Specioza Kimera Ndagire

Bisangiddwa ku Wikipedia

Specioza Kimera Ndagire, munayuganda omusuubuzi,era mukungu w'ekitongole, akola nga avunaanyizibwa kuntambuza y'emirimu buli lunaku mu kitongole ekya kya Uganda Energy Credit Capitalisation Company (UECCC), ekitongole kya gavumenti ya Uganda ekikola ku gavumenti ya Uganda, abakolera awamu n'ebitongole eby'obwannannyini, okusiga ensimbi mu bizimbibwa mu Uganda.

Emirimu[kyusa | edit source]

Mu Gwokusatu 2014, yalondebwa nga avunaanyizibwa kuntambuza y'emirimu buli lunakuera ng'avunaanyizibwa kukukuuma erinnya ly'ekitongole ekya UECCC, omukyala eyasooka okuweereza mu kifo ekyo. Kkampuni ekola n'ekitongole eky'obwannannyini okuzuula, okunoonyereza, okusikiriza n'okufuna ensimbi okubunya ensibuko z'amasannyalaze mu Uganda. Mu ngeri y'emu, UECCC etegeeza era n'ebangula ku bizinensi mu Uganda, omuli obukolero obutonotono (SME) ku ngeri gyebukozesaamu amasanyalaze.

Nga tanalondebwa nga CEO, Muky. Ndagire yakolanga nga avunaanyizibwa ku kukuuma erinnya ly'ekitongole, okumala emyaka etaano okuva mu 2009 kkampuni lwe yatandikibwawo, okutuuka mu 2014, lwe yakakasibwa ng'omukulu w'ekitongole. Ekigendererwa kwe kutumbula okuteeka ssente mu kitongole ky'amasannyalaze.

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]

Enkolagana ez'ebweru[kyusa | edit source]