Jump to content

Spice Diana

Bisangiddwa ku Wikipedia
Spice Diana

Namukwaya Hajara Diana, amannyikiddwa nga Spice Diana, muyimbi omunayuganda eyatandika omulimu guno ng'akyasomera ku Makerere University. Yasooka kudukannyizibwa Dr Fizol owa Avie Records nga maneja we, oluvannyuma Twinkle Star ng'ali wansi w'omuyimbi Kalifah AgaNaga mu 2016.[1] Abadde n'ennyimba nga "Anti Kale", "Bukete" ne "Bimpe". Spice Diana akozeeko ennyimba n'abayimbi ba Uganda ssaako n'ab'ebweru omuli Pallaso, Ray G, Aganaga n'omu Jamaica Orisha Sound n'abalala bangi.[2]

Obulamu bwe n'okusoma

[kyusa | edit source]

Spice Diana yasomera ku Kibuli Demonstration School mu pulayimale ne St Peter's Senior Secondary School gyeyakolera siniya oluvannyuma n'atikirwa ku Makerere University ng'afunye diguli mu kusiiga ebifanannyi .[3] Spice Diana yali atoba okulaba ng'akwasaganya ebitabo n'okuyimba kuba ebiseera ebisinga okusomakwe kwali ngayo mukaseera kekamu ng'alina ekivulu .[4]

Obulamu bwe mu kuyimba

[kyusa | edit source]

Spice Diana yatamdika okuyimba mu 2014 n'oluyimba lwe olwakwata abantu omubabiro lwebayita Onsanula tnga lwamuwangulira n'ekirabo 2015.[5] Mu mwaka ogwali guyise ogwa 2014, yali adukannyizibwa Dr. Fizol owa Avenue Records nga maneja we. Spice Diana yakola endagaano n'aba kampuni ya Twinkle Star and Humble Management eyali efulumya ennyimba nga tanaba kutandika kuyimba yekka. Spice Diana ali ennyimba nnyingi ezikutte abantu omubabiro okuli; "Anti Kale", "I miss you" ne "Buteke". [6]Mu 2016, Spice Diana yasalawo okutegeka ebirabo okusiima ttiimu ye gy'akola nayo ng'engule zino yazituuma Team Spice Diana Awards nga ye n'abayimbi abato beebayimba ku mukolo guno.[7]

Ennyimba zze

[kyusa | edit source]
  • Bukete
  • Bimpe
  • Anti Kale
  • Tokombako
  • I miss you
  • Gwe Nsonga
  • Tuli Kuki
  • Nyumirwa
  • Ninze
  • Ndi Mu Love
  • Acrobatics
  • Sabatula
  • Tekinanta
  • Sitoma[8] ]
  • Omusheshe ft. [[Ray G]]
  • Kokonya ft. Harmonize (musician)
  • Kwata Wano
  • On You
  • Jangu Ondabe ft Rose Ree
  • Best Friend ft King Saha

Byebamuwadde ne byebamulonzeemu

[kyusa | edit source]

Yawangula eky'omuyimba omukazi eyali atutumuse ku mukolo gwa 3rd HiPipo Music Awards mu 2015.[9] Ekirabo kino basinziira ku kalulu akakuweebwa abantu ''popularity vote'' nga bayita ku mikutu gya yintaneeti, gimukwanira wala ne .[10]

Ebibaddewo

[kyusa | edit source]

Mu 2017, Spice Diana yayitibwa okuyimba ku mikolo gya Kampala City Festival bweyakubibwa abasirikale ba poliisi ya Uganda nga y'akayimba oluyimba lumu.[11][12] Oluyimba lweyali yakayimba baluyita Onsanula nga luyina akatundu akoogera kungeri poliisi gyetakwatagamu nabantu. Ebigambo bino byandiba nga byebavirako okumukuba nga bweyategeeza ng'ayita ku mikutu gye gimukwanira wala .[13]

Laba ne

[kyusa | edit source]

References

[kyusa | edit source]
  1. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.howwe.biz/SpiceDiana/biography
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20211208001627/https://www.eachamps.com/Spice-Diana.html
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.sqoop.co.ug/201511/features-profiles/date-with-a-celeb-spice-diana-on-balancing-music-and-school.html
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.sqoop.co.ug/201511/features-profiles/date-with-a-celeb-spice-diana-on-balancing-music-and-school.html
  6. http://www.sqoop.co.ug/201511/features-profiles/date-with-a-celeb-spice-diana-on-balancing-music-and-school.html
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.sqoop.co.ug/201511/features-profiles/date-with-a-celeb-spice-diana-on-balancing-music-and-school.html
  8. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.sqoop.co.ug/201511/features-profiles/date-with-a-celeb-spice-diana-on-balancing-music-and-school.html
  9. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20180826121212/https://hma.hipipo.com/08/02/2015/winners-of-the-3rd-hipipo-music-awards/
  10. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20180101021217/http://hma.hipipo.com/vote-hma6/
  11. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20190601091333/http://chano8.com/tag/why-spice-diana-was-beaten-at-the-kampala-city-carnival/
  12. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20190601091333/http://chano8.com/tag/why-spice-diana-was-beaten-at-the-kampala-city-carnival/
  13. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1463266/singer-spice-diana-clobbered-carnival