Sarah Kiyingi Musoke

Bisangiddwa ku Wikipedia
Sarah Kiyingi Musoke
Obuzaale Omwezi ogw'okuna nga 16, 1960
Eggwanga Ugandan
Obutuuze bwe Ugandan
Gyeyasomera Bwanda Primary School, Kalagala Primary School, St Catherine Girls School kati eyitibwa Dr. Obote College, Kyebambe Girls, Makerere University, University of Nairobi
Omulimu gwe Munabyafuzi
Ekitiibwa Minisita
Ekibiina ky'eby'obufuzi National Resistance Movement (NRM)
Abazadde David Livingstone (Taata we)

Sarah Kiyingi Musoke (yazaalibwa mu mwezi ogw'okuna nga 16 mu mwaka gwa 1960) nga munabyabufuzi okuva Omunayuganda, nga yaliko minisita omubeezi ow'ensonga z'omunda ng'era yaliko omukyala eya kiikirirako disitulikiti y'e Rakai mu palamenti ya Uganda okuviira ddala mu y'omulundi ey'omukaaga wakati w'omwaka gwa 1996 okutuuka mu 2016.[1]

Obulamu bwe, ne gyeyasomera[kyusa | edit source]

Sarah yazaalibwa David Livingstone ( ng'ono ye kitaawe) okuva mu disitulikiti y'e Rakai.[2] Yasomera ku Bwanda Primary School nga tanaba kugenda ku Kalagala Primary School. Oluvannyuma yagenda ku St Catherine Girls School (ng'esaawa eno eyitibwa Dr. Obote College), Kyebambe Girls oluvannyuma n'agenda ku Makerere University gyeyatikirwa ne diguli mu by'etolootedde abantu n'eby'ediini. Oluvannyuma yeegata ku yunivasite y'e Nairobi gyeyafunira diguli ye ey'okubiri mu by'ediini .[1]

Obulamu mu by'obufuzi[kyusa | edit source]

Bweyajja mu palamenti mu mwaka gwa 1996, yasooka kubeera mumyuka wa ssentebe w'akakiiko k'ensonga z'ebweru, nga mukaseera ako Yoweri Museveni yaulonda nga minisita omubeezi ow'ensonga z'omunda wakati wa 1999 okutuuka mu 2003. Yeeyali ssentebe w'akakiiko ka palaemti akaali kavunaanyizibwa mu b'ensonga z'omunda .[1]

Yakulemberamu era n'atandikawo enkola y'okunoonyereza ku eyali minisita w'eby'entamabula n'empuliziganya omukulu Kirunda Kivejinja gwebaali balumiriza okubeera nga yali akozesa bubi lita z'amafuta ezaali zisuka mu lukumu. Kino kyali kisanja kye ekyali kisooka mu palameenti.

Obukubagano[kyusa | edit source]

Sarah Kiyingi, Eriya Kategaya, Bidandi Ssali, Miria Matembe ne Namusoke baagobwa Yoweri Museveni okuva mu lukiiko lw'abaminisita oba mu bifo byabwe nga ba minisita ng'ezimu kunsonga zeyawa olw'okubagoba baali tebakwatagana oba kukiriziganya na National Resistance Movement ku kisanja eky'okusatu. Era kyali kigambibwa nti baali tebakiriziganya nakusalwo kwa Yoweri Meseveni eyali ayagala okukola enoongosereza mu semateeka ku bisanja .[3]

Mu mwezi ogw'okuna mu mwaka gwa 2021, Musoke kyali kigambibwa nti yeeyatandikawo okujulira okwakolera ku mitimbagano okwali kuwakanya okukyusa obuwumbi 10 ezaali ez'abakaka ba palamenti, okusobola okulwanyisa okusaasaana kwa ssenyiga omukambwe.[4]

Laba ne[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 {{cite web}}: Empty citation (help)http://archive.observer.ug/specials/mu7/mus200507284.php
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/i-regret-joining-politics-says-former-minister-sarah-kiyingi-3233900
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.newvision.co.ug/articledetails/1121522
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.independent.co.ug/17000-sign-petition-against-covid-19-allocation-to-parliament/