Sezi Mbaguta

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Sezi Prisca Bessy Mbaguta (19 Ogwokubiri 1946 – 10 Ogusooka 2023) yali munnabyabufuzi wa Uganda era omukozi wa Gavumenti. Yali Minisita omubeezi ow'abakozi ba Gavumenti mu Kabinenti ya Uganda. Yalondebwa mu kifo ekyo mu Gwomukaaga 2006. Mu nkyukakyuka ez'akolebwa mu Kabinenti nga 16 Ogwokubiri 2009,[1] ne mwezo eza nga 27 Ogwokutaano 2011,[2] Yasigaza ekifo kye mu kabinenti. Mbaguta ye yali Omubaka mu Paalamenti omulonde akiikirira abakyala ba Disitulikiti y'e Rukungiri.[3]

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Mbaguta yali yazalibwa nga 19 Ogwokubiri 1946 mu Disitulikiti y'e Rukungiri. Mbaguta yalina Diguli esooka mu by'obufuzu eya degree in political science and public administration okuva ku Yunivasite ya Uganda esinga obunene n'obukulu Makerere University. Era yafuna Diguli ey'ennyongereza eya Diploma in Public Administration, nga n'ayo yagigya ku Makerere, gyeyafuna mu 1975. Diguli ye ey'okubiri eya Master of Arts in public administration and management yagifuna mu 1997, nga nayo yagifunira ku Yunivasite y'e Makerere.[3]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Mbaguta yalina ebbanga eliwerako mu kuweereza ng'omukozi wa Gavumenti nga yatandikira mu 1975, bwe yali akola ng'akwasaganya eby'ensasula y'abakozi ba Gavumenti ku kakiiko akakulembera abakozi ba Gavumenti ekifo kye yatuulamu okutuusa mu 1980. Wakati wa 1980 ne 1983, yaweereza nga akulira akakiiko akakulira abakozi ba Gavumenti saako ne mu Minisitule y'abakozi ba Gavumenti okuva mu 1983 okutuusa mu 1990.

Mu 1990, yaweereza nga omumyuka w'akulembera akakiiko akekennenya emirimu gya Gavumenti. Oluvanyuma mu mwaka ogwo, yalondebwa ku bwa Kaminsona akulembera abakozi ba Gavumenti nga yaweereza mu busobozi obwo okutuusa 1996. Wakati wa 1992 ne 1996, yaweerezaako ng'omukubiriza wa Civil Service Reform Implementation Project (CSRIP). Okuva mu 1996 okutuusa 1999, yaweerezaako nga Dayilekita akwasaganya abakozi mu Minisitule y'abakozi ba Gavumenti. Mu 1997, ekitiibwa kye kyakyusiibwa nafuuka maneja era n'omukubiriza w'abakozi ba Gavumenti n'enkola egobererwa mu mirimu mu Minisitule y'emu. Yali mu kifo ekyo okutuusa mu 2006. Mu kaseera ke kamu, yaweereza nga Dayilekita w'abakozi ba Gavumenti mu Minisitule y'abakozi ba Gavumenti. Yalondebwa mu kifo kyeyasembayo okuweereza mu Kabinenti mu Gwomukaaga 2006.[3]

Obulamu bwe n'okufa kwe[kyusa | edit source]

Mbaguta yali mufumbo. Yali anyumirwa nnyo ensonga z'ekikula ky'abantu n'abakyala wamu n'okutumbula enkulakulana y'ebyalo.

Mbaguta yafa nga 10 Ogusooka 2023, ku myaka 76.[4][5]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision
  2. https://www.facebook.com/note.php?note_id=10150208384704078&comments
  3. 3.0 3.1 3.2 https://web.archive.org/web/20150924064706/http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?p=f&n=t&details=t&j=512&const=Woman+Representative&dist_id=63&distname=Rukungiri
  4. https://www.independent.co.ug/former-minister-prisca-sezi-mbaguta-is-dead/
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2023-09-23. Retrieved 2024-04-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]