibwa ng'ennaku z'omwezi 12 omwezi ogw'ekkumineebiri mu mwaka gwa 1949 mu disitulikiti ye Kapchorwa. Yasomerako Nabumali High school nga tanaba kwesogga University 'e Nairobi ng'eno gye yafunira esooka eya Bachelor of Arts. Yasomerako ne Makerere University ng''eno gye yafunira postgraduate diploma in Education ate nayongera n'afuna diguli ey'okubiri era mu by'enjigiriza.[2]

Obuweereza bwe nga munnabyanjigiriza.[kyusa | edit source]

Oluvannyuma lw'okutikkirwa diguli ye esooka okuva e Nairobi mu mwaka gwa 1975. Cheptoris yabakana n'omulimu gw'okusomesa olulimi olungereza ne litulica w'olungereza mu ssomero lya Sebei college ne Tegeres. Wakati wa 1978 ne 1981, Cheptoris yaweereza ng'amyuka omukulu w'essomero lya Sebei College ate nga mu ngeri y'emu bw'asomesa n'abayizi mu kibiina. Oluvannyuma lw'okusomesezaako mu Comboni College ne mu Gamatui Girls School, yakomawo n'afuuka omukulu w'essomero lya Sebei College mu mwaka gwa 1998. Bw'atyo n'awummula egy'obusomesa mu mwaka gwa 2009. [3]

Obuweereza bwe nga munnabyabufuzi.[kyusa | edit source]

Mu mwaka gwa 2011, Cheptoris yawangula ekifo ky'obwa ssentebe wa LC5 obwa disitulikiti ye Kapchorwa ekifo kye yawangulira ku ticket ya NRM. Oluvannyuma lw'okukulemberako ekisanja kimu eky'emyaka etaano, Cheptoris yeesimbawo era n'awangula ekifo ky'obukulembeze bwa consitituency ye munisipaali ye Kapchorwa bw'atyo n'afuuka omubaka waayo mu paalamenti[4]. Ng'ennaku z'omwezi 6 omwezo og'omukaaga mu mwaka gwa 2016, Cheptoris yalondebwa okubeera minisita w'eggwanga ow'amaazi n'obutonde bw'ensi[5]. Ebintu bw'asinga okusimbako essira ng'omukiise wa paalamenti kwe kussaawo enkola ey'omulembe efukirira ebirime mu constituency ye okusobola okutumbula ebyobulimi saako n'okuteekawo University mu kitundu kye wamu n'okuteekawo Elgon cooperative Union, era n'okutandikawo water and sewerage system mu munisipaali ye Kapchorwa .[6]


Biziness z'asinga okwettanira.

Cheptoris ye mutandisi (a) Kapchorwa Standard Academy nga lino ssomero lya secondary erisangibwa mu disitulikiti ye Kapchorwa. (b) Cheminy Standard Academy nga lino ssomero lya siniya erisangibwa okumpi ne disitulikiti ye Kween.

  • Cabinet of Uganda
  • Parliament of Uganda

References[kyusa | edit source]

  1. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2016-10-07. Retrieved 2021-09-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2018-10-01. Retrieved 2021-09-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2018-10-01. Retrieved 2021-09-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2018-10-01. Retrieved 2021-09-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://www.scribd.com/doc/314964607/New-Cabinet
  6. http://www.monitor.co.ug/News/National/Cabinet-job-miracle-Cheptoris/688334-3269140-44hkd6z/index.html