Sharon Balmoi Laker

Bisangiddwa ku Wikipedia

Sharon Balmoi Laker Munnayuganda, Munnabyabufuzi. Ye mubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Gulu wansi w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement mu Paalamenti ya Uganda.[1][2]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Yayogerako eri abawala b'essomero lya Gwengdiya Primary School mu Gulu district era n'abakuutira okwewala okufna ebbuto nga bakyali bato. Yali omu kubaabaga amateeka okuva mu bitundu bye Acholi nga yasaba Gavumenti okuwaayo obuyambi eri Famire z'abo abakosebwa olw'akabenje akaali ku luguudo lwe Kamdini saako n'abo abakosebwa lw'enguudo embi.[3][4]

Yali omu ku kibiina kya Acholi Parliamentary Group (APG) ne Ker Kwaro Acholi abakoowola okuteebwa kw'abatuuze ba Apaa musanvu abaali bakwatibwa ne basibibwa mu Disitulikiti y'e Adjumani.[5]

Mu 2021, yalondebwa okukiikirira eby'enkulakulana ow'ekibiina kya Acholi Parliamentary Group.[6] Acholi Parliamentary Group kyatandikibwawo mu 1989.[6] kye kyasooka okutondebwawo mu bukiiko bw'ebitundu mu kakiiko ka National Resistance Council, nga katondebwawo Gavumenti y'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement-NRM.[6] Kyatondebwawo mu kaseera nga ebitundu by'e Acholi byali bitaataganyizibwa olw'obulumbaganyi bw'abayeekera omwali Lord's Resistance Army-LRA Eggye ly'abayeekera eryali likulemberwa Joseph Kony.[6]

Ba Mmemba ba Paalamenti abava mu bitundu by'e Acholi[kyusa | edit source]

  • Anthony Akol
  • Phillip Okin Ojara
  • Hillary Onek Obaloker
  • Ricky Anywar
  • John Amos Okot
  • Lillian Aber
  • Beatrice Akori
  • Tonny Awany Nwoya
  • Margaret Lamwaka Odwar
  • Geoffrey Okello Nwoya
  • Betty Aol Ocan
  • Simon Wokorach
  • Judith Peace Acan
  • David Lagen Atuka
  • Aciro Menya

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]