Jump to content

Sarah Nyendwoha Ntiro

Bisangiddwa ku Wikipedia

Sarah Nyendwoha Ntiro (21 Ogwokusatu 1926-22 Ogwekkumi 2018) yali munayuganda nga munabyanjigiriza, munnabyabufuzi era omulwanirizi w'eddembe. Y mukyala eyasooka okuttikirwa mu East and Central Africa okuva mu yunivasite ya Oxford ne Bachelor of Arts (Hon) mu byafaayo mu 1954.

Ebyafaayo n'ebyenjigiriza

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Hoima eri Erasto B. Nyendwoha Akiiki ow'ekika kya Bakwonga ne Jane Nsungwa Nyendwohi Adyeri, ow'ekika kya Babiito, mu 1925. Abazadde be bombi baali basomesa. Sarah yatandika okusoma mu ssomero lya Duhaga Girls' School mu Hoima gye yasomera okutuuka ku Primary 4. Mu 1938, yagenda mu King's College Budo, gye yasomera emyaka munaana, okuva ku kibiina ekya 5 okutuuka ku Secondary 6 (1938-1945). Ku nkomerero y'emyaka egyo, yatuula ebigezo ebibayingiza mu Makerere College era n'aweebwa ekifo okutendekebwa obusomesa. Yamaliriza emyaka esatu, ng'asoma ebyafaayo, geography, English n'okutendekebwa kw'abasomesa. Yamibwa omukisa okusoma okubala olw'okubanga omutendesi w'okubala yagamba nti teyasomesa bawala.

Yakola omulimu gwe ogw'okusomesa mu King's College Budo ne Kyebambe Girls' School era oluvannyuma n'afuna satifikeeti y'okusomesa. Mu 1951, yegatta ku yunivasite eya Oxford gyeyattikirwa mu byafaayo mu 1954. Ye mukyala eyasooka okumaliriza emisomo gye mu yunivasite ya Oxford mu kiseera ng'amasomero aga waggulu tegawa diguli mu East Africa mu East ne Central Africa .

Omulimu gwe

[kyusa | edit source]

Yasooka kukolera mu ssomero lya Kyebambe Girls eriri Fort Portal. Mu 1955, yegatta ku ssomero lya Gayaza High School. Oluvannyuma yava mu ssomero lya Gayaza High School neyeegatta ku Duhaga Junior Secondary School (DJSS) mu Hoima gye yasomesa okumala emyaka ebiri nga tanawumula mulimu gwe ogw'obusomesa 1958.

Sarah okwenyigira mu mirimu gy'obwannakyewa yagitandika akyali ku ssomero mu myaka gya 1940. Eky'okulabirako, bwe yali ku King's College Budo, yayitibwa omu ku basomesa be okuyambako okusomesa oluzungu eri abanoonyi b'obubudamo abapolandi. Omusomesa yafumbirwa omuduumizi w'enkambi eye Budongo Forest era abanoonyi b'obubudamo baali baleetebwa oluvannyuma lwa Sematalo II.

Ku nkomerero y'emyaka gya 1950, Bungereza bwe yalangirira nti yali egenda kuwa Uganda obwetwaze, yatandikawo amasomo g'ebyenjigiriza ku kitebe kya disitulikiti y'e Hoima okukubaganya ebirowoozo ku demokulasiya n'okulonda. Yaweereza mu lukiiko lw'amateeka mu Uganda okuva mu 1958 okutuuka mu 1961 gye yaleetera ekiteeso ky'omuntu kinoomu ku kuwandiisa obufumbo mu 1961 era yeenyigira mu bibiina by'abakyala nga Uganda Council of Women ne YWCA (U). Okuva mu 1965 okutuuka mu Ogwomunaana 1967, yakolera mu minisitule y'eby'enjigiriza ng'omuwandiisi w'akakiiko k'okusomesa. Mu Ogwomwenda 1967, yayingira Kings College Budo ng'omusomesa.

Mu 1971, yawumula obusomesa ku King's College Budo neyeegatta ku Yunivaasite eye Makerere ng'omuyambi w'omuwandiisi mu ofiisi y'omuwandiisi wa yunivaasite era ng'omuwandiisi w'olukiiko lwa yunivasite ye Makerere, ng'akola ku nsonga z'olukiikakiiko lwa yunivesite (1971-1976).

Mu 1976, yakyusibwa okuva mu ofiisi y'omuwandiisi wa yunivasite n'atwalibwa mu kitongole ekikolera awamu ekya Faculty of Arts ne Faculty of Social Sciences gye yakolera okutuusa mu Ogw'omwenda 1978. Bwe yali mu Makerere, yeeyali Senkulu wa East African Posts and Telecommunications Corporation (EAPTC).

Okuvvuunuka enkomera

[kyusa | edit source]

Okulwanirira eddembe ly'abakyala mu Uganda kubaddewo okumala ebbanga ddene. Amangu ddala ng'atuuse ku ssomero lya Gayaza High School, yakizuula nga omusaala gwe gwali gwa wansi ku gwa bakozi banne ab'abasajja. Olw'okwemulugunya ku kino, yasaba okukola awatali kusasulwa kwonna okumala omwaka mulamba okusobola okusasula ssente z'okusoma kwe. Oluvannyuma lw'omwaka gumu ogw'okusoma, yabagamba nti, yali agenda kulekulira anoonye omulimu omulala ogumusasula nga ssi nga omukyala wabula ng'omukozi owabulijjo. Ekikolwa kye kyavaamu ebibala. Omukulu w'essomero yategeeza mukyala wa Gavana, Sir Andrew Cohen ekikolwa kye, eyamutuukirira ku ssomero. Yanywerera ku buyinza bwe era oluvannyuma lw'olukiiko luno, yaweebwa omusaala gwe gumu olw'omulimu gwe gumu gwe yakola. Eno y'engeri gye yayimirizaamu omuggalo gw'okusasulwakwe okw'enjawulo.

Yafumbirwa Sam Joseph Ntiro mu Ogwekumunieebiri 1958. Baalina abaana babiri, Joseph Kakindo Ntiro Amooti ne Simbo Nyakwera Ntiro Atenyi.

Ebiwandiiko ebifulumiziddwa

[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa

[kyusa | edit source]

Ensibuko

[kyusa | edit source]