Sarah Achieng Opendi

Bisangiddwa ku Wikipedia



Sarah Achieng Opendi, nga oluusi Sarah Opendi Achieng, munnayuganda omubazi w'ebitabo era munnabyabufuzi. Okuva nga 14 Ogwekkuminebiri ye yali minisita omubeezi ow'ebyobugagga eby'omuttaka.[1]

Okuva nga 6 Ogwomukaaga 2016 okutuusa nga 14 Ogwekkuminebiri 2019, yaweerezaako nga Minisita omubeezi owa guno na guli mu minisitule y'ebyobulamu.[2] Nga tannaweereza mu kifo ekyo, yasooka kuweereza nga minisita omubeezi ow'ebyobulamu ebisookerwako okuva mu Gwomunaana nga 15, 2021 okutuusa mu Gwomukaaga nga 6, 2016.[3] Opendi era yasooka kuweerezaako nga Minisita omubeezi ow'ebyettaka okuva nga 27, Ogwokutaano 2011 okutuuka mu Gwomunaana nga 15, 2012.[4] Mu kulondebwa kwa akakiiko akapya nga 1 Ogwokutaano 2015,Achieng yasigaza ekifo kye.[5]

Gy'ava n'ebyokusoma kwe[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti ye Tororo[6] mu Gwomwenda nga 26, 1968. Yasoma okubala ebitabo era nattikirwa Dipuloma mu kubala ebitabo mu ttendekero lya National College of Business Studies, mu1994. Mu 1998, yayita ebigezo bya Association of Chartered Certified Accountants, ebyamuwanguza engule ya Associate Chartered Certified Accountant Level II. Mu mwaka gwe gumu, yatikkirwa Diguli ya Bachelor of Business Administration ku Yunivasite y'e Makerere Mu 2005, Opendi era yafuna Diguli eyookubiri mu ssetendekero wa Makerere eyitibwa Master of Business Administration.[7]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Ebyemirimu gye byatandiika mu 1994 nga omuyambi w'omubazi w'ebitabo mu kitongole kya Uganda Consolidated Proportions Limited, ekyali kikolera wansi wa Uganda Development Corporation (UDC). Mu1996, yakuzibwa ku bw'omubazi w'ebitabo omujjuvu mu Kkampuni yemu era nawereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1998. Okuva mu 1998 okutuusa mu 2000, yaweereza nga omumyuka wa Sipiika w'akakiiki aka Disitulikiti y'e Tororo aka Tororo District Council. Okuva mu 1999 okutuusa mu 2003, yaweerezaako mu ofiisi ya Kaliisoliiso wa Gavumenti. Okuva mu 2003 okutuuka mu 2004, yakuzibwa kubwa kaliisoliiso omujjuvu mu offiisi ya kaliisoliiso. Okuva mu 2004 okutuuka mu 2006, yakuzibwa kubwa Principal Inspetorate Officer mu offiisi ya IGG. mu kaseera kekamu, yaweerezaako nga omumyuka w'omukubiriza ku DANIDA Anti-Corruption Project. Mu 2006 okutuuka mu 2007, yaweereza nga omubazi w'ebitabo mu Acholi Bursary Program, ekitongole kya Royal Netherlands Embassy. okuva mu 2009 okutuusa u 2010, yeweereza nga omukwasaganya w'ebyensimbi mu kitongole ky'obwannakyewa ekya Windle Trust Uganda. Mu 2011, yawangula ekifo ky'omubaka mu palamenti akkikirira abakyala mu Disitulikiti ye Tororo ne tikiti y'ekibiina kyaNational Resistance Movement. yalondebwa nga minisita omubeezi ow'ebyettaka era naweereza mu kifo kino okuva mu 2011 okutuusa 2012.[8] Mu kukyusa Kabinenti okwakolebwa mu Gwomunaana nga 15, 2012, Opendi yalondebwa okufuuka Minisita omubeezi owe by'obulamu ebisookerwako.

Ekiseera ky'ebyobufuzi mu 2006[kyusa | edit source]

Sarah Achieng Opendi yalondebwa ku bw'omubaka mu palamenti akikirira abakyala mu Disitulikiti ye Tororo okutuusa nga 2016. Mu kamyufu k'ekibiina kya National Resistance Movement , mu Gwekkumi 2015, Opendi yawangulwa n'obululu 42,718 vs 44,444 eri Jacinta Ayo.[9]

Mu kaseera k'okulonda okwawamu mu Gwokubiri 2016, Opendi yeesimbawo ku bwannamunigina.[10] Yalangirirwa nga omuwanguzi nobululu 61,800 ate nga Jacinta Ayo yafuna obululu 59,790.[11]

Ayo yagenda mu kooti okukakasa nti abalondesa nti bawanyisa empapula okwalondebwa mu bifo ebilondebwamu ebitali bimu. Ayo yakakasa nti omugatte gw'obululu 1,765 bwali bumugyiddwako. okusinzira ku bujulizi obwatwalibwa, Ayo yasinga Opendi n'obululu 61,276 ku bululu 60,772. Kooti ensukkuluku etuula e Mbale nga 28 Ogwomusanvu 2016 yalagira Opendi okugobwa mu Paalamenti era n'okulondebwa kuddibwemu.[12]

Ebirala ebyenkizo[kyusa | edit source]

Sarah Achieng Opendi muwuulu.[13]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

 

Ebijuliziddwa eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

  1. https://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-shuffles-Cabinet-drops-Muloni-Nadduli-Ssekandi/688334-5386130-139sq4lz/index.html
  2. https://www.monitor.co.ug/News/National/First-lady-named-Education-minister/688334-3235186-c2c27sz/index.html?__cf_chl_captcha_tk__=pmd_9a7460700ca93a0d3b520d755c878df5d40431df-1627116127-0-gqNtZGzNAyKjcnBszQsi
  3. https://web.archive.org/web/20150402121843/http://www.newvision.co.ug/news/634161-president-yoweri-museveni-reshuffles-cabinet.html
  4. https://www.facebook.com/note.php?note_id=10150208384704078&comments
  5. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2017-07-09. Retrieved 2021-08-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://en.wikipedia.org/wiki/Tororo_District
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2023-11-18. Retrieved 2023-11-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2017-02-14. Retrieved 2021-08-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2021-07-31. Retrieved 2021-08-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. http://www.monitor.co.ug/News/National/Minister-Opendi-to-stand-as-Independent/688334-2933636-p5jkyu/index.html
  11. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1417654/minister-opendi-omala-clash-tallying-center
  12. "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-15. Retrieved 2021-08-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  13. "Archive copy". Archived from the original on 2021-07-31. Retrieved 2021-07-31.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)