Jump to content

Semateeka (Constitution)

Bisangiddwa ku Wikipedia
semateeka wa america

Semateeka (Constitution) ly’etteeka eryo ku ntikko eriteekawo obuzimbe bw’obufuzi bw'eggwanga .Ebimu ku bintu semateeka by’akola kwe kuteekawo amasiga ga gavumenti awamu n’okusonjola emirimu n’obuyinza bwa buli ssiga mu kukola emirimu gino.

Amasiga ganoo asatu ge gasinga okuba ag’omugaso mu kuddukanya eggwanga: essiga lya nakitondekamateeka, essiga erya nakiteekamunkola , n’essiga eddamuzi(naddamula).Amasiga gano geyolekeramu emirimu gya gavumenti egisinga okwetagisa omuli :

(i) okuteekawo enzirukanya(management) z’ebitongole bya gavumenti byonna n’entuukiriza y'enkola zino(administration).

(ii) Okukola n’okusazaamu oba okukyuusa mu mateeka agafuga eggwanga

(iii) Okusalawo ku butakkaanya obuba bubaluseewo nga amateeka g’eggwanga gali mu kuteekewa mu nkola okuyita mu bisalibwawo essiga lya nakiteekamunkola(executive) oba ebisalibwawo ( administration)