Samuel Wako Wambuzi
Samuel Wako Wambuzi (Ogusooka 23, 1931) munnayuganda omuyivu era omulamuzi eyaweereza emyaka esatu nga Omulamuzi wa kkooti ensukkulumu; okuva mu 1972 okutuusa 1975, 1979 okutuusa 1980 ne 1986 okutuusa 2001.[1][2]
Obulamu bwe obw'omu buto
[kyusa | edit source]Wambuzi yazaalibwa mu kyalo ky'e Kaliro, e Namalemba nga kaakano kimanyikiddwa nga Disitulikiti y'e Kamuli, Nnyina Milyamu Naigaga yafa nga wayiseewo omwaka gumu nga Wambuzi azaaliddwa era n'akuzibwa muka kitaawe.[3]
Yasomera ku ssettendekero wa Makerere University College ne Kabete Veterinary School, Wambuzi yekubira mu bigezo bye naddala eby'akamalirizo ekyamuviirako obutasanira mu ssomo lyeyali ayagala okuggukamu wabula amasoma amalala yagayitira waggulu.
Wambuzi yalina omkuwano u kuyimba ku myaka gye egy'obuvubuka, era yali uyimbi w'okukyalo nga yayimbiranga mu byalo bya Bugembe, Namutumba, Kaliro ne Busoga villages.[3]
Abadde omulamuzi wa kkooti ento nga ne Idi Amin tannagya mu buyinza, ng'ekyo kyava ku ngeri y'obesimbu gyakolamu emirimu gye n'okwewaayo mu kutuukiriza obw'enkanya saako obwesimbu eri eggwanga lye. Amaze obulamu bwe bwonna ng'ali ne famire ye mu Kampala, Uganda.[4]
Wambuzi yamala emyaka 40 mu mulimu gwe, yaweereza nga dayilekita wa ektongole ekiwaabi kya Gavumenti era nga Pulezidenti wa kooti y'omukago gwa East Afrika eyaEast African Court of Appeal mu kaseera ke ak'obuwereza.
Wambuzi yayogera ensonga entuufu ku kasambatuko akaali kabaluseewo mu ggwanga mu kunyenyezebwa kw'obuwangwa, ebyobufuzi, eby'amagye n'ebyekuusa ku mateeka.[5]
Eby'atuukawo ku lupapula lwa Red Pepper
[kyusa | edit source]Mu 2015, Wambuzi yavunaana olupapula lwa Red Pepper mu kkooti enkulu olw'emboozi gye lwa fulumya ng'elina omutwe Okubotolwa; abantu 100 abasiimibwa babiziddwa. Yali omu ku bantu abaali ku lukala lw'abaggaga 100 nti emboozi eyafulumizibwa yali eraga nga bweyali olwana okusasula looni gyayali yewoola ey'obuwubi 10 obw'ali bwewoleddwa okwongera mu ssomero lya GreenHill Academy, Oluvanyuma lw'ebyawandikibwa , kyategeeza nti mu bantu 100 olupapula lwa Red Pepper lw'ali lwakufulumya emboozi ng'esinzira ku Wambuzi.
Mu 2017, kkooti yalagira olupapula okuliyirira Wambuzi n'obukadde bw'ensimbi UGX 375 n'enyongereza y'abukadde UGX 50 oluvanyuma lw'olupapula okuwangulwa mu musango nga kino ky'alowoozebwako ng'ekibonerezo eri omuwawabirwa olw'okuvvoola ekitiibwa ky'omulala era nesabibwa okuwummuza emirimu. Okulamula kuno kw'akolebwa Omulamuzi Patricia Basaza Wasswa eyalagira olupapula lwa Red Pepper okusasula eyali abavunaana ng'ekibonerezo eky'okuvoola ekitiibwa ky'omuntu omulala era mu 2015 yasasulwa.[6]
Ebimukwatako
[kyusa | edit source]Yali mufumbo eri Gladys Wambuzi, omutandisi w'essomero lya Greenhill Academy mu Kampala na yafa kansa, nga baalina abaana 3; Maria, William ne Samson.[7][8] Mu 2008, yawasa Marion Nakabuye Ddamulira ku kkanisa ya St. Paul's Cathedral, Namirembe.[9]
Obutabo bwe yawandiika
[kyusa | edit source]- The odyssey of a judicial career in precarious times: my trials and triumphs as a three-time chief justice. Samuel William Wako Wambuzi, Cross House Books 2014. Book, Samuel William Wako Wambuzi, ,
- The role of an advocate: speech by the Honourable Chief Justice S.W.W. Wambuzi 5th July, 1974 to the Uganda Law Society at the Law Development Centre. S W W Wambuzi. Uganda Law Society, Kampala, LDC Publishers, 1974. Wambuzi, S.W.W. Role of an advocate. OCLC 705987343, . N: At head of title: The Uganda Law Society.
Olukalala lw'ebitabo by'eyawandiika
[kyusa | edit source]- The Odyssey of a Judicial Career in Precarious Times
- My Trials and Triumphs as a Three-Term Chief Justice of Uganda.
- The odyssey of a judicial career in precarious times: my trials and triumphs as a three-time Chief Justice of Uganda. S W W Wambuzi, UK, Christian House Books, 2014. Biography. Genre/Form: Biographies, History, Biography, Named Person: S W W Wambuzi. Biography. ISBN 9781910048047, 1910048046, .
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.ugandaupdatenews.com/justice-owiny-dollo-nominated-next-chief-justice-as-the-judiciary-is-accused-of-corruption-tendencies-and-miscarriage-of-justice/
- ↑ https://judiciary.go.ug/data/news/593/3793/Judiciary%20holds%20successful%20Hon.%20Justice%20Ben%20Kiwanuka%20Memorial%20Lecture.html
- ↑ 3.0 3.1 "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-01. Retrieved 2022-12-01.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://m.alibris.com/search/books/author/Chief-Justice-Samuel-William-Wako-Wambuzi
- ↑ https://books.google.com/books?id=tHbFrQEACAAJ
- ↑ https://eagle.co.ug/2017/05/05/red-pepper-ordered-to-pay-over-shs400m-to-retired-chief-justice.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1193773/chief-justice-wambuzi-wife
- ↑ https://allafrica.com/stories/200803240741.html
- ↑ https://allafrica.com/stories/200803310774.html