Sanyu Robinah Mweruka

Bisangiddwa ku Wikipedia

Sanyu Robinah Mweruka (ye Sanyu Robinah Nalubwama, yazaalibwa mu 1987) munnayuganda omusomi w'amawulire ,muweereza ku ttivi eya Bukedde ekola mu lulimi oluganda nga y'emu kuziri mu kitongole ekya New Vision Group.

Ebyafaayo n'okusoma[kyusa | edit source]

Robinah yattikirwa okuva Uganda Media Consultants and Trainers (UMCAT) oluvannyuma lw'okukuguka mu bya leediyo ne ttivi.

Emirimu[kyusa | edit source]

Mweruka musomi wa mawulire mu pulogulaamu u y'amawulire ey'o Luganda eyitibwa Agataliiko Nfuufu ne Agabutikidde. Era y'omu ku baweereza ba pulogulaamu eya Omuntu Wa Bantu, era pulodyusa ku ttivi eya Bukedde. Nga taneegatta ku Nukedde ttivi, yali musasi ku Bukedde FM era leediyo y'ekitongole ky'ekimu.Yakyuusibwa okuva mu leediyo n'adda ku ttivi mu 2009.

Amaka[kyusa | edit source]

Sanyu Robinah Mweruka yafumbirwa Paschal Mweruka.Okuva mu mwezi ogw'okuminagumu,, 2018, balina abaana bataano, ab'emyaka 7,5, emyaka 3, emyaka 2 n'ow'emyeezi ebiri.

Enkaayana[kyusa | edit source]

Ku ntandikwa y'omwaka gwa 2015,akatambi ka kasaasana ku mikutu gy'eby'empuliziganya, nga kalaga Sanyu Robinah Mweruka bweyali mu kukaanya n'omwami ataali wuwe. Omusajja eyali mu katambi yategeerekeka nga Kizito Ongom, era amanyiddwa nga Kasumaali, omukubi w'ebikonde era omusituzi w'ebyuuma ebikola emifumbi. Mu kuwa endoowoza ze n'olupapula lw'amawulire olwa The Observer, Kizito Ongom yeegaana nti siyeeyali mu katambi.

Sanyu naye agamba nti si ye mukazi eyali mu katambi. Yataegeeza nti feesi ye yagattibwa ne tekinologiya ku muntu eyali mu katambi ako. Omwami we yayimirira naye era n'agaana okumukyawa bawukane. Yategeeza nti amaanyi gali ga kubagyamu sente ng'abaagalana nga bakozesa akatambi ako nga tebagattibwa emyaaka etaano emabega.

Ebirala ebitunuulirwa[kyusa | edit source]

Mu 2015, Sanyu yafulumya oluyimba lumu oluyitibwa Tonvuddemu (You Have Not Forsaken Me), ng'atendereza omwami we olw'okunywera naye mu bizibu by'obufumbo bwabwe.

Laba era[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]

Enkolagana ez'ebweru[kyusa | edit source]