Sandra Suubi
Sandra Suubi (yazaalibwa mu mwaka gwa 1990) Munnayuganda omuyimbi w'ennyimba z'eddini era mubumbi.[1][2][3][4][5]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | edit source]Suubi yazaalibwa mu Kampala, Uganda mu 1990. emisomo gye egya Pulayimale y'agisomera ku Greenhill Academy ne ssekendule ye n'agisomera ku Gayaza High School, nga gombi masomero g'amukibuga.[6] Yasomera ku ssetendekero wa Makerere University gyeyafunira Diguli ye mu kusiiga ebifaananyi eya bachelor's degree in Fine Arts okuva mu dipatimenti y'okuwunda n'okusiiga ebifaananyi erya Margaret Trowell School of Industrial and Fine Art. Mu mwezi Ogusooka 2018, yatikkirwa mu Ssetendekero y'emu nga yavaayo ne Diguli ennene mu kusiiga ebifaananyi eya master's degree in Fine Arts.[7][8][1][2]
Emirimu gye egy'okuyimba
[kyusa | edit source]Ng'ali mu ssekendule, Suubi yali kitundu ku kwaaya y'essinzizo ly'essomero. Yatandika omulimi gwe ogw'okuyimba mu 2011 bwe yegatta ku kibiina ky'abawala ekyayitibwa nga Xabu wansi w'ebiragiro bya First Love. Ng'ali mu kibiina kino, yatandiika okuyimba ku mikolo egy'enjawulo ng'akyali ku Yunivasite. Mu 2015, ekibiina ky'asasika era n'eyetaba mu mpaka za Airtel Trace Music era n'awangula. Yeyongerayo mu maaso n'akiikirira Uganda ku mu tendera gwa East Africa mu mpaka ezaali ku ddala lw'ensi yonna.[9] Yafulumya alubaamu ye eyasooka mu 2016 nga yalimu enyimba bbiri, Togwamu Suubi and Nsiimye.[4][10] Oluyimba lwe olwa, Togwamu Suubi lw'akozesebwa mu filimu eyawangula awaadi eya Veronica’s Wish mu 2018. Yafulumya alubaamu ye ey'okubiri mu 2018 era nga alubaau yalimu ennyimba, Onjagande nyo, Kingdom come, Heaven ne Jangu Tuzine.[9][11]
Eby'okuyimba ng'abizze ku bbali, Suubi awunda ebifaananyi okuva mu bintu abisuuliddwa oba ebitakyalina mugaso. Akozesa ebintu omuli pulastiiki okukola entiimbe za sitegi, oby'okwewunda n'ebyokutimba. Ebintu bye byakola bikozesaddwa mu bikujjuko by'okusiiga ebiwerako mu Kampala nga olutiimbe lwa Bayimba mu 2013, laba 2014 Headphones, Bodaboda Helmet n'ekirowoozo ky'ekinyonyi ku mukolo Kampala art.[4][11]
Enyimba z'eyayimba
[kyusa | edit source]- Anthems of Life (2016)
- Anthems of Life, Ep (2018)
- Faya
Awaadi z'eyawangula
[kyusa | edit source]- Omuyimbi w'omwaka omupya mu 2015 - Victoria Gospel Academy (VIGA) awards[5]
- Omuyimbi omukyala omuto ow'omwaka 2016 - VIGA Awards[8]
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 https://www.ntv.co.ug/features/MORNING-AT-NTV--Christmas-Carols-with-Sandra-Suubi/4545218-5392624-9hhebvz/index.html
- ↑ 2.0 2.1 https://campusbee.ug/news/award-winning-artiste-sandra-suubi-graduates-masters-degree/
- ↑ http://www.africancrossroads.org/team-member/sandra-suubi/
- ↑ 4.0 4.1 4.2 "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-02. Retrieved 2022-11-19.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 5.0 5.1 https://observer.ug/lifestyle/50826-sandra-suubi-on-balancing-art-and-music
- ↑ https://allafrica.com/stories/201805030173.html
- ↑ https://www.at-work.org/en/notebook/sandra-suubi-notebook
- ↑ 8.0 8.1 https://www.ugchristiannews.com/sandra-suubi-accorded-a-masters-degrees-from-makerere/
- ↑ 9.0 9.1 "Archive copy". Archived from the original on 2019-12-30. Retrieved 2022-11-19.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1439093/sandra-suubi-finally-releases-debut-song
- ↑ 11.0 11.1 "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-02. Retrieved 2022-11-19.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)