Jump to content

Serverus Jjumba

Bisangiddwa ku Wikipedia

Serverus Jjumba yazaalibwa nga 2 Ogwomusanvu, 1962, nga Munnayuganda Omusumba mu nzikiriza ya Eklezia Katolika, era ye Musumba wÉssaza Ekkulu ery'e Masaka.[1]

Yalondebwa mu kifo kino nga16 Ogwokuna, 2019 náyawulibwa nókutuuzibwa ng'Ómusumba nga 6 Ogwomusanvu, 2019 e Kitovu mu Masaka.[1][2]

Yazaalibwa nga 2 Ogwomusanvu, 1962 e Katinnyondo - Kyannamukaaka, mu Disitulikiti y'e Masaka, mu Buganda era mu Uganda, mu Ssaza lya Eklezia eryé Masaka. Bazadde be kuliko: omugenzi Herman Jildo Ssebiranda ne Leocadia Namazzi.[1][2]

Yasomerako mu ssomero lya St. Augustine nérya St. Paul Primary School e Kitovu mu Masaka. Oluvannyuma yayingira Obuseminaaliyo, mu seminaaliyo ento ey'e Bukalasa mu Disitulikiti y'e Kalungu. Oluvannyuma n'asomera ku Seminaaliyo enkulu eya St. Thomas Aquinas Katigondo, mu Disitulikiti y'e Kalungu. Yamaliriza emisomo gye mu byeddiini mu Seminaaliyo enkulu eya St. Mary’s e Ggaba mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu. Alina ne Diguli eyookubiri mu Byenjigiriza ne Dipulooma mu Byokuyigiriza ebyeddiini, nga zonna zaamutikkirwa mu Makerere University, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde n'obunene mu Uganda.[3]

Yatuuzibwa okubeera Omufaaza nga 20 Ogwomukaaga 1992, e Masaka ku myaka 29 némyezi 11.[4] [5] Yaweerezaako ku kigo kya Bikira okuva mu 1991 okutuuka mu 1993. Yali muwanika mu Seminale ya Bukalasa Minor Seminary wakati wa 1993 ne 2000. Mu 2000, yalondebwa okubeera omuwanika wéssaza lya Eklezia eryé Masaka, náweereza mu kifo kino okutuusa mu 2014. Okuva mu 2014 okutuusa mu 2019, yali Vicar General wéssaza lyé Masaka.[6]

Ku Lwokubiri nga 16 Ogwokuna 2019, Paapa Francis yalonda Serverus Jjumba eyali ekyali ku ddaala lya Munsinyoori, okubeera Omusumba wéssaza lyé Masaka omuggya, ngádda mu bigere byÓmusumba John Baptist Kaggwa, eyali asabye okuwummuzibwa oluvannyuma lwókuweza emyaka 75 egyókuwummulirako nga 23 Ogwokusatu 2018.[6][7]

Omusumba Kaggwa yasigala nga y'alabirira Essaza lya Masaka okutuusa lwe lyakwasibwa Omusumba omuggya.[3]

Yatuuzibwa ngÓmusumba nga 6 Ogwomusanvu, 2019 mu Mmisa eyakulemberwa Omusumba John Baptist Kaggwa ng'ayambibwako Omusumba Lambert Bainomugisha eyali Omumyuka w'Omusumba w'essaza Ekkulu eryé Mbarara, Omusumba wéssaza lyé Kiyinda-Mityana Joseph Anthony Zziwa, nátuuzibwa omugenzi Cyprian Kizito Lwanga eyali Ssaabasumba wéssaza ekkulu eryé Kampala ne Ssaabasumba Luigi Bianco, Ssaabasuumba w'e Titular mu Falerone era eyali Omubaka wa Paapa mu Uganda.[1]

Omusumba Serverus Jjumba ye pulezidenti w'ekibiina ekivunaanyizibwa ku byenkulakulana mu Eklezia Katolika Uganda ekiyitibwa Caritas Uganda.[8]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 http://www.catholic-hierarchy.org/bishop/bjjumba.html
  2. 1 2 https://www.monitor.co.ug/News/National/From-Streicher-Jjumba-Masaka-gets-5th-Bishop/688334-5184700-cqxpe9/index.html
  3. 1 2 https://www.monitor.co.ug/News/National/Pope-appoints-new-Masaka-Bishop-/688334-5074408-9o5by/index.html
  4. David M. Cheney (16 April 2019). "Father Serverus Jjumba: Bishop-Elect of Masaka, Uganda". Kansas City: Catholic-Hierarchy.org. Retrieved 16 April 2019.
  5. CISA News (16 April 2019). "Uganda: Father Severus Jjumba Appointed New Bishop of Masaka". Nairobi: Catholic Information Service for Africa (CISA). Retrieved 16 April 2019.
  6. 1 2 Gertrude Mutyaba, and Al-Mahdi Ssenkabirwa (16 April 2019). "Pope Appoints New Masaka Bishop". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 16 April 2019.
  7. CISA News (16 April 2019). "Uganda: Father Severus Jjumba Appointed New Bishop of Masaka". Nairobi: Catholic Information Service for Africa (CISA). Retrieved 16 April 2019.
  8. https://ugandaradionetwork.net/story/bishop-jjumba-calls-for-spirited-fight-against-poverty?districtId=729

Ebiwandiiko ebijuliziddwa okuva wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]