Sara Mulindwa
Sara Mulindwa oba oluusi awandiikibwa nga Sarah Mulindwa munnayuganda enzaalwa y’e Bungereza, asinziirira mu Bungereza munnamawulire, omukozi wa'oku ttivvi era omusomesa w’ebyobulamu .
Oulamu bwe obwasooka n’Okusoma
[kyusa | edit source]Yasomera mu Westminster Kingsway College (2001– 2003) n’amaliriza n’eddaala ery’enjawulo mu by’obulamu n’okulabirira abantu, oluvannyuma n’agenda mu Thames Valley University (2004–2007), n’atikkirwa diguli esooka eya Sayansi mu kujanjaba abantu abakulu.
Emirimu
[kyusa | edit source]Wakati wa 2007 ne 2012, Sarah yakola nga ward nurse mu Acute Medicine era okuva mu 2012, yakuguka mu Sexual Health ne HIV. [1] Mu November 2015, Sarah yatandika okwanjula okusomesa ku bulamu bw’okwegatta n’akawuka ka siriimu ku Channel 4 . Mu 2019, yasooka kuzannya ku The sex clinic. Mu kiseera kino ekirwadde kya covid-19 yakola nga front line nurse mu ddwaliro lya Chelsea and Westminster Hospital.
Okukwata firimu
[kyusa | edit source]Omwaka | Firimu/Ttivvi | Omugaso | Ekirabo |
---|---|---|---|
2017 | Abagezesa akaboozi | Sarah Mulindwa | Omuzannyo gwa ttivvi ogwa Reality. |
2019–2020 | Eddwaaliro ly'okwegatta | Sarah Mulindwa | Omuzannyo gwa ttivvi ogwa Reality |
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-22. Retrieved 2024-04-05.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)