Sister Charity
Sister Charity nga amannya gge amatuufu ye Kobutungi Charity munayuganda omuyimbi okuva mu bigwanjuba bwa Uganda nga kuno kw'ateeka n'okukola ku mukutu gwa ttivi. Awereza pulogulaamu y'okumakya gyebayita 'Sisimuka' ku mukutu gwa TV West nga gunoi gusinziira mu disitulikiti y'e Mbarara mu ggwanga lya Uganda. Asinga kumanyikwa olw'oluyimba lweyayimba mu mwaka gwa 2001 lwebayita 'Grade'.[1] Asinga kuyimba mu lulimi lwe olw'enzaalirwana Orunyankole, nga kuno kw'ateeka oluganda wamu n'oluzuungu.[2] Yateekebwa kulukalala lw'abayimbi abaali basinga nga bava mu bugwanjuba bwa Uganda nga kuno kwekuli; Juliana Kanyomozi, Ray G, Angella Katatumba ne Toniks ku mukutu gwa Hi Pipo.[3]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Yatandika okuyimba ng'ali mu kibiina kyebaali bayita TYE
(Train the youth effort) band mu mwaka gwa 2000.[4] Charity yeegata ku kibiina kyebaali bayita 'Rays Band' nga Rasta Charz yeeyali nannyini kyo, ng'eno gy'ayimbira. Alina ky'ayongedde ku pulojekiti gyebayita 'Am A Ugandan project' ng'ayisa obubaka mu luyimbva lwe lwebayita ” Ndi Omunya Uganda” oluyimba lweyakuba ne Santana gw'akola naye ku mukutu gwa TV West, nga naye muyimbi.
Sister Charity alina entaambi mwenda nga kuno kuliko lwebayita; 'Grade', Omufumbo, 'Pound', 'Choice', Nkyalimbooko, Jambuura n'endala nnyingi. Ennyimba zino ezisinga ziri mu lulimi lw'ewaabwe Orunyankole, nga kuno kw'oteeka endala eziri mu luganda ssaako n'oluzungu.
Ayimbiddeko ku siteegi okubadde abayimbi abaamannya okuva mu Uganda nga;Nicky Jizzy Dr. Jose Chameleone, Prossy Kankunda, Gravity Omutujju n'abalala bangi[5]
iMu mwaka gwa 2011, Sister Charity yalangirirwa ng'eyali omuwereza wa pulogulaamu gyebayita 'Sisimuka' ku ttivi edukannyizibwa kampuni ya Vision Group gyebayita TV West mu disitulikiti y'e Mbarara ng'eno gy'akolera n'okutuuka kati.[6]
Obulamu bwe
[kyusa | edit source]Yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 7 mu mwezi ogw'omukaaga mu mwaka gwa 1980 tnga bazadde bbe bebaali omwaki n'omukyala Enoth Buriita mu famire eyali ey'abaana 6, nga ye yeyali adirira asembayo. Yasomerako ku Rweibaare Primary school gyeyava okugenda ku Rweibaare Secondary school, oluvannyuma n'agenda ku Train The youth Effort (TYE)okwongera ku by'okusoma kwe, ate oluvannyuma neyeegata kutendekero lya Mbarara Business School (MBI) gyeyafunira dipulooma mu by'okubala ebitabo ng'eno yali ya kitongole kya Uganda ekivinaanyizibwa ku bibuuzo ekya UNEB.[7] Yafumbirwa eyali omusomesa we oba eyamuyigiriza Rasta Charz, naye oluvannyuma nebaawukana mu mateeka mu mwaka gwa 2013 ng'agamba taweebwa kitiibwa mu bufumbo bwe.[8][9]
Muziki we
[kyusa | edit source]Engule oba awaadi[12]
[kyusa | edit source]- Ever Green - Omuyimbi okuva mu bugwanjuba eyali ow'omwaka gwa 2014
- Ku mikolo gya PAM Awards (Pearl Of Africa Music Awards) - Omuyimbi okuva mu bugwanjuba eyali ow'omwaka gwa 2005 - Grade[13]
- Ku mikolo gya Radio West Annual music festival - Omuyimbi w'omwaka gwa 2004
- Radio West Annual music festival - BOmuyimbi w'omwaka gwa 2003
- Bell lager achiever award western region, 2003
- Radio West Annual music festival - Omuyimbi w'omwaka gwa 2002
- ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1301842/cut-love - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)http://www.monitor.co.ug/artsculture/Entertainment/Sister-Charity-s-musical-journey/-/812796/1942344/-/4amt3bz/-/index.html - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20160308160224/http://www.hipipo.com/music/news/2076/A-Look-At-Some-Of-The-Best-Musicians-From-Western-Uganda - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)http://www.howwe.biz/artist/bio/sister-charity.html - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)http://bigeye.ug/dr-jose-chameleoene-in-tubonge-extra-mbarara-live-concert/ - ↑
{{cite news}}
: Empty citation (help)http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1011011/sister-charity-joins-tv-west - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20160816121258/http://www.hipipo.com/people/242/Sister-Charity - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20141028214510/http://www.theinsider.ug/sister-charity-to-divorce-with-hubby/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20160308015103/http://www.theinsider.ug/rasta-charz-sister-charity-split/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1100287/brief - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)http://allafrica.com/stories/200707060034.html - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20160414022620/http://www.hipipo.com/people/242/Sister-Charity/bio/142/Sister-Charity-Discography - ↑
{{cite news}}
: Empty citation (help)http://allafrica.com/stories/200707060034.html