Jump to content

Silimu

Bisangiddwa ku Wikipedia
HIV Awareness

= SILIMU OMUMANYI? [HIV/AIDS] =

[kyusa | edit source]
‘’MANYA EBITUUFU EBIKWATA KU SILIMU [HIV/AIDS]’’

Emirundi agisinga, ebintu ebikwaa ku silimu mikwano gyo byegikubuulirabiyinza obutaba bituufu, Waliwo ebyogerwa ebikwata ku kondomu, obujanjabi, engeri silimu gyasasaana mu, okwekebeza omusayi n’okubudabudibwa nga biyinza okukulemesa okukola ebintu ebinakuyamba okubeera omulamu. Akawuka akaleea silimu kasobola okuziyizibwa, osobola okuba n’akawuka akaleeta silimu n’obeera mulamu. ‘’’Tosobola kumanya muntu bwayimiridde ku bya silimu nga olabira ku ndabika ye.’’’ Okubeera n’akawuka akaleeta silimu tekitegeeza nti omuntu ateekwa okuba nga mulwadde. Abantu abamu babeera n’akawuka akaleeta silimu okumala emyaka mingi nga tebanaba kulaga bubonero. ’’’Sikituufu: ’’’Omuntu nga alabika bulungi ku mwalo tasobola kuba nga alina akawuka akaleeta silimu. ’’’Kituufu: ’’’ Tusobola okumanya omuntu bwayimiridde ku bya silimu ng’olaba ku ndabika ye. Omuntu asobola okulabika obulungi era neyewulira bulungi okumala ebbanga naye nga alina akawuka akaleeta silimu. Okwekebeza y’engeri yokka omuntu gyasobola okumanya oba nga alina akawuka akaleeta silimu oba talina. ’’’Sikituufu: ’’’ Abantu abamu abaafirwako abagalwa babwe naye nga bbo balabika bulungi tebalina kawuka akaleeta silimu. ’’’ Kituufu: ’’’ Omuntu eyafirwa abagalwabe nga baafa silimu naye ayinza okuba nga amulina oba nga tamulina. Abantu ababiri abaggalana bayinza okuba nga bombi balina akawuka akaleeta silimu oba nga omu yalina ate nga omulala talina. Okwkebeza y’engeri yokka omuntu gyssobola okumanya obanga alina akawuka akaleeta silimu oba talina. Okwekebeza kiwa amaanyi okwekuuma wamu n’abagalwabo obutakwatibwa kawuka kaleeta silimu. Era kikyamba okusalawo okubeera omulamu yadde nga oba osangiddwa nga olina akawuka akaleeta silimu. Basobola n’okukuwereza mu bitongole ebiyamba abalwadde ba silimu. ’’’Eddagala eriweweza ku silimu [ARV] ’’’ [ARV] ly’ddagala eriweweza ku silimu liziyiza akawuka obuteyongerako mu mubiri gw’oyo aba akalina. Eddagala lino teriwonya silimu wabula liyamba abalina silimu okubeera n’obulamu obulungi,kiyamaba noyo atalina kawuka obutakwatibwa. ’’’Sikituufu ’’’ Tekyetaagisa kwerarikirira silimu kubanga eddagala [ARVs] limuwomya. ’’’Kituufu ’’’ Eddagala eriweweza ku silimu [ARVs] liyamba omuntu alina akawuka akaleeta silimu okuba omulamu. Likendeza ku kawuka akaleeta silimu mu mubiri naye nga tekabumalamu. Eddagala eriwonnya silimu terinaba kuzuulibwa. Ekisinga obulungi kwe kuziyiza obutakwatibwa kawuka kaleeta silimu oba okwekuuma ng’ okalina. ’’’ Sikituufu’’’ Okumira panado ng’ogenda okwekebeza kivaako akawuka obutalabika mu mubiri gw’omuntu. ’’’Kituufu ’’’Ebiva mu kukeberebwa omusaayi biba bituufu tebisobola kutaaganyizibwa ddagala ly’ba omize nga ogenda okwekebeza omusaayi. Mukukebera omusaayi , bakebera akawuka akawuka akaleeta silimu n’obusirikale obulwanyisa endwadde mu mubiri. Kino kitegeezanti, nebwomira panado nga ogenda o wekebeza omusaayi, bwoba olina akawuka akaleeta silimu kajja kulabika Okubeera n;akawuka akaleeta silimu tekitegeeza kufa. Abantu bangi bawangadde emyaka mingi nga balina akawuka akaleeta silimu. Wekebeze omanye bw’oyimiridde osobole okwetegekera obulamu. <Ref>: www.Lake Victoria Fisheries Organization.[ LVFO] Joyce Nanjobe Kawooya