Jump to content

Senteza Kajubi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

George William Senteza Kajubi, yasoma okudukanya bizineensi, alina dipuloomamu by'enjigiriza, alina diguli ey'okubiri mu sayaansi, nga yakuguka mu kujanjaba obuwandde bwa siko seelo, nga yazaalibwa nga 24 Ogwekumineebiri mu 1926 n'afa nga 1 Ogwokutaano 2012 nga yali adukanya yunivasite, muyigirize wamu n'okubeera omukulmebezze w'ekitundu mu Uganda, eby'enfuna ebikwata eky'okusatu mukubeera ebinene mu bitundu bya Buvanjuba bwa Afrika.

Obulamu bwe

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa ku kyalo Kireku, mu Ssaza ly'e Ssingo mu gyebayita Disitulikiti y'e Mityana ensangi zino mu Bitundu by'Amasekati ga Uganda mu 1926, nga yemwaka eyasooka okuzaalibwa mu bazadde bbe. Kitaawe yeeyali Yoweri Bugonzi Kajubi, eyali dereeva eyali akolera kampuni evunaanyzibwa mu kutambuza amabaluwa n'ebitereke okumala emyaka 40. Maama wa Ssenteza yeeyali amannyikiddwa nga Bulanina Namukomya. Family munkomerero yasenga mu Busega, ebintu ku bitundu bya Kampala, ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu Uganda.[1][2]

Obuyigirize bwe

[kyusa | edit source]

Okusoma kwe okusooka kwamuyisa mu Mackay Primary school okuva mu 1934 okutuuka mu 1940, nga kuno kw'oteeka Mengo Junior Secondary School okuva 1941 okutuuka 1942 agasinganibwa mu masekati ga Kampala. Okuva mu 1943 okutuuka mu 1946, yasomera ku Kings College Budo, esomero lya sekondale erisinganibwa mu bitundu by'omumaskekati g'eggwanga. Okuva mu 1947 okutuuka mu 1950, yasomera kutendekero lya Makerere University, yunivasite ya gavumenti esinga okubeera enkadde n'obunene mu Uganda, gyeyatikirwa ne Diguli by'okusomesa wamu ne Dipulooma mu by'enjigiriza. Oluvannyuma yagenda kutendekero lya University of Chicago, mu kibuga Chicago mu ggwanga lya Amerika okuva mu 1952 okutuuka mu 1955, gyeyali asomera ku bweereere olw'okubeera nga yali awererwa aba Fulbright, ng'era eno yatikirwa ne Diguli ey'okubiri mu Saayansi mu by'okumannya n'okutegeera obutonde n'embeera y'ensi.[3] Nga 30 Ogusooka mu 2010 etendekero lya Mbarara University lyamuwa diguli y'okubeera ng'alina kyeyali agase eky'amaanyi ku mirimu gyeyali yeenyigiramu egy'enjawulo.[4]

Obumannyirivu bw'alina mukukola

[kyusa | edit source]

Oluvannyuma lw'okutikirwa kutendekero ly'e Makerere, yasomesaako ku Kako Junior Secondary School okuva mu 1951 okutuusa mu 1952. Oluvannyuma lw'okukomawo okuva mu misomo gye gyeyali atikiddwa mu Chicago, yasomesaako ku Kings College Budo okuva mu 1955 okutuusa mu 1960. Oluvannyuma yafuuka omusomesa kutendekero lya Makerere University. Oluvannyuma yakuzibwa okukulira abasomesa mutendekero lyerimu. Okuva mu 1964 okutuusa mu 1977, yawereza nga eyali akulira etendekero erivunaanyizibwa ku by'enjigiriza mu Makerere University. Okuva mu 1977 okutuusa mu 1979, yawerezaako nga eyali amyuka akulira etendekero lya Makerere University. Mu 1979, yaweebwa okubeera omukenkufu w'eby'enjigiriza eby'awagulu e Makerere.[5] Okuva mu 1986 okutuuka mu 1990, yawereza nga eyali akulira etendero ly'eby'enjigiriza ebyawagulu e Kyambogo, nga lino tabi kutendekero lya Kyambogo University, nga lino tendekero lya gavumenti. Mu 1990, baddamu okumuwa eky'okubeera omumyuka w'eyali akulira etendekero lya Makerere University, n'awereza mukifo kino okutuuka mu 1993.Mu 1994, yaweebwa eky'okubeera omumyuka w'eyali akulira etendekero lya Nkumba University, nga lino tendekero lya bwanannyini, gyeyawereza mu kifo kino okutuusa bweyawumula mu 2008.[6]

Ebirungi ebirala byeyatukako

[kyusa | edit source]

Ebirungi byeyafuna kuliko:[7]

1. Omufirika eyasooka okuseomera kubwerere ng'ali ku basale ya Fulbright mu ggwanga lya Amerika mu 1952.

2. Mu 1961, Kajubi yalabikako ku mukutu gwa ttivi ku pulogulaamu eyali eyitibwa ''The Prospects of Mindkind'' nga emu kungeri y'okutongoza pulogulaamu y'obwanakyewa ey'okuyamba amawanga agatanaba kulakulana. Omu kubaaliko ye Mukyala wa Pulezidenti Eleanor Roosevelt, Sargent Shriver, Senator Hubert Horatio Humphrey Jr - nga oluvannyuma n'afuuka Omumyuka wa Pulezidenti w'eggwanga lya Amerika wansi wa Pulezidenti Lyndon B. Johnson ne Prof Hayes, ng'ate Pulezidenti Kennedy yeyatongoza pulogulaamu y'obwanakyewa ey'okuyamba amawanga agatanaba kulakulana okuva mu Amaka ga Pulezidenti wa Amerika. Uganda yafuna ekibinja ky'abanakyeewa abasooka okuyamba nga baali basomesa okuva mu Amerika.

3. Mu 1961, yeeyakubiriza olukiiko lw'eggwanga olwali luvunaanyizibwa ku by'obubonero bw'eggwanga, nga kano keekalonda oluyimba lw'eggwanga lya Uganda, Bendera y'eggwanga lya Uganda n'akabonero k'eggwanga ak'enjawulo okuli engabi engabo n'engaali.

4. Yaliko ku akiiko akakulira ekibiina kya Democratic Party (DP) nga kino kya byabufuzi mu Uganda wamu n'okubeera Omuwi w'amagezi ow'obuntu ow'eyali Pulezidenti w'ekibiina okuva mu 1961 okutuuka mu 1962.

5.Omudaali gw'eggwanga lya Uganda ogw'okubeera nga yali akola emirimu egyawukana ku gy'abalala mu 1963,1971 ne 2009.

6. Etendekero ly'abasomesa, etendekero lya Columbia University mu Amerika. Omudaali gw'okubeera nga yali yeenyigira mu mirimu egyawukana. Nga gyamuweebwa Pulezidenti Lyndon B. Johnson. Yalondebwa okubeera omukulembezze omugezi era ategeera eri abasomesa b'eggwanga lye, eyali akulembera n'okuwabula bane beyali akola nabo emirimu, eyali asinga okubeera omuwagizi w'ekibiina kya pulogulaamu ya afro-anglo-american (AAA) Program mu basomesa wamu n'okubeera ssentebe eyasooka ow'ekibiina ekigata abasomesa ku semazinga wa Afrika ekiyitibwa Association for Teacher Education in Africa (ATEA); Kyakulabirako n'okuwabula basomesa bane,"

7. Yaliko ku kakiiko akakulu akaali kadukanya Baanka enkulu eya Uganda, okuva mu 1967 okutuuka mu 1969

8. Saabawaandiisi w'akakiiko akagata abasomesa mu Uganda okuva mu 1959 okutuuka mu 1962.

a. Yali omu ku baali kukakiiko mu 1963 akaali kavunaanyizibwa by'okulambulula ebyali birina okugobererwa mu by'enjigiriza bya Uganda nga kaali kakubirizibwa Omukenkufu Edgar B. Castle nga kaweebwa omulimu gw'okwekaanya ebyaali birina okugobererwa mu by'enjigiriza bya Uganda, oluvannyuma lw'okufuna obwetwaze.

b. Ssentebe eyasooka ow'ekibiina ekigata abasomesa ku ssemazinga wa Afrika ekiyitibwa Association for Teacher Education in Africa (ATEA), okuva mu 1969 okutuuka mu 1973

c. Omumyuka wa pulezidenti w'akakiiko k'ensi yonna akavunaanyizibwa ku kusomesa mu by'enjigiriza akayitibwa ''International Council on Education for Teaching'' (ICET) okuva mu 1971 okutuusa mu 1975.

d. Ssentebe w'akakiiko k'abasomesa akayitibwa Regional council for Teacher Education mu Bugwanjuba bwa Afrika okuva mu 1971 okutuuka mu 1977.

9. Ssentebe wa kampuni ya Draper's Ltd (ekitongole ne n'ebigata semaduuka) okuva mu 1971 okutuusa mu 1989.

10. Yaliko ku kakiiko akavunaanyizibwa ku by'okukola amateeka mu Buvanjuba bwa Sfrika aka East African Legislative Assembly (EALA) okuva mu 1971 okutuusa mu 1976

a. Ssentebe w'akakiiko ak'etegereza emisaala akayitibwa ''Salaries Review Commission'' mu kibiina ky'Omubuvanjuba bwa Afrika ekiyitibwa ''East African Community General Fund Services'' okuva mu 1971 okutuusa mu 1972 wamu ne mu 1974 okutuuka mu 1976

b.nyi Ssentebe w'akaiiko k'ekitongole ky'ennyonyi mu Buvanjuba bwa Afika ekiyitibwa ''East African Airways Corporation Central Negotiating Council'' okuva mu1972 okutuuka mu 1976

11. Eyali yeebuzibwaako ku by'enjigiriza by'eggwanga ly'e Namibia ku lunaku lw'obwetwaze mu 1990

12. Ssentebe wa kampuni ya Combined (kampuni eyasooka mu Uganda okubeera nga yeeyali efulumya sabuuni gyeyali okuva mu 1990 okutuusa mu 1995

13. Omukungu mu kakiiko akavunaanyizibwa ku by'asemateeka w'eggwanga- nga akiikirira Kyaddondo y'Omubukiika Ddyo okuva mu 1994 okutuuka mu 1995 nga kino kyakola amateeka ga Uganda amapya nga muno Kajubi mweyasabira okubeerawo kw'ebibiina by'eby'obufuzi nga byebidukanya eby'obufuzi wabula nga kino tekyayitamu, obukulembeeze obulungi n'obulambulukufu mu ntegeka y'obuyinza mu by'obuwangwa nga kino kyali kya kutereeza embeera z'ebintu bya Uganda eby'enjawulo.

14. Wakati wa 1987 ne 1989, yakubiriza akakiiko akaali kavunaanyizibwa ku kwekaanya eby'enjigiriza nga kino kyavirako Omupapula Olweru olwatumibwa Kajubi Report, nga luno lwatekawo enkola ya bonna basome ku mutendeka gwa Pulayimale. Alipoota eno yakirizibwa kabineti mu 1992 ng'eri mu mbeera yakutekebwa munkola.

15. Ssentebe w'akakiiko akavunaanyizibwa ku ebirina okugobererwa mu by'enamba y'abantu mu Uganda akayitibwa, '' Uganda Population Policy Review commission'' mu 1992

16. Emidaali okuva mu Gavumenti ya Buganda "Ekitiibwa Ky'Amafumu n'Engabo" mu 2011

Emirimu

[kyusa | edit source]
  • "Ekitabo kya African Encyclopaedia" Amawulire ga Oxford University Press mu 1974[8]

Ebimukwatako

[kyusa | edit source]

Ng'ali wamu ne mukyala we, Kajubi baali bazadde b'abaana mwenda nga kuno kuliko emigogo gy'abalongo esatu. Abasinga ku baana bano babeera mu ggwanga lya Amerika, gyebasenga okufuna emisomo egyawagulu kunkomerero y'emyaka gy'e 70s.

Kajubi yali wamugaso era omu kubaalina kyeboongera mu kibiina kya Ugandan Democratic Party. Y'omu ku Banannyuganda abaasooka nga bakungu mu Afrika okwegata ku kibiina kino mu 1958, nga yali akola n'omukulembezze wakyo Benedicto Kiwanuka okugaziza byekyali kitekeddwa okutukako.[9]

Enaku zze ezisembayo

[kyusa | edit source]

Ku makya ga 1 mu Gwokutaano mu 2012, Kajubi, eyali semwandu yazirikira mu maka gge. Yazuulibwa omu kubaana bbe ababiri abakulu abaali babeera naye. Yatwalibwa mu ddwaliro ly'e Mulago, gyebaamulangirira okubeera nga yali afudde nga baakamutuusa. Oluavnnyuma lw'akaseera eggwanga kebaamala nga bamukungubagira, nga kwekwali n'okumuteekateeka abantu bamulabeko nga tanazikibwa nga kino kyali ku Kizimbe kya Paalamenti, nemumaka gge e Bugoloobi, ekisinganibwa mu Kampala, ebyasigalirwa bye byatwalibwa ku kyalo Maya nga kino kiri kiromita 25 ze mayiro 16, nga okozeseza luguudo mu bukiikakkono bw'omubuganjubwa bwa Kampala,[10] nga 5 Ogwkutaano mu 2012.[11]

Ekimeeza ekiraga beyadira mu bigere nga eyali amyuka akulira etendekero lya Makerere University, mu kusooka

[kyusa | edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ekimeeza ekiraga beyadira mu bigere nga eyali amyuka akulira etendekero lya Makerere University, ogw'okubiri

[kyusa | edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | edit source]
  1. http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/Eulogy++Prof+Senteza+Kajubi+s+OB+and+student+pay+tribute/-/691232/1399194/-/gh2dqh/-/index.html
  2. http://www.newvision.co.ug/news/630789-prof-kajubi-the-dignified-professional.html
  3. http://www.newvision.co.ug/news/630744-prof-senteza-kajubi-is-dead.html
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2015-04-02. Retrieved 2024-09-07.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://web.archive.org/web/20140702050507/http://vc.mak.ac.ug/about/history.html
  6. http://www.newvision.co.ug/news/630744-prof-senteza-kajubi-is-dead.html
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2016-02-03. Retrieved 2024-09-07.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. https://books.google.com/books?id=755OxAEACAAJ&q=Africa+Encyclopedia+Oxford+university+press+1974
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2015-07-10. Retrieved 2024-09-07.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. http://distancecalculator.globefeed.com/Uganda_Distance_Result.asp?fromplace=Kampala%20()%20&toplace=Katende%20(Western%20Province)&fromlat=0.3155556&tolat=0.2433333&fromlng=32.5655556&tolng=32.3769444
  11. https://web.archive.org/web/20130210004650/http://vc.mak.ac.ug/events/192-makerere-university-pays-tribute-to-prof-william-senteza-kajubi.html

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | edit source]